bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 1
2 Kings 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 2 →
1
Awo Mowaabu n'ajeemera Isiraeri Akabu ng'amaze okufa.
2
Kabaka Akaziya owa Isiraeri, n'awanuka ku lubalaza olwawaggulu, ku nnyumba ye eyaakalina mu lubiri lwe e Samaliya n'agwa wansi, n'alumizibwa nnyo. N'atuma ababaka, n'abagamba nti, Mugende mulagulwe eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni oba nga ndiwona endwadde eno.
3
Naye malayika wa Mukama n'agamba Eriya Omutisubi nti Golokoka osisinkane ababaka ba kabaka w'e Samaliya obagambe nti Kubanga tewali Katonda mu Isiraeri kyemuva mugenda okulagulwa eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni?
4
Kale nno, bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Tojja kuva ku kitanda kwe we basse, oja kufa. Eriya n'agenda.
5
Ababaka ne bakomawo gy'ali, n'ababuuza nti Kiki ekibakomezzaawo?
6
Ne bamuddamu nti Waliwo omusajja azze n'atusisinkana n'atugamba nti Muddeyo eri kabaka abatumye, mumugambe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga tewali Katonda mu Isiraeri kyova otuma okulagulwa eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni? Kyonoova olema okuva ku kitanda kwe we base, ojja kufa.
7
Kabaka n'ababuuza nti Omusajja abasisinkanye n'abagamba ebigambo afaanana atya?
8
Ne bamuddamu nti Musajja wa bwoya bungi, era nga yeesibye olukoba olw'eddiba mu kiwato kye. Kabaka n'addamu nti Oyo ye Eriya Omutisubi.
9
Awo kabaka n'atuma omwami wa ataano (50) n'abasajja be ataano (50). N'agenda eri Eriya, n'amusanga ng'atudde ku ntikko y'olusozi. N'amugamba nti Ggwe omusajja wa Katonda, kabaka akulagira nti Serengeta ogende gyali.
10
Awo Eriya n'addamu n'agamba omwami wa ataano (50) nti Oba ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gwokye ggwe n'abasajja bo ataano (50). Omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n'abasajja be ataano (50).
11
Awo n'atuma nate gy'ali omwami wa ataano (50) omulala n'abasajja be ataano (50). N'addamu n'amugamba nti Ggwe omusajja wa Katonda, kabaka akulagira nti Yanguwa okuserengeta.
12
Awo Eriya n'addamu n'abagamba nti Oba nga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gwokye ggwe n'abasajja bo ataano (50). Omuliro gwa Katonda ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n'abasajja be ataano (50).
13
Awo n'atuma nate omwami wa ataano (50) omulala n'abasajja be ataano (50). Omwami wa ataano (50) ow'okusatu n'ayambuka n'ajja n'afukamira ku maviivi ge mu maaso ga Eriya, n'amwegayirira n'amugamba nti Ggwe omusajja wa Katonda, nkwegayiridde, obulamu bwange n'obulamu bwa bano ataano (50) abaddu bo bube bwa muwendo mungi mu maaso go.
14
Laba, omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya abaami ba ataano (50) bombi abaasoose n'abasajja baabwe ataano (50), naye kaakano obulamu bwange bube bwa muwendo mungi mu maaso go.
15
Awo malayika wa Mukama n'agamba Eriya nti Serengeta naye: tomutya. N'asituka n'aserengeta naye n'agenda eri kabaka.
16
N'amugamba nti Mukama agamba nti Nga bwe watuma ababaka okwebuuza ku Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni, ng'awatali katonda mu Isiraeri, tojja kuva ku kitanda kyogalamidde ko, ojja kufa.
17
Awo Akaziya n'afa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali Eriya kye yayogera nga ayita mu Eriya. Olw'okuba nga Akaziya teyalina mwana wa bulenzi, Yekolaamu muganda we n'atandika okufuga mu kifo kye mu mwaka ogwokubiri ogwa Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati kabaka wa Yuda.
18
N'ebirala byonna kabaka Akaziya bye yakola, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25