bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 4
2 Kings 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 5 →
1
Awo omukazi omu ow'oku bakazi b'abaana ba bannabbi n'awanjagira Erisa ng'agamba nti Omuweereza wo, baze yafa. Era omanyi omuweereza wo oyo nga bwe yali assamu ennyo Mukama ekitiibwa. Naye kaakano omuntu eyali amubanja azze okutwala abaana bange bombi abafuule abaddu be.
2
Erisa n'amubuuza nti Oyagala nkukolere ki? Mbuulira: olina ki mu nnyumba yo? Nnamwandu n'addamu nti Omuzaana wo talina kintu okujjako akasumbi k'amafuta.
3
Awo Erisa n'amugamba nti Genda mu banno weyazike ebintu ebyereere bingiko.
4
Oyingire mu nnyumba yo weggaliremu ne batabani bo, ottululire amafuta mu bintu ebyo byonna, otereke ebijjudde.
5
Awo n'ava aw'ali Erisa n'agenda ne yeggalira ne batabani ne bamuleetera ebintu n'akwata akasumbi ak'amafuta, n'attululira mu bintu.
6
By'attuliramu bwe byajjula n'agamba omu ku batabani be nti Ndeetera eky'okuttululiramu ekirala. Omwana n'amugamba nti Tewakyali kittululirwamu kirala. Awo amafuta ne gakoma.
7
Awo omukazi n'agenda n'abuulira omusajja wa Katonda, ye n'amugamba nti Genda otunde amafuta osasule ebbanja lyo, aganaafikkawo gukuliisenga ggwe ne batabani bo.
8
Olunaku lwali lumu Erisa n'atambula n'agenda e Sunemu. Eyo waaliyo omukazi omugagga, ne yeegayirira Erisa okulya ku mmere mu maka ge. Era okuva olwo, Erisa buli lwe yakwatanga ekkubo eryo, yagendanga n'alya ku mmere mu maka ago.
9
Omukazi oyo n'agamba bba nti Kaakati ntegedde ng'omusajja ono atera okujja wano muntu wa Katonda.
10
Nkwegayiridde tukookere ku nnyumba yaffe ekisenge tumuteeremu ekitanda n'emmeeza, entebe n'etabaaza, bwanajjanga gyetuli asulenga omwo.
11
Lwali lumu Erisa n'ajja n'asulanga mu kisenge ekyo.
12
Erisa n'agamba Gekazi omuddu we nti Yita Omusunammu oyo. Awo n'amuyita n'ajja gyali.
13
Erisa n'agamba Gekazi nti Mugambe nti Otutawaanidde nnyo n'otulabirira okwenkana awo. Olina ky'oyagala naffe tukukolere? Oyagala tubeeko ekirungi kye tukwogerera ewa Kabaka oba ew'omukulu w'eggye? Omukazi n'addamu nti Siriiko kyeneetaaga kubanga ndi wano mu bantu bange.
14
Erisa n'abuuza Gekazi nti Kale kiki kye mba mmukolera? Gekazi n'addamu nti Mukazi wattu talina mwana wa bulenzi ate ne bba mukadde.
15
N'amugamba nti Muyite. Awo bwe yamuyita, omukazi najja n'ayimirira ku mulyango.
16
Erisa n'amugamba nti Mu kiseera nga kino omwaka ogujja, oliba olera omwana owuwo ow'obulenzi. Omukazi n'addamu nti Nedda, mukama wange, ggwe oli musajja wa Katonda, tolimba muzaana wo.
17
Awo omukazi n'aba olubuto era mu kiseera ng'ekyo mu mwaka ogwaddirira n'azaala omwana ow'obulenzi nga Erisa bwe yamugamba.
18
Awo olwatuuka omwana bwe yakula, lumu n'agenda eri kitaawe eyali mu nnimiro ng'ali n'abakunguzi.
19
N'akaabirira kitaawe nti Omutwe gunzita, omutwe gunzita! Kitaawe n'agamba omuweereza nti Musitule omutwale ewa nnyina.
20
Omuweereza n'amusitula n'amutwala ewa nnyina. Nnyina n'amulera. Bwe bwatuuka mu ttuntu, omwana n'afa.
21
Nnyina n'amwambusa, n'amugalamiza ku kitanda ky'omusajja wa Katonda, n'amuggaliramu, n'afuluma.
22
N'ayita bba, n'agamba nti Nkwegayiridde, mpeereza omu ku bavubuka, n'emu ku ndogoyi ŋŋende bunnambiro ew'omusajja wa Katonda, nkomewo mangu.
23
Omukazi n'atandiika endogoyi, n'agamba omuddu nti, Goba endogoyi eyanguwe. Totta ku bigere okuggyako nga nze nkugambye.
24
Awo n'atandiika endogoyi n'agamba omuddu we nti Goba otambule; totta ku bigere wabula nga nkugambye.
25
Awo n'agenda n'atuuka eri omusajja wa Katonda ku lusozi Kalumeeri. Omusajja wa Katonda bwe yalengera omukazi oyo ng'akyali wala, n'agamba Gekazi omuddu we nti Laba omukazi Omusunammu wuuyo.
26
Dduka mbiro, omusisinkane, omubuuze nti Oli bulungi? Ne balo ali bulungi? N'omwana ali bulungi? Omukazi n'addamu nti Bulungi.
27
Kyokka bwe yatuuka ku lusozi omusajja wa Katonda w'ali, n'amukwata ku bigere. Gekazi n'asembera okumusikawo, naye omusajja wa Katonda n'agamba nti Muleke, kubanga omutima gwe munakuwavu. Ate Mukama akinkisizza n'atambuulira.
28
Omukazi n'agamba nti Nze nnakusaba omwana ow'obulenzi? Saakugamba nti Tonnimba.
29
Awo Erisa n'agamba Gekazi nti Yanguwa mangu okwate omuggo gwange, ogende. Bw'osanga omuntu mu kkubo, tomulamusa. Era bwe wabaawo akulamusa, tomuddamu. Bw'onootuuka omuggo gwange oguteeke ku mwana.
30
Nnyina w'omwana n'agamba nti Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, sijja kukuvaako. Erisa n'asituka, n'agenda naye.
31
Awo Gekazi n'ayanguwa n'abasokayo. N'ateeka omuggo ku maaso g'omwana. Naye ne wataba ddoboozi newakubadde okuwulira. Kyeyava akomawo n'abasisinkana, n'agamba Erisa nti, Omwana tazuukuse.
32
Erisa bwe yayingira mu kisenge kye, n'alaba omwana ng'afudde era ng'agalamiziddwa ku kitanda kye.
33
Awo ne yeggalira mu kisenge omuli omwana, n'asaba Mukama.
34
N'agalamira ku mwana n'ateeka akamwa ke ku kamwa k'omwana, n'amaaso ge ku maaso g'omwana, n'ebibatu bye ku bibatu by'omwana, n'amwegololerako, omubiri gw'omwana n'egubuguma.
35
Erisa n'asooka asitukawo, n'atambulatambula mu kisenge, n'addayo ne yeegolorera ku mwana. Omwana n'ayasimula emirundi musanvu, n'azibula amaaso.
36
Erisa n'ayita Gekazi n'amugamba nti Yita Omusunammu oyo. Gekazi n'amuyita. Omukazi bwe yayingira Erisa n'amugamba nti Omwana wo wuuyo.
37
Omukazi n'ajja n'avuunama kumpi n'ebigere bya Erisa, n'akutama wansi, n'asitulawo omwana we, n'afuluma.
38
Awo Erisa n'agenda nate e Girugaali ng'enjala ebunye mu nsi. Abaana ba bannabbi ne batuula mu maaso ge n'alagira abaddu be nti Muteekeko entamu ennene, mubafumbire eby'okulya.
39
Awo omu n'afuluma n'agenda ku ttale okunoga amaboga, n'asanga omuzabbibu ogw'omu nsiko, n'anogako amaboga ag'omu nsiko n'ajjuza olugoye lwe, n'ajja n'agasalirasalira mu ntamu erimu eby'okulya, naye nga tebagamanyi.
40
Ne bajjulira abantu okulya. Naye olwalyako, ne baleekaana nti Ayi omusajja wa Katonda, mu ntamu mulimu obutwa! Ne batayongera kulya.
41
Erisa n'abagamba nti Kale mundeetere obutta, n'abusuula mu ntamu; n'alyoka abagamba nti Mujjulire abantu eby'okulya. Eby'okulya ne birongooka. Erisa n'agamba omuddu we nti, Abantu bawe balye. Omuddu we n'amuddamu nti, Owa, buno bwokka bwemba nteeka mu maaso g'abasajja ekikumi (100)!
42
Lwali lumu ne wajjawo omusajja eyava e Baalusalisa, ngatadde mu nsawo ye ebirimba by'eŋŋano ebyengevu n'emigaati abiri (20) egya bbaale eyasookera ddala mu makungula ge, n'abireetera omusajja wa Katonda. Erisa n'agamba omuweereza we nti: Biwe abantu balye.
43
Omuweereza we n'agamba nti Nkole ntya! Buno bwokka bwe mba mpa abantu ekikumi (100). Erisa n'addamu nti: Abantu bawe balye, kubanga Mukama agamba nti Bajja kulya balemerwenawo!
44
Omuweereza n'ateeka eby'okulya ebyo mu maaso gaabwe, ne balya ne balemerwawo, nga Mukama bwe yagamba.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25