bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 20
2 Kings 20
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 21 →
1
Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa. Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi n'ajja gy'ali n'amugamba nti Teekateeka ennyumba yo; kubanga ogenda kufa so togenda kulama.
2
Awo Keezeekiya n'akyuka n'atunula ku kisenge, ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti
3
Jjukira kaakano, ayi Mukama, nkwegayiridde, bwe nnatambuliranga mu maaso go n'amazima n'omutima ogwatuukirira, ne nkola ebiri mu maaso go ebirungi. Keezeekiya n'akaaba nnyo amaziga.
4
Awo Isaaya bwe yafuluma naye nga tanayita mu luggya olwa wakati olw'olubiri lwa kabaka, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti
5
Ddayo ogambe Keezeekiya omukulembeze w'abantu bange nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Dawudi jjajjaawo nti Mpulidde okusaba kwo, era ndabye amaziga go: nja kukuwonya. Ku lunaku olwokusatu kw'olinnyira mu nnyumba ya Mukama.
6
Ndyongera ku nnaku zo emyaka kkumi n'etaano (15); era ndikulokola ggwe n'ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli; era ndirwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku bw'omuddu wange Dawudi.
7
Awo Isaaya n'agamba nti Muleete ekitole ky'ettiini; ne bakireeta ne bakiteeka ku jjute, n'awona.
8
Awo Keezeekiya n'abuuza Isaaya nti Kabonero ki akakasa nga Mukama anaamponya era nga ku lunaku olwokusatu nja kusobola okugenda nnyingire mu nnyumba ya Mukama?
9
Isaaya n'amuddamu nti Kano ke kanaaba akabonero gy'oli akava eri Mukama akakasa nga Mukama anaakola ekyo ky'ayogedde: ekisiikirize kinnatambula okugenda mu maaso amadaala kkumi, oba okudda emabega amadaala kkumi.
10
Awo Keezeekiya n'addamu nti Ekisiikirize okugenda mu maaso amadaala ekkumi ekyo kyangu, naye kidde emabega amadaala kkumi.
11
Nnabbi Isaaya n'eyegayirira Mukama n'azzaayo ekisiikirize emabega amadaala kkumi, ge kyali kikkiddeko ku madaala ga Akazi.
12
Mu biro ebyo Berodakubaladani kabaka w'e Babbulooni mutabani wa Baladani n'awandiikira Keezeekiya ebbaluwa, n'amuweereza n'ekirabo: kubanga yawulira Keezeekiya bwe yali alwadde.
13
Awo Keezeekiya n'ayaniriza abaabireta, n'abalaga ennyumba yonna ey'ebintu bye eby'omuwendo omungi, effeeza n'ezaabu n'eby'akaloosa n'amafuta ag'omuwendo omungi n'ennyumba ey'eby'okulwanyisa bye ne byonna ebyalabika mu by'obugagga bwe: tewali kintu mu nnyumba ye newakubadde mu matwale ge gonna Keezeekiya ky'ataabalaga.
14
Awo Isaaya nnabbi n'ajja eri kabaka Keezeekiya n'amubuuza nti Abasajja bano boogedde ki naawe? Era bavudde wa okujja gy'oli? Keezeekiya n'addamu nti Bava mu nsi ey'ewala e Babbulooni.
15
N'amubuuza nti Balabye ki mu nnyumba yo? Keezeekiya n'addamu nti Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye: tewali kintu mu by'obugagga bwange kye ssibalaze.
16
Isaaya n'agamba Keezeekiya nti Wulira ekigambo kya Mukama.
17
Laba, ennaku zijja byonna ebiri mu nnyumba yo n'ebyo bajjajjaabo bye baatereka okutuusa leero lwe biritwalibwa e Babbulooni: tewali kintu ekirisigala, bw'ayogera Mukama.
18
Era balitwala abamu ku batabani bo ne bazukkulu bo: ne babalama olw'okuweereza mu lubiri lwa kabaka w'e Babbulooni.
19
Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde kirungi: kasita mu kiseera kyange wanaabaawo emirembe n'amazima.
20
Ebikolwa byonna ebya Keezeekiya n'amaanyi ge gonna era bwe yasima ekidiba n'olusalosalo n'aleeta amazzi mu kibuga byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda.
21
Keezeekiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: Manase mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25