bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 23
2 Kings 23
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 24 →
1
Awo kabaka Yosiya n'atumya, abakadde bonna aba Yuda ne Yerusaalemi bakuŋŋaanire waali.
2
Kabaka n'agenda mu nnyumba ya Mukama, n'abasajja bonna aba Yuda n'abe Yerusaalemi, bakabona, bannabbi n'abantu bonna, abato n'abakulu nga bali naye: n'abasomera ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano ekyazuulibwa mu nnyumba ya Mukama.
3
Kabaka n'ayimirira awali empagi n'alagaanira endagaano mu maaso ga Mukama okutambula okugoberera Mukama n'okukwata amateeka ge n'ebyo bye yategeeza n'ebiragiro bye n'omutima gwe gwonna n'emmeeme ye yonna okunyweza ebigambo by'endagaano eno ebyawandiikibwa mu kitabo kino: abantu bonna ne bayimirira nabo okukakasa endagaano.
4
Awo kabaka n'alagira Kirukiya kabona asinga obukulu ne bakabona ab'omutindo ogwokubiri n'abaggazi, okufulumya mu Yeekaalu ya Mukama ebintu byonna ebyakolerwa Baali ne Asera ne mmunyeenye ez'omu ggulu: n'abyokera ebweru wa Yerusaalemi mu ttale eriri ku Kidulooni, n'evvu lyabyo n'alitwala e Beseri.
5
N'aggyawo bakabona abaasinzanga ebifaananyi bakabaka ba Yuda be baayawula okwoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu mu bibuga bya Yuda ne mu bifo ebyetooloode Yerusaalemi; n'abo abaayotererezanga obubaane Baali n'enjuba n'omwezi n'emmunyeenye.
6
N'aggya ekifaananyi kya Asera mu nnyumba ya Mukama n'akitwala ebweru wa Yerusaalemi n'akireeta ku kagga Kidulooni n'akyokera ku kagga Kidulooni n'akirinnyirira n'akifuula effufugge, n'amansa effufugge lyakyo ku malaalo g'abakopi.
7
N'amenyamenya ennyumba ez'abaalyanga ebisiyaga ezaali mu nnyumba ya Mukama, abakazi gye baalukiranga ebitimbibwa ku kifaananyi kya Asera.
8
N'aggyawo bakabona bonna mu bibuga bya Yuda byonna, n'asanyaawo ebifo ebigulumivu bakabona kwe baayoterezanga obubaane, okuva e Geba okutuuka e Beeruseba; n'amenyamenya ebifo ebigulumivu ebyali okumpi n'awayingirirwa ku mulyango gwa Yoswa omukulu w'ekibuga, ebyali ku mukono ogwa kkono ng'oyingira mu wankaaki w'ekibuga.
9
Kyokka bakabona abo abaakoleranga mu bifo ebigulumivu bye baasinzizangamu, ne batakkirizzibwa kuweereza mu nnyumba ya Mukama mu Yerusaalemi, naye baayinzanga okulya ku migaati egitazimbulukusiddwa egiweereddwa bakabona bannaabwe.
10
Era n'asanyawo Tofesi ekiri mu kiwonvu eky'abaana ba Kinomu, omuntu yenna aleme okwokera mutabani we oba muwalawe mu muliro okuba ssaddaaka eri katonda Moleki.
11
N'aggyawo embalaasi bakabaka ba Yuda ze baali bawongedde enjuba, ezaali okumpi n'awayingirirwa mu nnyumba ya Mukama, awali enju ya Nasanumereki omulaawe, eyali eriraanye Yeekaalu; n'ayokya omuliro amagaali agawongebwa eri enjuba.
12
N'amenyamenya ebyoto ebyali waggulu ku nju eya waggulu eya Akazi, ne bakabaka ba Yuda bye baali bakoze, n'ebyoto Manase bye yali akoze, mu mpya zombi ez'ennyumba ya Mukama, n'abisuula wansi, naddira ebitundutundu byabyo, n'abisuula mu kagga Kidulooni.
13
N'ebifo ebigulumivu ebyayolekera Yerusaalemi ebyali ku mukono ogwa ddyo ogw'olusozi olw'obwonoonefu, Sulemaani kabaka wa Isiraeri bye yazimbira Asutaloosi katonda w'Abasidoni ne Kemosi katonda wa Mowaabu ne Mirukomu katonda w'abaana ba Amoni abali ab'omuzizo mu Yuda, kabaka Yosiya n'abisanyawo.
14
N'amenyamenya empagi n'atema Baasera, ebifo byabwe n'abijjuzaamu amagumba g'abafu.
15
N'agenda e Beseri eyali ekyoto n'ekifo ekigulumivu, Yerobowaamu mutabani wa Nebati byeyakola naaleetera Isiraeri okwonoona; n'abimenyaamenya, n'ayokya ekifo ekigulumivu, n'akirinnyirira n'akifuula effufugge, n'ayokya n'ekifaananyi kya Asera katonda omukazi.
16
Awo kabaka Yosiya bwe yatunulatunula n'alaba amalaalo agali eyo ku lusozi; n'atuma n'alagira ne baggyamu amagumba, n'agookera ku kyoto n'akyonoona ng'ekigambo kya Mukama, omusajja wa Katonda kye yalangirira ku kifo ekyo bwe kyali.
17
Awo kabaka n'abuuza nti Ekijjukizo ekyo kye ndaba kyani? Abasajja ab'omu kibuga ne bamuddamu nti Ge malaalo g'omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n'alangirira ebigambo ebyo by'okoze ku kyoto eky'omu Beseri.
18
N'ayogera nti Mumuleke; omuntu yenna aleme okusimula amagumba ge. Awo ne baleka amagumba ge wamu n'amagumba ga nnabbi eyava mu Samaliya.
19
Era n'amasabo gonna ag'ebifo ebigulumivu agaali mu bibuga eby'e Samaliya, bassekabaka ba Isiraeri ge baakola, okusunguwaza Mukama, Yosiya n'agaggyawo n'agakola ng'ebikolwa byonna bwe byali bye yakola mu Beseri.
20
N'attira bakabona bonna ab'ebifo ebigulumivu abali eyo ku byoto, n'abyokerako amagumba g'abantu; n'addayo e Yerusaalemi.
21
Awo kabaka Yosiya n'alagira abantu bonna nti Mukwate Okuyitako kwa Mukama Katonda wammwe nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kino eky'endagaano.
22
Okuviira ddala ku mirembe gy'Abalamuzi abaafuga Isiraeri, waali tewabangawo Mbaga ejjuukirirwako Kuyitako yenkana awo, newakubadde mu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri, wadde mu gya bassekabaka ba Yuda.
23
Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogwa kabaka Yosiya ne bakwata Okuyitako okwo eri Mukama mu Yerusaalemi.
24
Era nate Yosiya n'aggyawo mu Yerusaalemi ne mu Yuda abo abaaliko emizimu n'abasawo ne baterafi n'ebifaananyi n'emizizo gyonna, alyoke anyweze ebigambo eby'amateeka ebyawandiikibwa mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu nnyumba ya Mukama.
25
Era tewali mu bakabaka bonna abaamusooka wadde abaamuddirira eyafaanana Yosiya mu kukyukira Mukama n'omutima gwe gwonna, n'amaanyi ge gonna n'emmeeme ye yonna okutuukiriza amateeka ga Musa gonna nga bwe gali.
26
Era Mukama teyaleka kiruyi kye ekingi ekyamusunguwaliza Yuda olw'ebyo Manase bye yakola ebyamusunguwaza.
27
Mukama n'ayogera nti Ndiggyawo Yuda ne bwenaggyawo Isiraeri era ndisuula ekibuga kino Yerusaalemi kyenneroboza, n'ennyumba gye nnayogerako nti Erinnya lyange mwe linasinzirizibwanga.
28
Ebikolwa ebirala byonna ebya Yosiya ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda
29
Mu mirembe gye Yosiya, Falaawoneko kabaka w'e Misiri n'atwala eggye lye ku mugga Fulaati okuyamba kabaka w'e Bwasuli. Kabaka Yosiya n'agenda okumulwanyisa. Neeko bwe yalaba Yosiya n'amuttira e Megiddo.
30
Abaddu be ne bamusitulira mu ggaali ng'afudde ne bamuggya e Megiddo, ne bamutwala e Yerusaalemi ne bamuziika mu ntaana ye. Abantu ab'omu Yuda ne batwala Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya ne bamufukako amafuta ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe.
31
Yekoyakaazi bwe yali awezezza emyaka abiri mu esatu (23), bwe yatandika okufuga; n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
32
Yekoyakaazi n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali bajjajjaabe bye baakola.
33
Awo Falaawoneko n'amusibira mu masamba e Libula mu nsi y'e Kamasi aleme okufuga mu Yerusaalemi: n'asalira ensi omusolo ogw'effeeza talanta kikumi (100) n'ezaabu talanta emu.
34
Awo Falaawoneko n'afuula Eriyakimu mutabani wa kabaka Yosiya; okuba kabaka mu kifo kya kitaawe, n'akyusa erinnya lye n'amutuuma Yekoyakimu: Falaawoneko n'atwala Yekoyakaazi e Misiri n'afiira eyo.
35
Kabaka Yekoyakimu n'asolooza ffeeza n'ezaabu ku bantu b'omu nsi ye okusinziira ku nfuna yaabwe, alyoke aweze omuwendo gw'ensimbi ez'omusolo kabaka w'e Misiri gwe yamulagira okusasula.
36
Yekoyakimu yali awezezza emyaka abiri mu etaano (25) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka kkumi na gumu (11) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebida muwala wa Pedaya ow'e Luuma.
37
Yekoyakimu n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali bajjajjaabe bye baakola.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25