bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 22
2 Kings 22
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 23 →
1
Yosiya yali awezzeza emyaka munaana bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka asatu mu gumu (31) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye nga ye Yedida muwala wa Adaya ow'e Bozukasi.
2
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi n'atambulira mu kkubo lyonna erya Dawudi jjajjaawe n'atakyamira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono.
3
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'obufuzi bwa kabaka Yosiya, kabaka n'atuma Safani omuwandiisi mutabani wa Azaliya, muzzukulu wa Mesullamu eri ennyumba ya Mukama ng'agamba nti
4
Genda eri Kirukiya kabona asinga obukulu, omugambe abale effeeza ezireetebwa mu nnyumba ya Mukama, abaggazi ze baakasolooza ku bantu:
5
baziwe abakozi abaddabiriza ennyumba ya Mukama;
6
ababazzi n'abazimbi b'amayinja; olw'okugula emiti n'amayinja amabajje okuddaabiriza ennyumba.
7
Naye tebaabala muwendo ogwabakwasibwa, kubanga baakola n'obwesigwa.
8
Awo Kirukiya kabona asinga obukulu n'agamba Safani omuwandiisi nti Nzudde ekitabo eky'amateeka mu nnyumba ya Mukama. Awo Kirukiya n'awa Safani ekitabo n'akisoma.
9
Awo Safani omuwandiisi n'ajja eri kabaka n'addiza kabaka ebigambo n'ayogera nti Abaddu bo baggyeemu effeeza ezirabise mu nnyumba, ne baziwa abakozi b'emirimu abaddabiriza ennyumba ya Mukama.
10
Awo Safani omuwandiisi n'agamba kabaka nti Kirukiya kabona ampadde ekitabo. Safani n'akisomera mu maaso ga kabaka.
11
Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ebigambo eby'ekitabo eky'amateeka, n'atya n'anakuwala n'ayuza ebyambalo bye.
12
Awo kabaka n'alagira Kirukiya kabona ne Akikamu mutabani wa Safani ne Akubooli mutabani wa Mikaaya ne Safani omuwandiisi ne Asaya omuddu wa kabaka n'abagamba nti
13
Mugende mubuuze Mukama ku lwange ne ku lw'abantu bonna ab'omu Yuda, ebifa ku bigambo eby'omu kitabo kino ekizuuliddwa. Mukama atusunguwalidde nnyo, kubanga bajjajjaffe tebaagondera bigambo biri mu kitabo kino, byonna ebyatuwandiikirwa tubikole.
14
Awo Kirukiya kabona ne Akikamu ne Akubooli ne Safani ne Asaya ne bagenda eri Kuluda, nnabbi omukazi muka Sallumu mutabani wa Tikuva muzzukulu wa Kirukasi. Omukazi oyo yabeeranga mu Yerusaalemi ku luuyi olwokubiri; ne bateesa naye ku nsonga eyo.
15
Awo n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Mumugambe omusajja obatumye gye ndi nti
16
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ng'ebigambo byonna eby'ekitabo kabaka wa Yuda ky'asomye bwe biri:
17
kubanga abantu bange banvuddeko ne bookera obubaane eri bakatonda abalala bansunguwaze n'omulimu gwonna ogw'engalo zaabwe; obusungu bwange kyebuliva bubuubuuka ku kifo kino so tebulizikira.
18
Naye kabaka wa Yuda abatumye okubuuza Mukama bwe mutyo bwe muba mumugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Olw'ebigambo by'owulidde,
19
nnagonza omutima gwo ne weetoowaliza mu maaso ga Mukama bw'owulidde bye nnayogera ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, nga kirifuuka matongo n'ekikolimo, n'oyuza ebyambalo byo n'okaaba amaziga mu maaso gange; nange nkuwulidde, ne nkusaasira, bw'ayogera Mukama.
20
Nange kyendiva nkukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo, n'ozikiibwa mirembe mu ntaana yo, naawe toliraba bubi bwonna bwe ndireeta mu kifo kino. Ne baddiza kabaka ebigambo ebyo.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25