bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 21
2 Kings 21
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 22 →
1
Manase yali awezezza emyaka kkumi n'ebiri (12) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka ataano mu etaano (55) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye nga ye Kefuziba.
2
Manase n'akola ebibi mu maaso ga Mukama, eby'emizizo, ab'amawanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri bye bakolanga.
3
N'azimba nate ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yazikiriza; n'azimbira Baali ebyoto n'akola n'ekifaananyi kya Asera nga Akabu kabaka wa Isiraeri bwe yakola n'asinza era n'awereza ne emmunyeenye zonna ez'omu ggulu.
4
N'azimba ebyoto mu nnyumba ya Mukama, Mukama gye yagambako nti Mu Yerusaalemi mwe nditeeka erinnya lyange.
5
Era n'azimbira emmunyeenye zonna ez'omu ggulu ebyoto mu mpya ebbiri ez'ennyumba ya Mukama.
6
N'ayokya mutabani we mu muliro nga ssaddaaka, n'akola eby'obufumu n'aba n'eby'obulogo, n'agendanga eri abo abaliko emizimu n'abalogo: n'akola obubi bungi mu maaso ga Mukama okumusunguwaza.
7
N'akola ekifaananyi kya Asera n'akiteeka mu nnyumba ya Mukama; Mukama gye yayogerako eri Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti Mu nnyumba eno ne mu Yerusaalemi kye nneeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri mwe nditeeka erinnya lyange emirembe gyonna.
8
Abaana ba Isiraeri bwe baneekuumanga okukola nga byonna bye mbalagidde, era nga amateeka gonna bwe gali omuddu wange Musa geyabalagira; siribaggya nate mu nsi gye nnawa bajjajjaabwe okugituulamu.
9
Naye ne batawulira: Manase n'abasendasenda okukola ebibi okusinga amawanga bwe gaakolanga Mukama ge yazikiriza mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
10
Awo Mukama n'ayogerera mu baddu be bannabbi nti
11
Kubanga Manase kabaka wa Yuda akoze eby'emizizo bino era akoze obubi okusinga byonna Abamoli bye baakola abaamusooka, era aleetedde ne Yuda okwonoona nga basinza ebifaananyi bye yateekawo.
12
Mukama Katonda wa Isiraeri kyava ayogera nti Laba, ndeeta ku Yerusaalemi ne Yuda obubi obwenkana awo, buli abuwuliranga n'okwanaamirira amatu ge gombi gaanayanamiriranga.
13
Ndibonereza Yerusaalemi nga bwe n'abonereza Samaliya, era nga bwe n'abonereza Akabu kabaka wa Isiraeri n'ab'ezzadde lye. Ndisaanyaawo abantu mu Yerusaalemi, ng'omuntu bw'asiimuula essowaani: bw'amala okugisiimuula, n'agivuunika.
14
Era ndyabulira ekitundu ekifisseewo eky'abantu bange ne mbawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe; ne bafuuka muyiggo era munyago eri abalabe baabwe bonna;
15
kubanga bakoze ebiri mu maaso gange ebibi ne bansunguwaza okuva ku lunaku bajjajjaabwe kwe baaviira mu Misiri ne leero.
16
N'ekitala, Manase yatta abantu bangi nnyo, n'ajjuza Yerusaalemi omusaayi gw'abatalina musango; n'ayongerako okuleetera ab'omu Yuda okukola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.
17
Ebikolwa ebirala byonna ebya Manase ne byonna bye yakola n'okwonoona kwe kwe yayonoona byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda
18
Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu lusuku olw'oku nnyumba ye ye, mu lusuku lwa Uzza: Amoni mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
19
Amoni yali awezzeza emyaka abiri mu ebiri (22) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi ow'e Yotuba.
20
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga Manase kitaawe bwe yakola.
21
N'atambulira mu kkubo lyonna kitaawe lye yatambuliramu n'aweereza ebifaananyi kitaawe bye yaweereza n'abisinza:
22
n'ava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabe n'atatambulira mu kkubo lya Mukama.
23
Abaddu ba Amoni ne bamukolera olukwe ne bamutemulira mu nnyumba ye.
24
Naye abantu ab'omu nsi ne batta abo bonna abakola olukwe olw'okutta Amoni kabaka; abantu ab'omu nsi ne bamusikiza Yosiya mutabani we.
25
Ebikolwa byonna ebya Amoni bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda.
26
N'aziikibwa mu ntaana ye mu lusuku lwa Uzza: Yosiya mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25