bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 5
2 Kings 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 6 →
1
Naamani omukulu w'eggye lya kabaka w'e Busuuli yali muntu wa kitiibwa era omuganzi ennyo eri mukama we, kubanga olwa Naamani oyo, Mukama yali awadde Busuuli obuwanguzi: era yali musajja wa maanyi era omuzira, kyokka yali mugenge.
2
Awo Abasuuli bwe bataabaala Isiraeri banyagayo omuwala omuto eyaweerezanga muka Naamani.
3
Lwali lumu omuwala oyo n'agamba mugole we nti Singa mukama wange agenze eri nnabbi mu Samaliya, kale yaliwonyeza ebigenge bye.
4
Awo Naamani n'agenda abuulira mukama we ebigambo omuwala eyanyagibwa mu Isiraeri byayogedde.
5
Kabaka wa Busuuli n'agamba nti Kale genda. Nja kuwandiikira kabaka wa Isiraeri ebbaluwa ogimutwalire. Awo Naamani n'agenda ng'atutte talanta kkumi (10) eza ffeeza, n'ebitundu kakaaga (6,000) ebya zaabu, n'emigogo kkumi (10) egy'ebyambalo.
6
N'aleetera kabaka wa Isiraeri ebbaluwa ng'esoma bw'eti Ebbaluwa eno ng'etuuseko, ya ku kwanjulira omukungu wange Naamani gwe nkuweerezza omuwonye ebigenge bye.
7
Awo olwatuuka kabaka wa Isiraeri bwe yasoma ebbaluwa, n'ayuza ebyambalo bye n'ayogera nti Nze Katonda nzite era nnamye, omusajja ono n'okutuma n'antumira okuwonya omuntu ebigenge bye? Naye mulowooze, mbeegayiridde, mutegeere bw'anesonsako okuyomba nange!
8
Erisa omusajja wa Katonda bwe yawulira nga kabaka wa Isiraeri ayuzizza ebyambalo bye olw'okusoberwa, n'amutumira ng'agamba nti Lwaki oyuzizza ebyambalo byo olw'okusoberwa? Musindike ajje eno gye ndi alyoke amanye nga mu Isiraeri bwe mulimu nnabbi.
9
Awo Naamani n'ajja n'embalaasi ze, n'amagaali ge, n'asibira ku mulyango gw'ennyumba ya Erisa.
10
Erisa n'amutumira omubaka okumugamba nti Genda onaabe emirundi musanvu mu Mugga Yoludaani, ojja kuwona obe mulongoofu.
11
Kyokka Naamani n'akyuka okuddayo nga bwatolotooma nti Kale laba! mbadde ndowooza ng'anaavaayo n'ayimirira wendi n'eyeegayirira Mukama Katonda we, n'ayisaayisa engalo z'e awali ebigenge, n'amponya!
12
Emigga Abana ne Falufali egy'e Ddamasiko tegiriimu mazzi agasinga amazzi ga Isiraeri gonna obulungi? Siyinza kunaaba omwo ne mba mulongoofu? N'akyuka n'agenda ng'aliko obuswandi.
13
Abaddu be ne bamusemberera ne bamugamba nti Ssebo, singa nnabbi akugambye okukola ekintu ekinene, tewandikikoze? Naye kino si kyangu nnyo bw'akugamba okunaaba obe mulongoofu?
14
Awo Naamani n'aserengeta, ne yennyika mu Mugga Yoludaani emirundi musanvu, ng'omusajja wa Katonda bwe yamugamba, n'awonera ddala, omubiri gwe ne gubeera ng'ogw'omwana omuto.
15
Awo Naamani n'addayo ew'omusajja wa Katonda, ye n'ekibiina kye kyonna, n'ayimirira mu maaso ge, n'agamba nti Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda wa Isiraeri ye katonda w'ensi zonna, teri mulala. Kale nkwegayiridde okkirize nkuwe ekirabo, nze omuweereza wo kye nkuleetedde.
16
Erisa n'agamba nti Mu mazima, nga Mukama gw'empeereza bw'ali omulamu, sijja kubaako kintu na kimu kye ntwala. N'amwegayirira nnyo okukitwala, kyokka ye n'agaana.
17
Awo Naamani n'agamba nti Oba okigaanyi, nkwegayiridde ompe ettaka eriyinza okwetikkibwa ennyumbu bbiri, nditwale ewaffe, kubanga okuva kati, nze omuddu wo, siiwengayo ebiweebwayo ebyokebwa eri bakatonda abalala okujjako eri Mukama.
18
Naye mu kino, Mukama ansonyiwenga nze omuweereza wo, bwe nnaawerekeranga mukama wange kabaka wa Busuuli okugenda mu ssabo lya Limmoni katonda wa Busuuli, okusinzizaayo. Bwe nnaavunamanga mu ssabo lya Limmoni, Mukama asonyiwenga mu ekyo.
19
Erisa n'amugamba nti Genda mirembe. Ne baawukana, Naamani n'agenda. Yali yaakatambulako katono,
20
Gekazi omuweereza wa Erisa omusajja wa Katonda, n'agamba nti Laba, mukama wange bw'aleese Naamani ono Omusuuli okugenda n'atamuggyako ebyo byeyaleeta! Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, nja kudduka, mmugoberere, mbeeko kye mmuggyako.
21
Awo Gekazi n'agoberera Naamani. Awo Naamani bwe yalaba amugoberera, n'ava mu ggaali lye okumusisinkana, n'amubuuza nti Mirembe?
22
N'amuddamu nti Mirembe. Mukama wange antumye ng'ayogera nti Mu kaseera kano abaddu babiri ku b'ekibiina kya bannabbi kye bajje bantuukako nga bava mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu; nkwegayiridde, obawe talanta emu eya ffeeza n'emiteeko gy'ebyambalo ebiri.
23
Awo Naamani n'amugamba nti Kkiriza, otwale talanta bbiri. N'amwegayirira, n'asiba talanta bbiri eza ffeeza mu nsawo bbiri wamu n'emiteeko gy'ebyambalo ebiri, n'abitikka abaddu be babiri, ne babitwala nga bakulembeddemu Gekazi.
24
Awo bwe yatuuka ku lusozi, n'abibajjako n'abitereka mu nnyumba n'abasindika baddeyo ewa Naamani.
25
Awo Gekazi n'ayimirira mu maaso ga mukama we. Erisa n'amubuuza nti Ova wa, Gekazi? N'amuddamu nti Omuddu wo taliiko gy'agenze.
26
Erisa n'amugamba nti Omutima gwange tegugenze naawe omusajja bw'akyuse okuva mu ggaali lye okukusisinkana? Kino kye kiseera eky'okwefunira ensimbi n'ebyambalo, n'ennimiro ez'emizeyituuni n'emizabbibu, n'endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana?
27
Kale nno ebigenge bya Naamani binakukwata ggwe era binaabanga n'ezzadde lyo emirembe gyonna. Gekazi n'ava aw'ali Erisa nga mugenge atukula ng'omuzira.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25