bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 26
1 Chronicles 26
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 27 →
1
Zino ze mpalo z'abaggazi: ku basibuka mu Bakola; Meseremiya mutabani wa Kola, ow'omu nnyumba ya Asafu.
2
Era Meseremiya yalina abaana ab'obulenzi: Zekkaliya omubereberye, Yediyayeri ow'okubiri, Zebadiya ow'okusatu, Yasuniyeri ow'okuna;
3
Eramu ow'okutaano, Yekokanani ow'omukaaga, Eriwenayi ow'omusanvu.
4
Era Obededomu yalina abaana ab'obulenzi: Semaaya omubereberye, Yekozabadi ow'okubiri, Yowa ow'okusatu, ne Sakali ow'okuna, ne Nesaneeri ow'okutaano;
5
Ammiyeri ow'omukaaga, Isakaali ow'omusanvu, Pewulesayi ow'omunaana: kubanga Katonda bwatyo bwe yawa Obededomu omukisa.
6
Era Semaaya mutabani we n'azaalirwa abaana ab'obulenzi, abaafuga ennyumba ya kitaabwe: kubanga baali basajja ba maanyi abazira.
7
Batabani ba Semaaya; Osuni, ne Lefayeri, ne Obedi, ne Eruzabadi, baganda baabwe Eriku, ne Semakiya abasajja abazira.
8
Abo bonna baali ba ku baana ba Obededomu: bo ne batabani baabwe ne baganda baabwe, abasajja ab'amaanyi abakugu mu kuweereza okwo; baali nkaaga mu babiri.
9
Era Meseremiya yalina abaana n'ab'oluganda, abasajja abazira, kkumi na munaana.
10
Era Kosa ow'oku baana ba Merali yalina abaana; ab'obulenzi be bano: Simuli ono kitaawe yamufuula omukulu newakubadde nga si ye mubereberye;
11
Kirukiya ow'okubiri, Tebaliya ow'okusatu, Zekkaliya ow'okuna: batabani ba Kosa bonna ne baganda be baali kkumi na basatu.
12
Empalo z'abaggazi zaali z'abo, abaayawulwangamu okusinziira ku bukulu bwabwe, nga baliko bye bateresebwa nga baganda baabwe, Abaleevi abaweererezanga mu nnyumba ya Mukama.
13
Ne bakuba obululu, abato era n'abakulu, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali olwa buli mulyango.
14
Akalulu ak'ebuvanjuba ne kagwa ku Seremiya. Awo ne bakubira obululu Zekkaliya mutabani we, omuteesa ow'amagezi; akalulu ke ne kamulondera omulyango ogw'omu bukiikakkono.
15
Obededomu n'alonderwa gwa mu bukiikaddyo; ne batabani be ne baweebwa kukuuma ggwanika.
16
Suppimu ne Kosa, ne baweebwa omulyango ogw'ebugwanjuba, n'omulyango Salekesi awaali olutindo olwambuka, nga abakuumi boolekera bakuumi bannaabwe.
17
Abaleevi mukaaga baakumanga ku luuyi olw'ebuvanjuba, ne ku bukiikakkono buli lunaku bana, ku bukiikaddyo buli lunaku bana, n'ab'eggwanika babiri babiri.
18
Abakuumi bana baali luuyi olw'ebugwanjuba, olw'oluggya awaali olutindo, ne mu luggya mwalimu babiri.
19
Ezo ze zaali empalo z'abaggazi; ku batabani b'Abakola ne ku batabani ba Merali.
20
Ku Baleevi, Akiya ye yali omukulu w'amawanika g'ennyumba ya Katonda, era ow'amawanika gonna ag'ebintu ebyawongebwa.
21
Ladani, omu ku batabani ba Gerusoni; yali jjajja we nnyumba nnyingi eziva mu b'Abagerusoni, ng'omwo mwotwalidde ne nnyumba ya Yekyeri.
22
Batabani ba Yekyeri; Zesamu, ne Yoweeri muganda we, be baali abakulu b'amawanika g'ennyumba ya Mukama.
23
Abakuumi abalala abaali mu ggwanika baali bava mu: Baamulamu, mu Bayizukali, mu Bakebbulooni, ne mu Bawuziyeeri;
24
Sebweri mutabani wa Gerusomu, eyali ava mu lulyo lwa Musa, ye yali omukulu w'amawanika.
25
Sebweri yalina oluganda olusibuka mu Eryeza muganda wa Gerusoni. Eryeza ye yazaala Lekabiya, Lekabiya n'azaala Yesaya, Yesaya n'azaala Yolaamu, Yolaamu n'azaala Zikuli, Zikuli n'azaala Seromosi.
26
Seromosi oyo ne baganda be baali abakulu b'amawanika gonna ag'ebintu ebyawongebwa, Dawudi kabaka, n'abakulu b'ennyumba, abaami b'enkumi n'ebikumi, n'abaami b'eggye, bye baawonga.
27
Ku munyago gwe baanyaga mu ntalo kwe baggya bye bawonga olw'okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.
28
Ne byonna Samwiri nnabbi ne Sawulo mutabani wa Kiisi ne Abuneeri mutabani wa Neeri ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya bye baawonga; buli muntu yenna eyawonganga ekintu kyonna, kyabanga wansi w'omukono gwa Seromosi ne baganda be.
29
Mu basibuka mu Bayizukali, Kenaniya ne batabani be ne baweebwa omulimu ogutali gwa mu nnyumba ya Mukama, wabula ogw'ofuganga Isiraeri, n'okuba abaami n'abalamuzi.
30
Ku Bakebbulooni, Kasabiya ne baganda be, abasajja abazira, lukumi mu lusanvu (1,700), be baalabiriranga Isiraeri emitala wa Yoludaani ku ludda ebugwanjuba, mu by'okusinza Mukama; n'olw'omulimu gwonna ogw'okuweereza kabaka.
31
Yeriya ye yali omukulembeze w'abasibuka mu Bakebbulooni bonna, Abakebbulooni ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali mu nnyumba za bakitaabwe, nga bwe baali bawandiikiddwa. Mu mwaka ogw'ana nga Dawudi ye kabaka ne banoonyereza, ne wazuukawo mu bo abasajja ab'amaanyi abazira e Yazeri eky'e Gireyaadi.
32
Ne baganda be abasajja abazira baali enkumi bbiri mu lusanvu (2,700), abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, kabaka Dawudi be yafuula abalabirizi b'Abalewubeeni n'Abagaadi n'ekitundu ky'ekika eky'Abamanase, ku bikwata ku Katonda, n'okuweereza kabaka.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29