bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 19
2 Kings 19
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 20 →
1
Awo olwatuuka kabaka Keezeekiya bwe yakiwulira n'ayuza ebyambalo bye ne yeesiiga evvu n'ayingira mu nnyumba ya Mukama.
2
N'atuma Eriyakimu eyali omukulu w'olubiri, ne Sebuna omuwandiisi n'abakadde ab'oku bakabona nga bambadde ebibukutu eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi.
3
Ne bamugamba Isaaya nti Bw'atyo bw'ayogera Keezeekiya nti Olunaku luno lwa buyinike era lwa kunenyezebwa nakuvumibwa: kubanga abaana batuuse okuzaalibwa, so tewali maanyi ga kuzaala.
4
Mpozzi Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo byonna ebya Labusake kabaka w'e Bwasuli mukama we gwe yatuma okuvuma Katonda omulamu, alyoke amukangavvule olw'ebigambo ebyo Mukama Katonda by'awulidde.
5
Awo abaddu ba kabaka Keezeekiya ne bajja eri Isaaya.
6
Awo Isaaya n'abagamba nti Bwe mutyo bwe muba mugamba mukama wammwe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Totya bigambo by'owulidde abaddu ba kabaka w'e Bwasuli kye banzivvoodde.
7
Laba, n'ateeka omwoyo mu ye, bw'anaawulira olugambo n'addayo mu nsi ye, nange ndimuzikiririza mu nsi ye n'ekitala.
8
Awo Labusake n'addayo n'asanga kabaka w'e Bwasuli ng'avudde e Lakisi nga alwanyisa ab'e Libuna, n'agenda gyali.
9
Kabaka w'e Bwasuli bwe yawulira nga boogera nti Tiraka, kabaka w'e Esiyoopya amulumbye okumulwanyisa n'atumira Keezeekiya ababaka nate nga amugamba nti,
10
Mugende mugambe Keezeekiya kabaka wa Yuda nti Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'agamba nti Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli.
11
Wawulira bakabaka b'e Bwasuli bye baakola ensi zonna nga bazizikiririza ddala, ggwe oliwona?
12
Bajjajjange baazikiriza ebibuga Gozani, ne Kalani ne Lezefu, ne batta Abeedeni abaali mu Terasali. Waliwo ku bakatonda baabwe eyasobola okubawonya?
13
Kabaka w'e Kamasi ali ludda wa ne kabaka w'e Alupadi ne kabaka w'ekibuga Sefavayimu, ow'e Keena n'ow'e Yiva?
14
Awo Keezeekiya n'atoola ebbaluwa mu mukono gw'ababaka n'agisoma: awo Keezeekiya n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'agyanjuliriza mu maaso ga Mukama.
15
Awo Keezeekiya n'asaba mu maaso ga Mukama n'ayogera nti Ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, atuula ku bakerubi, ggwe Katonda, ggwe wekka, ow'obwakabaka bwonna obw'ensi; ggwe wakola eggulu n'ensi.
16
Tega okutu kwo, ayi Mukama, owulire; zibula amaaso go, ayi Mukama, olabe: owulire ebigambo bya Sennakeribu by'atumye omuddu we okuvuma Katonda omulamu.
17
Mazima, Mukama, bakabaka b'e Bwasuli baazikiriza amawanga n'ensi zaabwe,
18
era baasuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga bakatonda naye baali mulimu gwa mikono gy'abantu, emiti n'amayinja; kyebaava basobola okubazikiriza.
19
Kale nno, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole, nkwegayiridde, mu mukono gwe, obwakabaka bwonna obw'ensi bumanye nga ggwe wekka, ggwe Mukama Katonda.
20
Awo Isaaya mutabani wa Amozi n'atumira Keezeekiya ng'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Kubanga onsabye olwa Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli, nkuwulidde.
21
Kino kye kigambo Mukama ky'ayogedde ku ye: nti Omuwala wa Sayuuni atamanyanga musajja akuŋŋoodde, akusekeredde; omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyerezza omutwe.
22
Ani gw'ovumye gw'ovvodde? Ani gw'ogulumirizzaako eddoboozi lyo n'oyimusa waggulu amaaso go? Ye Mutukuvu wa Isiraeri.
23
Otumye ababaka bo okunneewaanirako nga bwe wakozesa amagaali go, n'owangula entikko z'ensozi z'e Lebanooni. Weewaanye nti eyo watemayo emivule egisinga obuwanvu, n'emiberosi egisinga obulungi, era nti wasenserera ddala mu bitundu by'ebibira ebisingayo okuba ebikwafu.
24
Weewaanye nti Nsimye enzizi, nnywedde amazzi ag'abannamawanga, era ebigere by'abaserikale bange bikkalizza emigga gyonna egy'e Misiri.
25
Tewakiwulirako nti nze n'ategeka ebyo byonna edda? Era kaakano mbituukirizza. Nakuwa ebibuga ebiriko buggwe okubifuula amatongo.
26
Abaabirimu kyebaava baggwaamu amaanyi, ne batekemuka, ne bakeŋŋentererwa, ne baba ng'essubi ery'omu ttale, era ng'omuddo ogumeze waggulu ku nnyumba, era ng'eŋŋaano ekaze nga tennakula.
27
Naye mmanyi okutuula kwo n'okufuluma kwo n'okuyingira kwo ne bw'ondalukira.
28
Kubanga ondalukira era kubanga essukuti lyo lirinnye mu matu gange, kaakano nja kuteeka eddobo lyange mu nnyindo zo, n'olukoba lwange mu kamwa ko, nkuddizeeyo mu kkubo lye wayitamu ng'ojja.
29
Awo Isaaya n'agamba kabaka Keezeekiya nti Kano ke kanaaba akabonero akakulaga ebinaabaawo: mulirya mu mwaka guno ekyo ekimera kyokka, ne mu mwaka ogwokubiri ekyo ekikivaamu okuloka; ne mu mwaka ogwokusatu musige mukungule musimbe ensuku ez'emizabbibu mulye ku bibala byamu.
30
Awo ekitundu ekifisseewo ekiwonye ku nnyumba ya Yuda balisimba emizi wansi ne babala ebibala waggulu.
31
Kubanga mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifiseewo, ne ku lusozi Sayuuni abo abaliwona: Mukama amaliridde okutuukiriza ekyo.
32
Mukama kyava ayogera ku kabaka w'e Bwasuli nti Talituuka ku kibuga kino, so talikirasako kasaale, so talikyolekera n'engabo, so talikituumako ntuumo za ttaka okukyetooloola.
33
Mu kkubo mwe yajjira omwo mw'aliddirayo, so talituuka ku kibuga kino, bw'ayogera Mukama.
34
Kubanga ndirwanirira ekibuga kino okukirokola ku bwange nze ne ku bw'omuddu wange Dawudi.
35
Awo olwatuuka mu kiro ekyo, malayika wa Mukama n'agenda n'atta mu lusiisira lw'Abasuuli abasserikale emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano (185,000). Enkeera ku makya abo bonna nga bafu.
36
Awo Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'adduka n'addayo e Nineeve.
37
Lumu bwe yali mu ssabo ng'asinza katonda we Nisuloki, batabani be, Adulammereki ne Salezeri ne bamutta n'ekitala, ne baddukira mu nsi y'e Alalati. Esaladoni mutabani we n'afuga mu kifo kye.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25