bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 15
2 Kings 15
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 16 →
1
Mu mwaka ogw'abiri mu omusanvu (27) ogwa Yerobowaamu Owokubiri kabaka wa Isiraeri Azaliya mutabani wa Amaziya kabaka wa Yuda n'atandika okufuga.
2
Yali awezezza emyaka kkumi na mukaaga (16) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka ataano mu ebiri (52) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yekoliya ow'e Yerusaalemi.
3
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe byali kitaawe Amaziya bye yakolanga.
4
Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyawo: abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka era nga bootereza obubaane ku bifo ebyo.
5
Awo Mukama n'alwaza kabaka ebigenge, n'agengewala okutuusa ku lunaku kwe yafiira, olw'ebigenge n'abeeranga mu nnyumba eyiye yekka. Mutabani we Yosamu n'abeera mu lubiri nga yalamula.
6
Ebikolwa ebirala byonna ebya Azaliya ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda.
7
Azaliya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; era ne bamuziika wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Yosamu mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
8
Mu mwaka ogw'asatu mu omunaana (38) ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Zekkaliya mutabani wa Yerobowaamu ow'okubiri n'afugira Isiraeri mu Samaliya emyezi mukaaga.
9
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga bajjajjaabe bwe baakolanga: teyava mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati ebyaleetera Isiraeri okwonoona.
10
Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n'amukolera olukwe, n'amufumitira mu maaso g'abantu n'amutta, n'afuga mu kifo kye.
11
Ebikolwa ebirala byonna ebya Zekkaliya byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
12
Ekigambo Mukama kye yagamba Yeeku nti Ab'ezzadde lyo balibeera bakabaka mu Isiraeri okutuuka ku mulembe ogwokuna, bwe kityo ne kituukirira.
13
Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n'atandika okufuga mu mwaka ogw'asatu mu omwenda (39) ogwa Uzziya kabaka wa Yuda; n'afugira ebbanga lya mwezi gumu mu Samaliya.
14
Awo Menakemu mutabani wa Gaadi n'ava e Tiruza n'ajja e Samaliya, n'afumita Sallumu mutabani wa Yabesi n'amutta, n'afuga mu kifo kye.
15
Ebikolwa ebirala byonna ebya Sallumu n'olukwe lwe yakola okutta Zekkaliya, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
16
Awo Menakemu n'azikiriza ekibuga Tifusa ne bonna abaakirimu, n'ebitundu ebikiriraanye okuviira ddala e Tiruza, kubanga tebaamuggulirawo. N'abakazi bonna abaali embuto abaakirimu n'ababaaga!
17
Mu mwaka ogw'asatu mu omwenda (39) ogwa Azaliya kabaka wa Yuda, Menakemu mutabani wa Gaadi n'atandika okufuga Isiraeri, n'afugira emyaka kkumi mu Samaliya.
18
N'akola ebibi mu maaso ga Mukama ennaku ze zonna: nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yakola n'aleetera Isiraeri okwonoona.
19
Puli kabaka w'e Bwasuli n'alumba ensi ya Isiraeri okugirwanyisa; Menakemu n'awa Puli talanta za ffeeza lukumi (1,000), amuyambe okumunywereza mu bwakabaka.
20
Menakemu n'asolooza effeeza mu Isiraeri okuva ku basajja bonna abagagga, ku buli musajja ffeeza sekeri ataano (50), n'aziwa Puli kabaka w'e Bwasuli.
21
Ebikolwa ebirala byonna ebya Menakemu ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
22
Menakemu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Pekakiya mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
23
Mu mwaka ogw'ataano (50) ogwa Azaliya kabaka wa Yuda, Pekakiya mutabani wa Menakemu n'atandika okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afuga emyaka ebiri.
24
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi: teyava mu bibi: nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yakola ebyaleetera Isiraeri okwonoona.
25
Awo Peka mutabani wa Lemaliya, omuduumizi w'eggye lye nnakola olukwe n'abasajja ataano (50) abaava e Gireyaadi, n'amufumitira e Samaliya mu kigo ekigumu eky'okwekwekamu eky'omunda mu lubiri n'amutta wamu ne Alugobu ne Aliye. Peka n'afuga mu kifo kye.
26
Ebikolwa ebirala byonna ebya Pekakiya ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
27
Mu mwaka ogw'ataano mu ebiri (52) ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Peka mutabani wa Lemaliya n'atandika okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka abiri (20).
28
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi: teyava mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yakola ebyaleetera Isiraeri okwonoona.
29
Ku mirembe gya Peka kabaka wa Isiraeri, Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli n'ajja n'awamba ebibuga Iyoni ne Aberubesumaaka, Yanowa, Kedesi ne Kazoli; n'ebitundu Gireyaadi, Ggaliraaya ne Nafutaali; n'atwala abantu nga basibe e Bwasuli.
30
Mu mwaka ogwa abiri (20) ogwa Yosamu mutabani wa Uzziya kabaka wa Yuda; Koseya mutabani wa Era nnakolera Peka mutabani wa Lemaliya olukwe, n'amufumita n'amutta, ye n'afuga mu kifo kye.
31
Ebikolwa ebirala byonna Peka byeyakola, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
32
Mu mwaka ogwokubiri ogwa Peka mutabani wa Lemaliya kabaka wa Isiraeri, Yosamu mutabani wa Uzziya kabaka wa Yuda n'atandika okufuga.
33
Yali awezzeza emyaka abiri mu etaano (25) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka kkumi na mukaaga (16) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yerusa muwala wa Zadoki.
34
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi: nga kitaawe Uzziya bwe yakola.
35
Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyawo: abantu ne beeyongera okuweerayo ssaddaaka n'okwotereza obubaane mu bifo ebyo. Yosamu n'azimba omulyango ogw'engulu ogw'omu nnyumba ya Mukama.
36
Ebikolwa ebirala byonna, Yosamu byeyakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda.
37
Mu biro ebyo Mukama mwe yatandikira okusindika Lezini kabaka w'e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya okulwana ne Yuda.
38
Awo Yosamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe: Akazi mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25