bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 8
2 Kings 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 9 →
1
Erisa yali agambye omukazi gwe yazuukiriza omwana we ng'ayogera nti Situka ogende ggwe n'ennyumba yo obeere yonna yonna gy'oliyinza okubeera: kubanga Mukama ajja kuleeta enjala mu nsi okumala emyaka musanvu.
2
Awo omukazi n'asituka n'akola ng'ekigambo bwe kyali eky'omusajja wa Katonda: n'agenda ye n'ab'omunnyumba ye yonna, n'abeera mu nsi y'Abafirisuuti okumala emyaka musanvu.
3
Awo olwatuuka emyaka omusanvu bwe gyaggwaako, omukazi n'akomawo ng'ava mu nsi y'Abafirisuuti: n'agenda eri kabaka n'amusaba okuddizibwa ennyumba ye n'ekibanja kye.
4
Yasanga kabaka ayogera ne Gekazi omuddu wa Erisa omusajja wa Katonda ng'agamba nti Nkwegayiridde, mbuulira byonna ebikulu Erisa bye yakola.
5
Gekazi bwe yali abuulira kabaka nga Erisa bwe yazuukiza omuntu eyali afudde, omukazi oli Erisa gwe yazuukiriza omwana we n'atuuka mu kaseera ako, n'akaabirira kabaka ng'amwegayirira okuddizibwa ennyumba ye n'ekibanja kye. Gekazi n'agamba nti, Ayi kabaka, ono ye mukazi, n'ono ye mwana we, Erisa gwe yazuukiza.
6
Kabaka n'abuuza omukazi bwe byali, omukazi n'amubuulira byonna. Kabaka n'amuteekako omukungu gwe yalagira nti Omukazi ono muddize byonna ebyali ebibye, n'omuwendo ogugya mu bibala byonna ebyava mu kibinja kye, ebbanga lyonna lye yamala nga taliiwo.
7
Awo Erisa n'ajja e Ddamasiko; era Benikadadi kabaka w'e Busuuli yali ng'alwadde; Benikadadi ne bamubuulira nti Omusajja wa Katonda azze eno.
8
Kabaka n'agamba Kazayeeri nti Twala ekirabo ogende osisinkane omusajja wa Katonda, omusabe atubuulize eri Mukama oba nga Ndiwona obulwadde buno.
9
Awo Kazayeeri n'agenda okusisinkana Erisa, ng'atutte ku bintu byonna ebirungi eby'omu Ddamasiko, ekirabo ekyetikkiddwa eŋŋamira ana (40). Bwe yatuuka awali Erisa, ne yeeyanjula ng'agamba nti Omwana wo Benikadadi, kabaka w'e Busuuli antumye gy'oli ng'abuuza oba ng'anaawona obulwadde obumuluma.
10
Erisa n'amuddamu nti Genda omugambe nti ddala ajja kuwona obulwadde obumuluma; naye Mukama antegeezezza nga talirema kufa.
11
Awo Erisa n'atunuulira Kazayeeri enkaliriza, okutuusa Kazayeeri ensonyi lwe zaamukwata. Erisa omusajja wa Katonda n'akaaba amaziga.
12
Awo Kazayeeri n'amubuuza nti Mukama wange okaabira ki? Erisa n'addamu nti Kubanga mmanyi obubi bw'olikola abaana ba Isiraeri: ebigo byabwe olibyokya omuliro, abalenzi baabwe olibatta n'ekitala, olitta abaana baabwe abato, era olibaaga abakazi baabwe abali embuto.
13
Awo Kazayeeri n'ayogera nti Omuddu wo kye ki, embwa obubwa, akukola ekigambo ekyenkanidde awo? Erisa n'addamu nti Mukama antegeezezza nga gw'oliba kabaka w'e Busuuli.
14
Awo n'ava eri Erisa n'addayo eri mukama we; Benikadadi n'amubuuza nti Erisa akugambye ki? N'addamu nti Aŋŋambye nti Ojja kuwona.
15
Kyokka enkeera Kazayeeri n'addira bulangiti n'aginnyika mu mazzi n'agimuteeka ku nnyindo n'omumwa, kabaka n'afa ekiziyiro. Kazayeeri n'afuga mu kifo kye.
16
Awo mu mwaka ogw'okutaano ogwa Yolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri, Yekosafaati nga ye kabaka wa Yuda mu biro ebyo, Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati kabaka wa Yuda n'atanula okufuga.
17
Yali awezzezza emyaka asatu mu ebiri (32) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi.
18
N'atambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isiraeri ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: era n'awasa muwala wa Akabu: n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.
19
Naye Mukama teyayagala kuzikiriza Yuda kubanga yasuubiza omuddu we Dawudi ng'ab'ezadde lye banaafuganga obwakabaka obwo emirembe gyonna.
20
Ku mirembe gya Yekolaamu Edomu n'ajeemera Yuda ne beeterawo kabaka.
21
Yekolaamu n'agenda e Zayiri n'amagaali ge gonna. Eggye ly'Abaedomu ne limuzingiza. Ekiro, ye n'abaduumizi b'amagaali ge ne basobola okuwaguza, abasserikale be ne badduka, buli omu n'adda gy'abeera.
22
Edomu n'ejeemera Yuda n'okutuusa kati. Era mu kiseera ekyo, n'ekibuga Libuna ne kijeema.
23
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekolaamu ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda.
24
Awo Yekolaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikirwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Akaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye.
25
Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri (12) ogwa Yolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'atandika okufuga.
26
Yali aweza emyaka abiri mu ebiri (22) bwe yatandika okufuga; n'afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye yali Asaliya muwala wa Omuli kabaka wa Isiraeri.
27
N'atambulira mu kkubo ly'ennyumba ya Akabu n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga yali mukoddomi wa nnyumba ya Akabu.
28
Kabaka Akaziya n'agenda ne Yolaamu mutabani wa Akabu okulwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli e Lamosugireyaadi: Abasuuli ne bafumita Yolaamu ekiwundu.
29
Awo kabaka Yolaamu n'akomawo okuwonera e Yezuleeri ebiwundu Abasuuli bye baamufumitira e Laama bwe yalwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'agenda e Yezuleeri okulaba Yolaamu mutabani wa Akabu obulwadde.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25