bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 18
1 Chronicles 18
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 19 →
1
Awo oluvannyuma lw'ebyo, Dawudi n'akuba Abafirisuuti n'abawangula, n'awamba Gaasi n'ebyalo byako okuva ku Bafirisuuti.
2
Dawudi n'awangula ab'e Mowaabu ne bafuuka baddu be, ne bamuwanga omusolo.
3
Dawudi n'akuba Kadalezeri kabaka w'e Zoba n'amuwangulira okumpi ne Kamasi bwe yali ng'agenda okunyweza okufuga kwe ku mugga Fulaati.
4
Dawudi n'amuwambako amagaali lukumi (1,000), n'abeebagala embalaasi kasanvu (7,000), n'abatambula n'ebigere emitwalo ebiri (20,000), Dawudi n'atema enteega ez'embalaasi zonna ezisika amagaali, okujjako ezo ezisika amagaali kikumi (100).
5
Awo Abasuuli ab'e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadalezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000).
6
Awo Dawudi n'ateeka (ebigo) mu Busuuli obw'e Ddamasiko; Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi ne baleetanga ebirabo. Mukama n'awanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga.
7
Dawudi n'anyaga engabo eza zaabu ezaali ku baddu ba Kadalezeri n'azitwala e Yerusaalemi.
8
Ne mu Tibukasi ne mu Kuni, ebibuga bya Kadalezeri, Dawudi n'aggyamu ebikomo bingi nnyo, Sulemaani bye yakoza ennyanja ey'ekikomo, n'empagi, n'ebintu eby'ebikomo.
9
Awo Toowu kabaka w'e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi akubye eggye lyonna erya Kadalezeri kabaka w'e Zoba,
10
n'atuma Kadolamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumwebaza kubanga alwanye ne Kadalezeri n'amuwangula anti Kadalezeri yali amumazeeko ebintu ebya zaabu n'effeeza n'ebikomo ebya buli ngeri.
11
Ebintu byonna ebya feeza ne zaabu kabaka Dawudi n'abinyaga okuva mu mawanga gano: Edomu, Mowaabu, okuva mu baana ba Amoni, Abafirisuuti n'Abamaleki, n'abiwonga eri Mukama.
12
Era nate Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'atta ku ba Edomu abantu lukumi mu lunaana (1,800) mu Kiwonvu eky'Omunnyo.
13
N'azimba ebigo mu Edomu, aba Edomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga yonna.
14
Dawudi n'afuga Isiraeri yenna; n'atuukiriza emisango n'eby'ensonga eri abantu be bonna.
15
Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'eggye; ne Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza.
16
Ne Zadoki mutabani wa Akitubu ne Abimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; ne Savusa ye yali omuwandiisi;
17
Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi; ne batabani ba Dawudi be baali abakulu abaabeeranga ne kabaka ku lusegere.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29