bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 10
2 Kings 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 11 →
1
Awo Akabu yalina abantu nsanvu (70) abasibuka mu ye mu Samaliya. Yeeku n'awandiika ebbaluwa, n'aziweereza e Samaliya eri abakulu ba Yezuleeri, Abakadde, n'abo abaleeranga abantu abava mu nnyumba ya Akabu ng'agamba nti
2
Ebbaluwa eno ng'ebatuusseeko nga bwe mulina abantu ba Mukama wammwe, era mulina amagaali n'embalaasi, mulina n'ekibuga ekiriko enkomera n'eby'okulwanyisa;
3
kale mulonde ku bantu ba mukama wammwe asinga obulungi n'okusaana, mumuteeke ku ntebe ya mukama wammwe, mulwanirire ennyumba ya mukama wammwe.
4
Bwe baasoma ebbaluwa eyo, ne batya nnyo, ne bagamba nti Bakabaka abo ababiri Yekolaamu ne Akaziya we batasobolera kumulwanyisa ffe tunasobola tutya?
5
Awo omukulu w'abo mu nnyumba n'omukulu w'ekibuga, era n'abakadde n'abo abaalera abantu b'omunnyumba ya Akabu ne baatumira Yeeku nga boogera nti Tuli baddu bo, era tunaakola byonna by'onootulagira: tetujja kufuula muntu yenna kabaka: kola kyonna ggwe ky'onoosiima.
6
Awo Yeeku n'abawandiikira ebbaluwa endala ng'ayogera nti Oba nga muli ku lwange ne mukkiriza okuwulira eddoboozi lyange, mutemeko emitwe gyabo mu nnyumba ya mukama wammwe, mugindetere e Yezuleeri enkya obudde nga buno. Awo abantu b'omu nnyumba ya kabaka nsanvu (70) baali n'abakulu b'ekibuga abaabalera.
7
Awo ebbaluwa bwe yatuuka gye baali, ne batwala abantu abo ensavu (70) ab'omu nnyumba ya kabaka ne babatta, ne babatemako emitwe ne bagiteeka mu bisero ne bagiweereza e Yezuleeri.
8
Omubaka n'ajja n'abuulira Yekku nti Baleese emitwe gya batabani ba kabaka. Yeeku n'alagira nti Mugituume entuumo bbiri awayingirirwa mu wankaaki okutuusa enkya.
9
Awo olwatuuka enkeera Yeeku n'afuluma n'ayimirira ku wankaaki we kibuga, n'agamba abantu bonna nti Mmwe temuliiko musango: nze nnakola olukwe nnenzitta mukama wange Yolaamu: naye ani yasse bano bonna?
10
Mutegeere nno nga buli kimu Mukama kye yayogera ku b'ennyumba ya Akabu, tekirirema kutuukirira. Mukama akoze ekyo kye yayogera ng'ayita mu muddu we Eriya.
11
Bw'atyo Yeeku n'atta n'abo abaasigala ku nnyumba ya Akabu mu Yezuleeri: abakungu be bonna, mikwano gye ennyo ne bakabona be okutuusa lwe yabamalirawo ddala bonna.
12
Awo Yeeku n'ava e Yezuleeri n'agenda e Samaliya. Bwe yali ng'ali mu kkubo ku nnyumba ey'abasumba esaalirwamu ebyoya by'endiga,
13
n'asanga baganda ba Akaziya kabaka wa Yuda, n'ababuuza nti Mmwe muli b'ani? Ne bamuddamu nti Tuli baganda ba Akaziya: era tuserengeta okulamusa abaana ba kabaka n'abaana ba nnamasole Yezeberi.
14
Yeeku n'alagira nti Mubakwate nga balamu. Ne babakwata nga balamu, ne babattira ku bunnya obw'ennyumba ey'okusaliramu ebyoya by'endiga, abasajja ana mu babiri (42 ), teyalekawo n'omu ku bo.
15
Yeeku bwe yava awo, n'asanga Yekonadabu mutabani wa Lekabu ng'ajja okumusisinkana. Yeeku n'amulamusa n'amugamba nti Ggwe nange tuli ba ndowooza emu? Yekonadabu n'addamu nti Ddala bwe kiri. Yeeku n'agamba nti Oba bwe kiri, kale nkwata mu mukono. Yekonadabu n'amusika mu mukono. Yeeku n'amulinnyisa mu ggaali lye.
16
N'ayogera nti Jjangu tugende ffembi olabe bwemaliridde okutuukiriza ekigambo kya Mukama. Awo ne bagenda bonna mu ggaali lye.
17
Awo Yeeku bwe yatuuka e Samaliya n'atta bonna ab'omu nnyumba ya Akabu abali basigaddewo nga ekigambo kya Mukama bwe kyali kyeyayogerera mu muddu we Eriya.
18
Awo Yeeku n'akuŋŋaanya abantu bonna n'abagamba nti Akabu yasinzanga Baali katono; naye nze nja kumusinza nnyo.
19
Kale nno mumpitire bannabbi bonna aba Baali, abamusinza bonna ne bakabona be bonna; waleme okubulawo n'omu: kubanga nnina ssaddaaka enkulu gye ŋŋenda okuwaayo eri Baali; buli anaabulawo wakuttibwa. Naye Yeeku yakola bw'atyo ng'asala lukwe alyoke azikirize abaasinza Baali.
20
Awo Yeeku n'alagira nti Mulangirire olunaku olw'okusinzizako Baali. Ne balulangirira.
21
Awo Yeeku n'atumya mu Isiraeri yonna, abasinza Baali: ne bajja ne bayingira mu ssabo lya Baali lyonna ne lijjula.
22
Awo Yeeku n'alagira omukulu w'etterekero ly'ebyambalo nti Bonna abasinza Baali baggyireyo ebyambalo. N'abiggyayo.
23
Yeeku ne Yekonadabu mutabani wa Lekabu ne bayingira mu ssabo lya Baali, Yeeku n'agamba abasinza Baali nti Mwetegereze mulabe nga tewali n'omu mu mmwe wano asinza Mukama, wabula abasinza Baali bokka.
24
Awo Yeeku ne Yekonadabu ne bayingira mu ssabo okuwaayo ssaddaaka n'ebiweebwayo ebyokebwa eri Baali. Era Yeeku yali ataddewo abasajja kinaana (80) ebweru we ssabo nga abalagidde okutta buli mugoberezi wa Baali yenna, nga buli analeka n'omu kubo okutoloka ye yennyini yali wakuttibwa.
25
Bwe bamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Yeeku n'agamba abakuumi n'abakungu nti Muyingire, mubatte, waleme kubaawo n'omu atoloka. Ne basowola ebitala ne babatta, emirambo ne bagisuula ebweru. Olwo abakuumi n'abakungu ne bayingira munda ddala mu ssabo lya Baali.
26
Awo ne baggya ebifaananyi bya Baali ebyalimu ne ba byokya.
27
Ne bamenyamenya ekifaananyi kya Baali ne ssabo lye ne baalifuula ekiyigo ne leero.
28
Bw'atyo Yeeku bwe yazikiriza Baali okumumalawo mu Isiraeri.
29
Wabula naye yakola ebibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, ebyaleetera Isiraeri ekibi eky'okusinza ennyana eza zaabu ezaali mu Beseri n'e mu Ddaani.
30
Mukama n'agamba Yeeku nti Nga bw'okoze obulungi bye nsiima, n'otuukirizza ku b'ennyumba ya Akabu byonna bye n'ayagala bakolebweko, ab'ezzadde lyo okutuusa ku bannakana balituula ku ntebe y'obwakabaka bwa Isiraeri.
31
Naye Yeeku n'atassaayo mwoyo okutambulira mu mateeka ga Mukama Katonda wa Isiraeri n'omutima gwe gwonna; teyava mu bibi bya Yerobowaamu bye yayonoonyesa Isiraeri.
32
Mu biro ebyo Mukama n'atandika okukendeeza Isiraeri: Kazayeeri kabaka w'Abasuuli n'awangula ebitundu bya Isiraeri byonna eby'okunsalo;
33
okuva ku Yoludaani ebuvanjuba, ensi yonna ey'e Gireyaadi, Abagaadi n'Abalewubeeni n'Abamanase, okuva ku Aloweri ekiriraanye ekiwonvu kya Alunoni, Gireyaadi ne Basani.
34
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yeeku ne byonna bye yakola, n'amaanyi ge gonna byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
35
Yeeku ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: ne bamuziika mu Samaliya. Yekoyakaazi mutabani we n'afuga mu kifo kye.
36
Era ebiro Yeeku bye yafugira Isiraeri mu Samaliya byali emyaka abiri mu munaana (28).
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25