bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 7
2 Kings 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 8 →
1
Awo Erisa n'ayogera nti Muwulire ekigambo kya Mukama: bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Enkya mu budde nga buno ku wankaaki wa Samaliya, ekigero ky'obutta obulungi kinagula sekeri, n'ebigero bya sayiri bibiri nabyo binatundiibwa sekeri.
2
Awo omwami wa kabaka ow'okulusegere n'addamu omusajja wa Katonda n'ayogera nti Laba, Mukama bw'anaakola ebituli mu ggulu, ekigambo ekyo tekiyinza kubaawo. Erisa n'addamu nti Ojja kukirabira ddala n'amaaso go, naye ebyo tojja kubiryako.
3
Wabweru ku wankaaki awayingirirwa waaliwo abasajja bana abagenge ne bagambagana nti Kiki ekitutuuza wano okutuusa lwe tulifa?
4
Bwe tugamba nti Tuyingire mu kibuga, ekibuga kirimu enjala, ejja kututtirayo. Bwe tusigala wano, era tujja kufa. N'olwekyo mujje tugende mu lusiisira lw'Abasuuli. Bwe banaatuleka nga tuli balamu, olwo tunaaba balamu. Bwe banaatutta, kale tunaafa.
5
Awo ne bagolokoka ekiro okugenda mu lusiisira olw'Abasuuli: awo bwe baatuuka ku lusiisira olw'Abasuuli, ne batasangayo muntu yenna.
6
Kubanga Mukama yali awulizza eggye ly'Abasuuli eddoboozi ly'amagaali n'eddoboozi ly'embalaasi, eddoboozi ly'eggye eddene: ne bagambagana nti, Kabaka wa Isiraeri apangisizza amaggye ga bakabaka b'Abakiiti n'Abamisiri okututabaala.
7
Awo ne bagolokoka ne badduka kiro, ne baleka eweema zaabwe n'embalaasi zaabwe, n'endogoyi zaabwe, olusiisira nga bwe lwali, ne badduka olw'obulamu bwabwe.
8
Awo abagenge abo bwe baatuuka ku lusiisira, ne bayingira mu weema emu ne balya ne banywa, ne baggyamu effeeza n'ezaabu n'ebyambalo, ne bagenda ne babikweka; ne bakomawo ne bayingira mu weema endala ne baggya n'omwo ne bagenda ne bakweka.
9
Awo ne bagambagana nti Tetukola bulungi: leero lunaku lwa bigambo birungi naffe tusirika: bwe tunaalindirira obudde ne bukya, tunajjirwa okubonerezebwa: kale nno mujje tugende tubuulire ab'omu nnyumba ya kabaka.
10
Awo ne bagenda ne bakoowoola omuggazi w'ekibuga: ne bamugamba nti Twagenze mu lusiisira lw'Abasuuli, netutasangayo muntu yenna wadde okuwulirayo eddoboozi ly'omuntu yenna, naye embalaasi n'endogoyi nga zisibiddwa n'eweema nga zirekeddwa awo ttayo.
11
Awo n'ayita abaggazi; ne babuulira ab'omu nnyumba ya kabaka munda.
12
Awo kabaka n'agolokoka kiro n'agamba abaddu be nti Kaakano n'abategeeza olukwe Abasuuli lwe bakoze. Bamanyi ng'enjala etuluma; kyebavudde bava mu lusiisira okwekweka mu nsiko nga boogera nti Bwe banaava mu kibuga tunaabawamba nga balamu, ne tuyingira mu kibuga.
13
Omu ku baddu ba kabaka n'agamba nti Abantu abasigadde mu kibuga kyenkana balinga abafu, n'olwekyo tutume abasajja n'embalaasi ettaano ezisigaddewo bazuule ekiriwo.
14
Awo ne batwala amagaali abiri n'embalaasi; kabaka n'abatuma okuketta eggye ly'Abasuuli, ne bagamba nti Mugende mulabe.
15
Ne babagoberera okutuuka ku Yoludaani: ne basanga nga ekkubo lyonna nga lijjudde ebyambalo n'ebintu Abasuuli bye basudde nga badduka. Ababaka ne bakomawo ne babuulira kabaka.
16
Awo abantu ne bafuluma ne banyaga olusiisira olw'Abasuuli. Awo ekigero ky'obutta obulungi ne babutunda sekeri, n'ebigero ebya sayiri bibiri sekeri, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.
17
Awo kabaka n'assaawo omwami we ow'okulusegere okulabirira wankaaki, abantu ne bamulinnyiririra mu mulyango n'afa ng'omusajja wa Katonda bwe yayogera, kabaka ng'agenze gy'ali.
18
Awo ne kituukirira ng'omusajja wa Katonda bwe yagamba kabaka nti Ebigero ebya sayiri bibiri bya sekeri, n'ekigero ky'obutta obulungi kya sekeri, bwe kiriba bwe kityo mu mulyango gwe Samaliya enkya obudde nga buno;
19
omwami oyo n'addamu omusajja wa Katonda n'ayogera nti Mukama ne bw'anaakola ebituli mu ggulu, ekigambo ekikulu ekyenkanidde awo tekiyinza kubaawo. Naye omusajja wa katonda n'amuddamu nti olikiraba n'amaaso go, naye tolibiryako:
20
Ekigambo ekyo ne kituukirira bwe kityo; kubanga abantu baamulinnyiririra mu mulyango n'afa.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25