bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 6
2 Kings 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 7 →
1
Awo abaana ba bannabbi ababeeranga ne Erisa lwali lumu ne bamugamba nti Ekifo kye tulimu kituyinze obufunda.
2
Tukwegayiridde tukkirize tugende ku mugga Yoludaani tutemeyo buli muntu omuti gumu twezimbirewo ekifo ekigazi. N'addamu nti Mugende.
3
Omu ku bo n'amugamba nti Kkiriza ogende n'abaddu bo. N'addamu nti Kale n'agenda.
4
Awo n'agenda nabo. Awo bwe baatuuka ku Yoludaani, ne batema emiti.
5
Naye omu bwe yali atema omuti, embazzi n'egwa mu mazzi: n'akaaba ng'aleekaana nti Zinsanze, mukama wange! kubanga embazzi ebadde nneeyazike.
6
Omusajja wa Katonda n'abuuza nti Egudde wa? N'amulaga ekifo. Erisa n'atema omuti n'abbulukusa ekyuma.
7
N'amugamba nti Gikwate. N'agolola omukono gwe n'agikwata.
8
Awo kabaka w'e Busuuli n'alwana ne Isiraeri; n'ateesa n'abaddu be ng'ayogera nti Egindi ye eriba olusiisira lwange.
9
Omusajja wa Katonda n'atumira kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Weekuume oleme okuyita egindi; kubanga eyo Abasuuli gye basiisidde.
10
Kabaka wa Isiraeri n'atuma mu kifo ekyo omusajja wa Katonda kye yali amubuuliddeko ng'amulabula. Emirundi mingi, kabaka n'awona okutuukibwako akabi mu kifo ekyo.
11
Ekyo n'ekyeralikiriza nnyo kabaka n'asoberwa. N'ayita abakungu be n'ababuuza nti Ani ku mmwe ali ku lwa kabaka wa Isiraeri atulyamu olukwe?
12
Omu ku baddu be n'addamu nti Nedda, mukama wange, ayi kabaka; naye Erisa nnabbi ali mu Isiraeri ye abuulira kabaka wa Isiraeri ebigambo by'oyogerera mu kisenge ky'osulamu.
13
N'agamba nti Mugende mulabe gy'ali, ndyoke ntume mukwate. Ne bamubuulira nti, Ali mu Dosani.
14
Awo n'asindikayo eggye ddene, embalaasi n'amagaali: ne ligenda kiro ne lizingiza ekibuga.
15
Awo omuddu w'omusajja wa Katonda bwe yagolokoka enkya n'afuluma, laba, eggye n'embalaasi n'amagaali nga bazingizizza ekibuga. Omuddu we Erisa n'amugamba nti Zitusanze, mukama wange! tunaakola tutya?
16
Erisa n'addamu nti Totya: kubanga abali naffe bangi okusinga abali ku ludda lwabwe.
17
Erisa n'asaba n'agamba nti Mukama wange, nkwegayiridde, zibula amaaso ge alabe. Awo Mukama n'azibula amaaso g'omulenzi; n'alaba, olusozi nga lujjudde embalaasi n'amagaali ag'omuliro ageetoolodde Erisa.
18
Awo eggye ly'Abasuuli bweryaserengeta okulumba Erisa n'asaba Mukama ng'agamba nti Nkwegayiridde, ziba amaaso g'abantu bano. N'aziba amaaso gaabwe ng'ekigambo kya Erisa bwe kyali.
19
Erisa n'abagamba nti Lino si lye kkubo so ne kino si kye kibuga: mungoberere nange n'abatuusa eri omusajja gwe munoonya. N'abatwala e Samaliya.
20
Awo olwatuuka bwe baatuuka mu Samaliya, Erisa n'ayogera nti Mukama wange, zibula amaaso g'abantu bano balabe. Awo Mukama n'azibula amaaso gaabwe ne balaba; kale, laba, nga bali mu Samaliya wakati.
21
Awo kabaka wa Isiraeri bwe yabalaba, n'abuuza Erisa nti Kitange, mbatte? Mbatte?
22
Erisa n'addamu nti Nedda tobatta, oyagala okubatta, obawambye mu lutalo? Bawe emmere n'amazzi, balye era banywe, obaleke baddeyo ewa mukama waabwe.
23
Kabaka wa Isiraeri n'abakolera embaga nnene. Bwe baamala okulya n'okunywa, kabaka n'abasiibula ne baddayo ewa mukama waabwe. Okuva olwo, ebibinja bya Busuuli ne bikoma okujjanga mu nsi ya Isiraeri.
24
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Benikadadi kabaka w'e Busuuli n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n'agenda n'azingiza ekibuga Samaliya.
25
Awo mu Samaliya nga mulimu enjala nnyingi: kale, laba ne bakizingiza okutuusa lwe baatunda omutwe gw'endogoyi olw'ebitundu eby'effeeza kinaana (80), n'ekitundu ekyokuna eky'ekibya ekyakalimbwe wa Mayiba ne bakitunda ebitundu by'effeeza bitaano (500).
26
Awo kabaka wa Isiraeri bwe yali ng'ayita ku bbugwe, omukazi n'amukaabirira nti Mbeera, mukama wange, ayi kabaka.
27
Kabaka n'amuddamu nti Mukama bw'ataakuyambe, nze nnaggya wa eby'okukuyamba? Mu gguuliro nantiki mu ssogolero?
28
Kabaka n'amubuuza nti Obadde ki? N'amuddamu nti Mukazi munnange ono yaŋŋamba nti Waayo omwana wo ow'obulenzi tumulye olwaleero, olwenkya tulyoke tulye owange!
29
Ne tufumba omwana wange, ne tumulya. Ku lunaku olwaddako ne mmugamba nti Waayo omwana wo tumulye, kyokka omwana owuwe amukwese!
30
Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ebigambo by'omukazi n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala; abantu abali awo ku bbugwe ne balaba kabaka ng'ayambadde ebibukutu olw'okunakuwala.
31
N'agamba nti Katonda ambonereze n'obukambwe, Erisa mutabani wa Safati bw'ataatemweko omutwe olwaleero!
32
Kabaka n'atumira Erisa omubaka. Mu kiseera ekyo Erisa yali wuwe eka n'abakadde abaali bazze okumulaba. Omubaka wa kabaka yali tannatuuka, Erisa n'agamba abakadde abo nti Mulabye omutemu ono bw'atumye bantemeko omutwe? Kale omubaka we bw'anajja, muggaleewo oluggi mulunyweze aleme kuyingira. Ne kabaka yennyini ajja kuba nga amuvaako emabega.
33
Yali ng'akyayogera nabo, kabaka n'atuuka w'ali n'agamba nti Mukama ye atutuusizzaako akabi kano. Kale lwaki nnyongera okulindirira Mukama ky'anaakola?
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25