bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 17
2 Kings 17
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 18 →
1
Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri (12) ogwa Akazi kabaka wa Yuda, Koseya mutabani wa Era n'atandika okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka mwenda.
2
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, naye n'atenkana bassekabaka ba Isiraeri abaamusooka.
3
Salumaneseri kabaka w'e Bwasuli n'alumba Koseya n'amulwanyisa n'amuwangula; Koseya n'afuuka muddu we n'amuwanga omusolo buli mwaka.
4
Naye Kabaka oyo wa Bwasuli, n'amanya olukwe lwa Koseya olw'okujeema, nga Koseya atumidde So, kabaka wa Misiri ababaka amuyambe, bw'atyo Koseya n'atawa kabaka w'e Bwasuli musolo nga bwe yakolanga buli mwaka. Awo kabaka wa Bwasuli n'akwata Koseya n'amusiba mu kkomera.
5
Awo kabaka w'e Bwasuli n'alumba ensi ya Isiraeri okugirwanyisa, najja e Samaliya n'akizingiriza emyaka esatu.
6
Mu mwaka ogw'omwenda nga Koseya ye kabaka wa Isiraeri, kabaka wa Bwasuli n'awamba ekibuga Samaliya, n'atwala ab'omu Isiraeri mu Bwasuli nga basibe, abamu n'abateeka mu kibuga Kala, abalala mu kitundu ky'e Gozani okumpi n'omugga Kaboli ne mu bibuga by'Abameedi.
7
Ekyo kyali bwe kityo kubanga abaana ba Isiraeri baali boonoonye Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, mu mukono gwa Falaawo kabaka w'e Misiri, ne baaweerezanga bakatonda abalala;
8
era ne batambuliranga mu mpisa z'amawanga ago, Mukama ge yagoba mu maaso gabwe ne mu mateeka ga ba ssekabaka ba Isiraeri ge baateekanga.
9
Era abaana ba Isiraeri ne bakoleranga mukyama ebigambo ebitali birungi ku Mukama Katonda waabwe; ne beezimbira ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna, mu kigo eky'omukuumi era ne mu bibuga ebiriko bbugwe.
10
Era ne beesimbira empagi ez'amayinja n'ebifaananyi bya Asera, katonda omukazi ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi:
11
ne bootererezanga obubaane ku bifo ebyo ebigulumivu ng'amawanga Mukama ge yasooka okuggyawo, bwe gakolanga ebibi ne gasunguwaza Mukama:
12
ne basinzanga ebifaananyi Mukama bye yagamba nti Temubisinzanga.
13
Naye Mukama n'alabulanga Isiraeri ne Yuda ng'ayita mu bannabbi na buli mulabi ng'agamba nti Mukyuke muve mu makubo gammwe amabi mukwatenga ebiragiro byange n'amateeka gange ng'amateeka gonna bwe gali ge nnalagira bajjajjammwe, era ge n'abawa nga mpita mu baddu bange bannabbi.
14
Kyokka ne batawulira, wabula ne bakakanyaza emitima gyabwe nga bajjajjaabwe abaagaana okwesiga Mukama Katonda waabwe, bwe baakola.
15
Ne bagaana okukwata amateeka ge, n'okukuuma endagaano gye yakola ne bajjajjaabwe, ne batafa ku kulabula kwe yabalabulamu. Ne basinza ebitagasa, nabo ne bafuuka ebitagasa, ne bagoberera empisa z'ab'amawanga agabeetoolodde, sso nga Mukama yabagaana okuyisa ng'ab'amawanga ago.
16
Awo ne baleka ebiragiro byonna ebya Mukama Katonda waabwe, ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse, ennyana bbiri, ne bakola Asera, ne basinzanga emmunyeenye zonna ez'oku ggulu, ne baweerezanga Baali.
17
Ne bokyanga abaana baabwe ab'obulenzi n'ab'obuwala mu muliro nga ssaddaaka; ne balagulwanga era ne bakolanga eby'obulogo, ne beeweerangayo ddala okukola ebibi, ne banyiiza Mukama.
18
Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isiraeri n'abagoba mu maaso ge: tewaali gwe yalekawo okuggyako ekika kya Yuda kyokka.
19
Naye ne Yuda ne batakwatanga biragiro bya Mukama Katonda waabwe, ne batambuliranga mu mateeka ga Isiraeri ge baateeka.
20
Mukama n'agaana ezzadde lyonna erya Isiraeri n'ababonyaabonyanga n'abagabula mu mukono gw'abanyazi okutuusa lwe yabagoba mu maaso ge.
21
Kubanga yayuzaamu Isiraeri okubaggya ku nnyumba ya Dawudi; ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati kabaka. Yerobowaamu n'ajeemesa Isiraeri, n'abaleetera okwonoona okunene.
22
Awo abaana ba Isiraeri ne batambuliranga mu bibi byonna ebya Yerobowaamu bye yakola; ne batabivaamu;
23
okutuusa Mukama lwe yagoba Isiraeri mu maaso ge nga bwe yayogerera mu baddu be bannabbi. Awo Isiraeri ne baggyibwa mu nsi yaabwe ne batwalibwa mu Bwasuli n'okutuusa leero.
24
Awo kabaka w'e Bwasuli n'aleeta abantu ng'abaggya e Babbulooni, Kusa, Ava, Kamasi ne Sefavayimu, n'abateeka mu bibuga eby'e Samaliya mu kifo ky'abaana ba Isiraeri: ne babeera mu Samaliya ne batuula mu bibuga byabyo.
25
Bwe baali baakatandika okubeeramu, tebassaamu Mukama kitiibwa, Mukama kyeyava abasindikira empologoma ne zibattamu abamu.
26
Kyebaava bagamba kabaka w'e Bwasuli nga boogera nti Amawanga ge watwalira ddala n'obateeka mu bibuga eby'e Samaliya tebamanyi mpisa ya Katonda ow'omu nsi: kyeyava abasindikira empologoma ne zibatta kubanga bali tebamanyi mpisa ya Katonda ow'omu nsi eyo.
27
Awo kabaka w'e Bwasuli n'alagira ng'ayogera nti Mutwaleeyo omu ku bakabona be mwaggyayo, bagende babeere eyo, abayigirize empisa ya Katonda ow'omu nsi eyo.
28
Awo omu ku bakabona be baggya mu Samaliya n'ajja n'abeera e Beseri n'abayigiriza bwe kibagwanira okutyanga Mukama.
29
Naye buli ggwanga ne beekoleranga bakatonda baabwe bo ne babateeka mu nnyumba ez'ebifo ebigulumivu Abasamaliya bye baali bakoze, buli ggwanga mu bibuga byabwe mwe baabeera.
30
Abantu abava mu mawanga ne beekolera bakatonda baabwe: abava e Babbulooni ne beekolera Sukkosubenosi, abava e Kuusi ne beekolera Nerugali, abava e Kamasi ne beekolera Asima.
31
Abava mu Avi ne beekolera Nibukazi ne Talutaki; Abasefavayimu ne bookeranga abaana baabwe mu muliro nga ssaddaaka eri Adulammereki ne Anammereki, bakatonda babwe.
32
Abantu bano, ne Mukama baamusinzanga, era ne beerondangamu mu bo bennyini bakabona abaabaweerangayo ssaddaaka mu bifo ebigulumivu.
33
Bwe batyo ne bassangamu Mukama ekitiibwa, naye era ne babanga baweereza ba katonda babwe, nga bagoberera obulombolombo bw'ensi mwe baava.
34
Ne leero bakyakola nga bwe baakolanga edda. Tebassaamu Mukama kitiibwa era tebakwata byabalagirwa n'ebyabakuutirwa, wadde okugondera amateeka n'ebiragiro Mukama bye yawa ab'ezzadde lya Yakobo gwe yatuuma Isiraeri.
35
Mukama gwe yalagaana naye endagaano n'abakuutira ng'ayogera nti Temusinzanga bakatonda balala, so temubavuunamiranga, temubaweerezanga era temuwangayo ssaddaaka gyebali:
36
naye Mukama eyabaggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi n'omukono ogwagololwa oyo gwe mubanga musinza, gwe mubanga muvuunamira, era oyo gwe mubanga muwa ssaddaaka;
37
amateeka ge mwalagirwa ne biragiro bye yabawandiikira, munaabikwatanga ne mubikola ennaku zonna; so temusinzanga bakatonda balala:
38
n'endagaano gye ndagaanye nammwe temugyerabiranga; so temusinzanga bakatonda balala:
39
naye Mukama Katonda wammwe gwe mubanga musinza; era ye anaabalokolanga mu mukono gw'abalabe bammwe bonna.
40
Naye ne batawulira ne bakola nga empisa zabwe ez'edda bwe zali.
41
Kale abantu ab'amawanga ago ne basinzanga Mukama, kyokka era ne basinzanga n'ebifaananyi bya bakatonda babwe ebyole. N'abaana baabwe nabo bwe batyo bwe baakolanga, era ne bazzukulu baabwe bwe bakyakola n'okutuusa kati.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25