bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 13
2 Kings 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 14 →
1
Mu mwaka ogw'abiri mu esatu (23) ogwa Yowaasi mutabani wa Akaziya kabaka wa Yuda Yekoyakaazi mutabani wa Yeeku n'atandika okufuga Isiraeri mu Samaliya n'afugira emyaka kkumi na musanvu (17).
2
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'agoberera ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati ebyaleetera Isiraeri okwonoona; n'atabivaamu.
3
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Isiraeri, n'abagabula mu mukono gwa Kazayeeri kabaka w'e Busuuli ne mu mukono gwa Benikadadi mutabani wa Kazayeeri ennaku zonna.
4
Awo Yekoyakaazi n'eyegayirira Mukama, Mukama n'amuwulira: kubanga yalaba okujoogebwa kwa Isiraeri kabaka w'e Busuuli bwe yabajooga.
5
Mukama n'awa Abaisiraeri omununuzi, ne baggyibwa mu bufuzi bw'Abasuuli. Abaisiraeri ne babeera mu ddembe nga bwe baabanga edda.
6
Naye ne batava mu bibi by'ennyumba ya Yerobowaamu ebyaleetera Isiraeri okwonoona, naye ne batambulira omwo: ne Asera n'asigala mu Samaliya nga asinzibwa.
7
Yekoyakaazi n'atasigazaawo ggye okuggyako abasajja ataano (50) abeebagala embalaasi, amagaali kkumi (10), n'abasserikale omutwalo gumu (10,000) abatambula ku bigere, kubanga kabaka w'e Busuuli yali azikiriza abalala bonna, n'abalinnyirira ng'enfuufu ey'omu gguuliro.
8
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakaazi ne byonna bye yakola n'amaanyi ge byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
9
Yekoyakaazi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; ne bamuziika mu Samaliya: Yekoyaasi mutabani we n'afuga mu kifo kye.
10
Mu mwaka ogw'asatu mu musanvu (37) ogwa Yowaasi kabaka wa Yuda Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n'atandika okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga (16).
11
Yekoyaasi n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi; teyava mu bibi byonna ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yakola naleteera Isiraeri okwonoona: naye n'atambulira omwo.
12
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyaasi ne byonna bye yakola n'amaanyi ge ge yalwanyisa ne Amaziya kabaka wa Yuda byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
13
Yekoyaasi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu Samaliya wamu ne bassekabaka ba Isiraeri; Yerobowaamu mutabani we n'atuula ku ntebe ye.
14
Awo Erisa n'alwala obulwadde obwamuviirako okufa. Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'agenda gy'ali okumulaba. N'amugamba nga bw'akaaba n'amaziga nti Kitange, kitange, ggwe ow'amaanyi ng'amagaali n'embalaasi ebitaasa Isiraeri!
15
Erisa n'agamba Yekoyaasi nti Kwata omutego n'obusaale: Yekoyaasi n'akwata omutego n'obusaale.
16
Erisa n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Teeka omukono gwo ku mutego: n'aguteekako. Erisa n'ateeka emikono gye ku mikono gya kabaka.
17
Erisa n'agamba kabaka nti Ggulawo eddirisa ery'ebuvanjuba: n'aliggulawo. Erisa n'agamba nti Ako ke kasaale akanawangula Obusuuli: Olirwanyisa Abasuuli mu Afeki okutuusa lw'olibamalawo.
18
Erisa n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Kwata obusaale: kabaka wa Isiraeri n'abukwata. Erisa n'amugamba nti Kuba ku ttaka. Kabaka n'akuba ku ttaka emirundi esatu, n'alekera awo.
19
Omusajja wa Katonda n'amusunguwalira n'ayogera nti Wandikubye emirundi etaano oba mukaaga; kale wandikubye Obusuuli okutuusa lwe wandibuzikirizza: naye kaakano olikuba Obusuuli emirundi esatu gyokka.
20
Awo Erisa n'afa ne bamuziika. Era ebibiina by'Abamowaabu ne bazindanga ensi omwaka nga gutandika.
21
Lwali lumu abamu ku Baisiraeri bwe baali nga baliko omusajja gwe baziika, ne balaba ekimu ku bibinja ebyo nga kijja. Ne basuula omulambo mu ntaana ya Erisa. Omulambo gw'omusajja olwakoona ku magumba ga Erisa, omusajja n'alamuka n'ayimirira ku magulu ge.
22
Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'ajoogera Isiraeri emirembe gyonna egya Yekoyakaazi.
23
Naye Mukama n'abakwatirwa ekisa n'abasaasira n'assaayo omwoyo eri bo, olw'endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo, n'atayagala kubazikiriza, wadde okubagoba mu maaso ge mu biro ebyo.
24
Awo Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'afa; Benikadadi mutabani we n'afuga mu kifo kye.
25
Awo Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n'aggya nate mu mukono gwa Benikadadi mutabani wa Kazayeeri ebibuga bye yali aggye mu mukono gwa Yekoyakaazi kitaawe ng'alwana. Yekoyaasi n'amukuba emirundi esatu, n'akomyawo ebibuga bya Isiraeri.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25