bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 3
2 Kings 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 4 →
1
Awo Yekolaamu mutabani wa Akabu n'atandika okufuga Isiraeri mu Samaliya mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, n'afugira emyaka kkumi n'ebiri.
2
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi; naye teyenkana kitaawe na nnyina mukwonoona kubanga yaggyawo empagi ya Baali kitaawe gye yakola.
3
Naye n'atambulira mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati ebyaleetera Isiraeri okwonoona.
4
Mesa kabaka wa Mowaabu yali musumba wa ndiga; era buli mwaka yawangayo eri kabaka wa Isiraeri ebyoya by'abaana b'endiga akasiriivu kamu (100,000) n'eby'endiga ennume nabyo akasiriivu kamu (100,000).
5
Awo olwatuuka Akabu bwe yafa kabaka wa Mowaabu n'ajeemera kabaka wa Isiraeri.
6
Kabaka Yekolaamu n'ava mu Samaliya, n'akuŋŋaanya eggye lye mu Isiraeri yonna.
7
N'atumira Yekosafaati kabaka wa Yuda n'agamba nti Kabaka wa Mowaabu anjeemedde. Onoonneegattako mu lutalo okumulwanyisa? Kabaka Yekosafaati n'addamu nti Weewaawo, nja kukwegattako. Nze naawe ffe bamu, abantu bange be bamu n'ababo, era n'embalaasi zange ze zimu n'ezizo.
8
N'amubuuza nti Tunaayambuka mu kkubo ki? Yekolaamu n'amuddamu nti Ekkubo eridda mu ddungu ery'e Edomu.
9
Awo kabaka wa Isiraeri n'agenda wamu ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu. Ne batambula olugendo lwa nnaku musanvu nga bagenda beetooloola. Ne wataba mazzi ga kuwa wadde ensolo ze baali nazo.
10
Kabaka wa Isiraeri n'agamba nti Zitusanze! Mukama atukuŋŋaanyizza ffe bakabaka abasatu okutugabula mu mikono gya Mowaabu.
11
Naye Yekosafaati n'abuuza nti Tewali wano nnabbi wa Mukama gwetuyinza kuyitamu okubuuza Mukama? Awo omu ku baddu ba kabaka wa Isiraeri n'addamu nti Waliwo wano Erisa mutabani wa Safati eyali omuddu wa Eriya.
12
Awo Yekosafaati n'ayogera nti Ekigambo kya Mukama kiri naye. Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati ne kabaka wa Edomu ne bagenda eri Erisa.
13
Erisa n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nnina nkolagana ki naawe? Genda eri bannabbi bakitaawo ne bannabbi ba nnyoko. Kyokka kabaka wa Isiraeri n'addamu nti Nedda, sijja kugenda eyo, kubanga Mukama akuŋŋaanyizza bakabaka bano abasatu okubagabula mu mukono gwa Mowaabu.
14
Erisa n'ayogera nti Nga Mukama w'eggye bw'ali omulamu gwe nnyimirira mu maaso ge, singa si Yekosafaati kabaka wa Yuda ali wano, ggwe salikufuddeko era sandikulabye.
15
Naye kale ndeetera omukubi w'ennanga. Awo olwatuuka omukubi w'ennanga bwe yakuba ennanga, amaanyi ga Mukama ne gajja ku Erisa.
16
N'agamba nti Mukama agamba nti Ekiwonvu ekikalu nja ku kijjuza enzizi z'amazzi.
17
Mukama ayongera n'agamba nti Temujja kulaba ku mbuyaga, era temujja kulaba ku nkuba. Naye ekiwonvu ekyo kinajjula amazzi, munywe mmwe n'ensolo zammwe.
18
Ate nno ekyo kitono nnyo mu maaso ga Mukama. Era ajja kuwaayo Abamowaabu mu mikono gyammwe.
19
Mujja kumenya buli kibuga ekiriko buggwe omugumu, na buli kibuga ekirabika obulungi, muteme buli muti omulungi, muzibe enzizi zonna ez'amazzi era mwonoone buli musiri omulungi nga mugujjuzamu amayinja.
20
Awo olwatuuka enkeera mu kiseera eky'okuwaayo ekitone, amazzi ne gajjura mu kitundu ekyo kyonna.
21
Abamowaabu bonna bwe baawulira nga bakabaka abasatu bazze okubalwanyisa, ne bakuŋŋaanya bonna abakulu n'abato abaali bayinza okubagalira eby'okulwanyisa, ne baleetebwa ku nsalo.
22
Abamowaabu bwe baagolokoka enkeera mu makya, enjuba n'eyaka ku mazzi agaboolekedde, ne balaba nga gamyuse ng'omusaayi.
23
Awo Abamowaabu ne boogera nti Guno musaayi! Mazima bakabaka baalwanaganye, abantu baabwe bonna ne battiŋŋana.
24
Naye bwe baatuka ku lusiisira lwa Isiraeri, Abaisiraeri ne basituka ne bakuba Abamowaabu ne babatwala entyagi. Abamowaabu ne badduka, Abaisiraeri ne babawondera okubatuusiza ddala mu nsi yaabwe nga bagenda babatta.
25
Abaisiraeri ne bazikirizza ebibuga, buli omu n'akasuka ejjinja mu bulime obulungi okutuusa nga babujjuzza amayinja, ne baziba enzizi zonna ez'amazzi, ne batema emiti gyonna emirungi. Mu Kirukaleseesi mwokka mwe baleka amayinja gaamu, naye ab'envuumuulo ne bakyetooloola, ne bakiwangula.
26
Kabaka wa Mowaabu bwe yalaba ng'olutalo lumugendedde bubi, n'atwala abasajja lusanvu (700) abalwanyisa ebitala, bawaguze batuuke ku kabaka wa Edomu, kyokka ne batayinza.
27
Awo kabaka wa Mowaabu n'addira mutabani we omubereberye eyandifuze mu kifo kye, n'amuwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku bbugwe. Ekyo ne kitiisa nnyo aba Isiraeri ne balekera awo okulwana ne baddayo mu nsi yaabwe.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25