bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 25
2 Kings 25
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
1
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omwenda kasookedde Zeddekiya alya obwakabaka, mu mwezi ogw'ekkumi, ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'atwala eggye lye lyonna, n'alumba Yerusaalemi okukirwanyisa, n'asiisira okukyolekera; ne bakizimbako ebigo enjuyi zonna.
2
Awo ekibuga ne kizingizibwa okutuusa ku mwaka ogwa kabaka Zeddekiya ogw'ekkumi n'ogumu (11).
3
Ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi ogwokuna enjala n'enyiikira nnyo mu kibuga, emmere n'okubula n'ebula abantu ab'omu nsi eyo.
4
Awo ne bakuba ekituli mu bbugwe we kibuga, abasajja bonna abalwanyi ne batoloka kiro, newakubadde nga Abakaludaaya bali bazingizizza ekibuga enjuyi zonna. Ne bakwata ekkubo eriyita mu nnimiro ya kabaka, ne bayita mu mulyango ogugatta ebisenge ebibiri, kabaka n'agenda nabo nga bayita mu kkubo lya Alaba.
5
Naye eggye ery'Abakaludaaya ne bawondera kabaka Zeddekiya ne bamutuukako mu nsenyi ez'e Yeriko: eggye lye lyonna nerimwabulira nerisaasaana.
6
Awo ne bawamba kabaka, ne bamutwala eri kabaka w'e Babbulooni e Libula; n'amusalira omusango okumusinga.
7
Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ng'alaba, ye ne bamusiba mu masamba, ne bamutwala e Babbulooni.
8
Awo mu mwezi ogw'okutaano ku lunaku olw'omusanvu olw'omwezi, gwe mwaka ogw'ekkumi n'omwenda (19) ogwa kabaka Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa omuddu wa kabaka w'e Babbulooni n'agenda e Yerusaalemi.
9
n'ayokya ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka; n'ennyumba zonna ennene ez'omu Yerusaalemi, n'azookya omuliro.
10
N'eggye lyonna ery'Abakaludaaya abaali n'omukulu w'abambowa ne bamenyamenya bbugwe wa Yerusaalemi enjuyi zonna.
11
Abantu abaali basigaddewo mu kibuga, n'abo abaali beewaddeyo ne badda ku ludda lwa kabaka wa Babbulooni awamu n'abalala bonna, Nebuzaladaani omukulu w'abakuumi ba kabaka n'abatwala e Babbulooni nga basibe.
12
Naye omukulu w'abambowa n'aleka abantu b'omu nsi abali abaavu ennyo, okulongoosanga emizabbibu n'okulimanga mu nnimiro.
13
Abakaludaaya ne bamenyamenya n'empagi ez'ebikomo ezaali mu Yeekaalu, n'ebikondo ebiriko nnamuziga, n'ogutanka ogunene, eby'ekikomo, ne balyoka batwala ekikomo kyabyo e Babbulooni.
14
N'entamu n'ebisena n'ebisalako ebisiriiza ku ttala n'ebijiiko n'ebintu byonna eby'ebikomo ebyakozesebwanga mu kuweereza mu Yeekaalu ne babitwala.
15
Na buli kintu ekyakolebwa mu zaabu oba mu ffeeza, omuli n'ebyoterezo n'ebbakuli, Nebuzaladaani n'akitwala.
16
Empagi zombi, n'ettanka ennene, n'entebe Sulemaani ze yakolera ennyumba ya Mukama; obuzito bwe kikomo ky'ebintu bino byonna nga tebupimika.
17
Empagi emu obugulumivu bwayo emikono kkumi na munaana (18), nga eriko omutwe ogw'ekikomo obugulumivu bwagwo emikono esatu, nga eriko ebifaananyi by'emikufu n'eby'amakomamawanga ku mutwe okwetooloola, nga byonna bya kikomo. N'empagi eyokubiri nayo ekoleddwa mu ngeri y'emu.
18
Omukulu w'abambowa n'akwata Seraya kabona asinga obukulu ne Zeffaniya kabona ow'okubiri n'abaggazi abasatu:
19
Ne mu kibuga, n'aggyamu omukungu eyali akulira ab'amaggye, n'abasajja bataano ku abo abaatukiriranga kabaka okuwa amagezi abaali bakyali mu kibuga, n'omuwandiisi omukulu, eyawandiikanga abasserikale mu ggye mu ggwanga, n'abasajja nkaaga (60) ku bantu abatutumufu mu ggwanga, abaali bakyali mu kibuga.
20
Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'abakwata n'abatwalira kabaka w'e Babbulooni e Libula.
21
Kabaka w'e Babbulooni n'abafumita n'abattira e Libula mu nsi y'e Kamasi. Bwe batyo abantu ba Yuda bwe bagyibwa mu nsi yabwe nebawaŋŋangusibwa.
22
Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'ateekawo Gedaliya, mutabani wa Akikamu, era muzzukulu wa Safani, okuba omufuzi w'abantu abaasigala mu Yuda.
23
Awo abakulu bonna mu ggye lya Yuda ne basajja baabwe abali basaasanidde mu nsi nga tebewaddeyo eri kabaka w'e Babbulooni, bwe baawulira nga kabaka we Babbulooni ataddewo Gedaliya okufuga Yuda, ne bagenda e Mizupa gye yali. Abagenda be bano: Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne Yokanani mutabani wa Kaleya ne Seraya mutabani wa Tanukumesi Omunetofa ne Yaazaniya omwana w'Omumaakasi, bo n'abasajja baabwe.
24
Gedaliya n'abalayirira, bo ne basajja baabwe, n'abagamba nti Temutya bakungu Abakaludaaya. Musigale mu nsi eno, muweereze kabaka w'e Babbulooni, mujja kuba bulungi.
25
Naye olwatuuka mu mwezi ogw'omusanvu Isimaeri mutabani wa Nesaniya mutabani wa Erisaama ow'ezzadde lya kabaka n'ajja n'abasajja kkumi (10) wamu naye ne bafumita Gedaliya ne bamutta awamu n'Abayudaaya n'Abakaludaaya abaali awamu naye e Mizupa.
26
Awo abantu bonna abato n'abakulu n'abaami b'eggye ne basituka ne baddukira e Misiri: kubanga baatya Abakaludaaya.
27
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'asatu mu musanvu (37) ogw'okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'omwezi olw'abiri mu musanvu Evirumerodaki mwe yafukira kabaka w'e Babbulooni; n'akwatirwa Yekoyakini kabaka wa Yuda ekisa, n'amuggya mu kkomera.
28
N'ayogera naye eby'ekisa, n'amusukulumya ku bakabaka abalala bonna abaali mu buwaŋŋanguse e Babbulooni.
29
Yekoyakini n'aggyibwa mu byambalo by'ekkomera, era okuva olwo n'aliiranga ku mmeeza ya kabaka obulamu bwe bwonna.
30
Kabaka n'alagira bamuwenga omugabo ogwa buli lunaku, ebbanga lyonna lye yamala nga mulamu.
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25