bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 12
2 Kings 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 13 →
1
Mu mwaka ogw'omusanvu ogwa Yeeku kabaka wa Isiraeri, Yowaasi n'atandika okufuga; n'afugira emyaka ana (40) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebbiya ow'e Beeruseba.
2
Yowaasi n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi ennaku ze zonna Yekoyaada kabona ze yamuyigirizaamu.
3
Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu beeyongera okuwaayo ssaddaaka n'okwotereza obubaane mu bifo ebyo.
4
Awo Yowaasi n'agamba bakabona nti Effeeza zonna ez'ebintu ebitukuzibwa ebireetebwa mu nnyumba ya Mukama, ne feeza buli muntu z'agerekerwa okuwa, wamu n'ezo omuntu z'aba yeetemye yekka okuwa,
5
zikwasibwenga bakabona, buli kabona ng'akwasibwa ez'abo b'akolamu, bazikozese okuddaabiriza Yeekaalu buli w'eba yeetaaga okudaabirizibwa.
6
Naye okutuusa mu mwaka ogw'abiri (20) ogwa Yowaasi kabaka, bakabona bali tebanaddabiriza nnyumba ya Mukama.
7
Awo kabaka Yowaasi n'ayita Yekoyaada kabona ne bakabona abalala n'ababuuza nti Kiki ekibalobera okuddabiriza ennyumba ya Mukama? Naye okuva kati temwongera kuggya feeza ku bantu ne muzisigaza, naye muziweeyo zikozesebwe okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.
8
Awo bakabona ne bakkiriza obutaggya nate ffeeza ku bantu newakubadde okuziba ebituli by'ennyumba.
9
Naye Yekoyaada kabona n'addira essanduuko ennene n'awummula ekituli mu kisaanikizo kyayo, n'agiteeka ku mabbali g'ekyoto ku luuyi olwa ddyo ng'oyingira mu nnyumba ya Mukama: awo bakabona abaakuumanga oluggi ne bateeka omwo effeeza zonna ezaaleetebwanga mu nnyumba ya Mukama.
10
Awo olwatuuka bwe baalaba nga mu ssanduuko mulimu feeza nnyingi, omuwandiisi wa kabaka ne kabona asinga obukulu ne bajja ne bazibala ze basanze mu nnyumba ya Mukama ne bazitereka mu bisawo.
11
Effeeza ezo ezibaliddwa, ne bazikwasa abalabirira ennyumba ya Mukama: ne basasula ababazzi n'abazimbi abaakola emirimu gy'ennyumba ya Mukama,
12
n'abazimbi b'amayinja n'abatema amayinja, n'okugula emiti n'amayinja amabajje okuddabiriza ennyumba ya Mukama; ne basasulira n'ebirala byonna ebyetaagisa ku mulimu ogwo.
13
Naye ebikopo ebya ffeeza n'ebisalako ebisiriiza ku ttaala, n'ebbakuli, n'amakondeere, n'ebintu ebirala byonna ebya zaabu oba ebya ffeeza ebikozesebwa mu nnyumba ya Mukama, tebyakolebwako n'effeeza ezo ezaaleetebwa mu nnyumba ya Mukama:
14
naye zonna ezaaleetebwa, zaakozesebwa kusasula bakozi n'akugula byonna, ebyakozesebwa okuddabiriza ennyumba ya Mukama.
15
Era abantu be baakwasanga feeza okusasula abakozi tebaabasabanga kunnyonnyola ngeri gye bazikozesezzamu, kubanga abantu abo baazikozesanga na bwesigwa.
16
Effeeza ez'ebiweebwayo olw'omusango n'effeeza ez'ebiweebwayo olw'okwonoona tezaaleetebwa mu nnyumba ya Mukama: zaabanga za bakabona.
17
Awo Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'ajja n'alumba ekibuga Gaasi n'akiwangula: n'akyukira ne Yerusaalemi okukirwanyisa.
18
Yekoyaasi kabaka wa Yuda n'addira ebintu byonna Yekosafaati ne Yekolaamu ne Akaziya bajjajjaabe bassekabaka ba Yuda bye baawongera Mukama, era n'ebyo ye yennyini Yowaasi bye yali awonze, n'ezaabu yenna eyasangibwa mu ggwanika lye nnyumba ya Mukama, era ne mu ly'olubiri lwa kabaka, n'abiweereza Kazayeeri kabaka w'e Busuuli, Kazayeeri n'alekayo okulumba Yerusaalemi, n'agenda.
19
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yowaasi ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda.
20
Abaddu be ne bakola olukwe, ne bamuttira mu nnyumba ey'omu kifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda, ekiyitibwa Miiro, ku kkubo erigenda e Siira.
21
Yozakali mutabani wa Simeyaasi ne Yekozabadi mutabani wa Someri, abaddu be baamufumita n'afa; Yowaasi n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Amaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25