bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 16
2 Kings 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 17 →
1
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu (17) ogwa Peka mutabani wa Lemaliya, Akazi mutabani wa Yosamu kabaka wa Yuda n'atandika okufuga.
2
Akazi yali awezzeza emyaka abiri (20) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka kkumi na mukaaga (16) mu Yerusaalemi. N'atakola birungi mu maaso ga Mukama Katonda we nga jjajjaawe Dawudi bweyakola.
3
Naye n'atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri ebbi, n'ayokya mutabani we mu muliro nga ssaddaaka ng'eby'emizizo bwe byali eby'ab'amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
4
N'awangayo ssaddaaka n'ayoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu ne ku nsozi ne wansi wa buli muti omubisi.
5
Awo Lezini kabaka w'e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya kabaka wa Isiraeri ne balumba Yerusaalemi okukirwanyisa: ne bazingiza Akazi, naye ne batasobola kumuwangula.
6
Mu kiseera ekyo Lezini kabaka w'e Busuuli mwe yawangulira Erasi, ne kiba kya Busuuli, n'akigobamu aba Yuda abaakirimu, Abasuuli ne babeera mu Erasi n'okutuusa kati.
7
Awo Akazi n'atumira Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli ababaka ng'ayogera nti Nze ndi muddu wo era ndi mwana wo: jjangu ontaase mu mukono gwa kabaka w'e Busuuli ne mu mukono gwa kabaka wa Isiraeri abannumbye.
8
Awo Akazi n'aggyayo ezaabu n'effeeza eyasangibwa mu nnyumba ya Mukama, ne by'obugagga ebyali mu nnyumba ya kabaka, n'abiweereza kabaka w'e Bwasuli ng'ekirabo.
9
Awo kabaka w'e Bwasuli n'akkiriza: n'alumba Ddamasiko n'akiwamba, n'atta kabaka wa Lezini, n'atwala abantu bamu e Kiri nga basibe.
10
Awo kabaka Akazi n'agenda e Ddamasiko okusisinkana ne Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli, n'alabayo ekyoto: kabaka Akazi n'aweereza Uliya ekifaananyi ky'ekyoto ekyo ekiraga engeri yonna gyekyakolebwamu.
11
Uliya kabona n'azimba ekyoto ng'agoberera byonna bwe byali kabaka Akazi bye yaweereza ng'ayima e Ddamasiko. Bw'atyo bwe yakikola, n'akimaliriza nga kabaka Akazi tannakomawo okuva e Ddamasiko.
12
Awo kabaka bwe yakomawo okuva e Ddamasiko, n'alaba ekyoto ekyo, n'akisemberera, n'aweerayo ku kyo ssaddaaka.
13
N'ayokerako ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, n'ekiweebwayo eky'obutta, n'ayiwako ekiweebwayo eky'eby'okunywa, n'amansirako n'omusaayi ogw'ekiweebwayo eky'emirembe.
14
Ekyoto eky'ekikomo ekya Mukama ekyali wakati we kyoto kya Akazi kyeyazimbisa ne nnyumba ya Mukama, n'akiggyawo n'akiteeka ku luuyi olw'obukiikakkono obw'ekyoto kye.
15
Awo kabaka Akazi n'alagira Uliya kabona nti Ku kyoto kino ekyange ekinene kw'obanga oyokera ekiweebwayo eky'obutta ekya buli kawungeezi n'ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo eby'obutta ebya kabaka n'eby'abantu bonna mu ggwanga, n'ebiweebwayo byabwe eby'okunywa; era omansirangako omusaayi gw'ensolo zonna eziwereddwayo nga ssaddaaka. Naye ekyoto eky'ekikomo kinaabanga kyange kya kwebuulizaako eri Mukama.
16
Bw'atyo Uliya kabona n'akola nga byonna bwe byali kabaka Akazi bye yamulagira.
17
Awo kabaka Akazi n'asalako emigo ku bikondo ebyali bikozesebwa mu nnyumba ya Mukama, n'aggyako ebbenseni ezaali ku byo ne ttanka ey'ekikomo eyali etudde ku bifaananyi by'ente ekkumi ne bbiri (12) ez'ekikomo, n'agiteeka wansi ku mayinja amaaliire.
18
Olukuubo olusereke olw'okuyitamu ku Ssabbiiti olwali luzimbiddwa munda w'olubiri, n'omulyango kabaka gwe yayingirirangamu mu nnyumba ya Mukama, n'abiziba okusanyusa kabaka wa Bwasuli.
19
Ebikolwa ebirala byonna ebya Akazi bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda.
20
Akazi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Keezeekiya mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25