bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 14
2 Kings 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 15 →
1
Mu mwaka ogwokubiri ogwa Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isiraeri, Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n'atandika okufuga.
2
Yali awezza emyaka abiri mu etaano (25) we yatandikira okufuga; n'afugira emyaka abiri mu mwenda (29) mu Yerusaalemi: ne nnyina nga ye Yekoyadiini ow'e Yerusaalemi.
3
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi, naye n'atenkana Dawudi jjajjaawe: yakola ng'ebyo byonna Yowaasi kitaawe bye yakolanga.
4
Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyawo: abantu ne beeyongeranga okuwaayo ssaddaaka n'okwotereza obubaane mu bifo ebyo.
5
Awo olwatuuka Amaziya nga kyajje amale okwenyweza ku bwakabaka, n'alyoka atta abaddu be abatta Yowaasi kitaawe:
6
naye abaana b'abassi teyabatta: nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka ga Musa: nga Mukama bwe yalagira ng'ayogera nti Bakitaabwe tebattibwanga ku lw'abaana, so n'abaana tebattibwanga ku lwa bakitaabwe; naye buli muntu anaafanga olw'okwonoona kwe ye.
7
Amaziya n'attira mu Kiwonvu eky'Omunnyo abasserikale Abaedomu omutwalo gumu (10,000), n'awamba ekibuga Seera mu lutalo, n'akituuma erinnya Yokuseeri, lye kikyayitibwa ne leero.
8
Awo Amaziya n'atuma ababaka eri Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi muzzukulu wa Yeeku kabaka wa Isiraeri ng'ayogera nti Jjangu twambalagane.
9
Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'atumira Amaziya kabaka wa Yuda ng'ayogera nti Omwennyango ogwali ku Lebanooni gwatumira omuvule ogwali ku Lebanooni nga gwogera nti Muwala wo muwe mutabani wange amuwase: awo ensolo ey'omu nsiko eyali ku Lebanooni n'eyitawo n'erinnyirira omwennyango ogwo.
10
Kituufu owangudde Edomu, ekyo ne kikuleetera okwegulumiza. Kale beera ewuwo okyenyumiririzeemu. Lwaki weetakulira emitawaana egy'okukuzikiriza ggwe ne Yuda?
11
Naye Amaziya n'agaana okuwulira. Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'alumba Amaziya kabaka wa Yuda ne bambalaganira e Besusemesi ekya Yuda.
12
Isiraeri n'awangula Yuda na buli muserikale wa Yuda n'adduka n'addayo ewuwe.
13
Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'awambira e Besusemesi Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yekoyaasi muzzukulu wa Akaziya. Yekoyaasi n'agenda e Yerusaalemi n'amenyamenya bbugwe wakyo, okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda, bwe buwanvu bwe mikono bina (400).
14
N'anyaga ezaabu n'effeeza yonna n'ebintu byonna bye yasanga mu nnyumba ya Mukama ne mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, n'awamba n'abantu, n'addayo e Samaliya.
15
Ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyaasi bye yakola n'amaanyi ge era bwe yalwana ne Amaziya kabaka wa Yuda byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
16
Yekoyaasi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Samaliya awali bassekabaka ba Isiraeri; Yerobowaamu n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
17
Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n'awangaala emyaka kkumi n'etaano (15) Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isiraeri ng'amaze okufa.
18
Ebikolwa ebirala byonna ebya Amaziya byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda.
19
Ne wabaawo abaakola olukwe mu Yerusaalemi okutta Amaziya, Amaziya n'addukira mu kibuga ky'e Lakisi. Naye ne baweereza abantu okumulondoola e Lakisi, ne bamuttirayo
20
Omulambo gwe ne bagukomezaawo ku mbalaasi: Ne baguziika wamu ne bajjajjaabe mu Yerusaleemi mu kibuga kya Dawudi.
21
Awo abantu bonna aba Yuda ne batwala Azaliya eyali awezzezza emyaka kkumi na mukaaga (16), ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe Amaziya.
22
Azaliya n'azza ekibuga Erasi eri Yuda, n'akizimba buggya, nga kitaawe amaze okufa.
23
Mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano (15) ogwa Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda Yerobowaamu mutabani wa Yekoyaasi ssekabaka wa Isiraeri n'atandika okufuga mu Samaliya, n'afugira emyaka ana mu gumu (41).
24
N'akola ebibi mu maaso ga Mukama: nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yakola ebyaleetera Isiraeri okwonoona.
25
Yazzaayo ensalo ya Isiraeri okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku nnyanja eya Alaba, ng'ekigambo kya Mukama Katonda wa Isiraeri bwe kyali kye yayogerera mu muddu we Yona mutabani wa Amitayi nnabbi ow'e Gasukeferi.
26
Mukama n'alaba okubonyaabonyezebwa kwa Isiraeri, nga kunene nnyo: nga tewali n'omu wakubayamba wadde omuddu oba ow'eddembe.
27
Kyokka Mukama yali tayagala kusaanyaawo Baisiraeri ku nsi. Kale n'abawonya ng'ayita mu Yerobowaamu mutabani wa Yekoyakaasi.
28
Ebikolwa ebirala byonna ebya Yerobowaamu ne byonna bye yakola n'obuzira bwe yalwana nakomezaawo Isiraeri ebibuga Ddamasiko ne Kamasi ebyali ebya Yuda, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
29
Yerobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, ba bassekabaka ba Isiraeri; Zekkaliya mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25