bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 11
2 Kings 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 12 →
1
Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba omwana we ng'afudde, n'asituka n'azikiriza ezzadde lyonna erya kabaka.
2
Naye Yekoseba muwala wa kabaka Yolaamu mwannyina Akaziya n'atwala Yowaasi mutabani wa Akaziya n'omulezi we n'amuggya mu baana ba kabaka abattibwa, n'amubba n'amukweka mu kisenge ekisuulwamu mu Yeekaalu; Asaliya aleme okumutta.
3
Awo n'abeera naye ng'akwekeddwa mu nnyumba ya Mukama n'amala emyaka mukaaga: Asaliya nga yafuga ensi.
4
Awo mu mwaka ogw'omusanvu Yekoyaada n'atumya abaami b'ebikumi ab'oku Bakali n'abambowa, n'abaleeta gy'ali mu nnyumba ya Mukama; n'alagaana nabo endagaano n'abalayiza ekirayiro mu nnyumba ya Mukama, n'abalaga omwana wa kabaka,
5
n'abalagira nti Kino kye muba mukola: bwe munajja okukuuma mu mpalo zammwe ku Ssabbiiti, ekimu eky'okusatu ku mmwe banaakuma olubiri lwa kabaka,
6
n'ekimu eky'okusatu, banaaba ku mulyango Suuli: era n'ekimu eky'okusatu banaaba ku mulyango oguli emabega w'ekifo ky'abakuumi. Bwe mutyo bwe munaakuuma olubiri lwa kabaka, mube olukomera.
7
Ab'ebibinja ebibiri abamazeeko empalo zaabwe ku Ssabbiiti, banaakuuma Yeekaalu nga beetoolodde kabaka.
8
Era muneetooloola kabaka enjuyi zonna, buli muntu ng'akutte eby'okulwanyisa bye mu mukono gwe; n'oyo anaayingira mu nnyiriri attibwe: era mubenga ne kabaka bw'anaafulumanga era bw'anaayingiranga.
9
Abaami b'ebikumi ne bakola nga byonna bwe biri Yekoyaada kabona by'alagidde: ne batwala buli muntu abasajja be, ab'okuyingira ku Ssabbiiti wamu n'ab'okufuluma ku Ssabbiiti, ne bajja eri Yekoyaada kabona.
10
Awo kabona n'awa abaami b'ebikumi amafumu n'engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu nnyumba ya Mukama.
11
Awo abambowa ne bayimirira, buli muntu ng'akutte eby'okulwanyisa bye, okuva ku luuyi olwa Yeekaalu olwa ddyo okutuuka ku luuyi olwa Yeekaalu olwa kkono, okuliraana ekyoto ne Yeekaalu omwali kabaka enjuyi zonna.
12
Awo n'afulumya omwana wa kabaka n'amutikkira engule ey'obwakabaka n'amukwasa ekiwandiiko ekirimu amateeka; ne bamufukako amafuta ne bamufuula kabaka; ne bakuba mu ngalo ne boogera nti Kabaka, abe mulamu.
13
Awo Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw'abambowa n'olw'abantu n'ajja eri abantu mu nnyumba ya Mukama:
14
n'atunula, kale, laba, kabaka ng'ayimiridde awali empagi ng'engeri bwe yabanga, n'abaami n'amakondeere nga baliraanye kabaka; n'abantu bonna ab'ensi ne basanyuka ne bafuuwa amakkondeere. Awo Asaliya n'ayuza ebyambalo bye n'ayogerera waggulu nti Mundiddemu olukwe! Mundiddemu olukwe!
15
Yekoyaada kabona teyayagala Asaliya kuttirwa mu bitundu bya Yeekaalu, kyeyava alagira abaduumizi b'abaserikale ekikumi kikumi nti: Mumufulumye nga mumuyisa mu nnyiriri z'abaserikale. Buli anaamugoberera ng'agezaako okumutaasa, mumutte.
16
Awo ne bamukwata, ne bamuyisa mu mulyango embalaasi we ziyingirira mu lubiri lwa kabaka: ne bamuttira eyo.
17
Yekoyaada kabona n'akkirizisa kabaka n'abantu, okukola endagaano ne Mukama, ekakasa nti banaabanga bantu ba Mukama, era n'endagaano ekakasa nti wanaabangawo enkolagana ennungi wakati wa kabaka n'abantu.
18
Awo abantu bonna ab'omu nsi ne bagenda mu ssabo lya Baali, ne balimenyamenya; ebyoto bye n'ebifaananyi bye ne babimenyera ddala, ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso g'ebyoto. Awo Yekoyaada kabona n'assaawo abaami ab'oku nnyumba ya Mukama.
19
N'atwala abaami b'ebikumi n'Abakali n'abambowa n'abantu bonna ab'omu nsi omwo; ne baserengesa kabaka nga bamuggya mu nnyumba ya Mukama, ne bamufulumya, ne bamuyisa mu kkubo ery'omu mulyango gw'abambowa okumutwala mu lubiri lwa kabaka.
20
Awo abantu bonna ab'omu nsi ne basanyuka, ekibuga ne kitereera nga Asaliya amazze okuttibwa: Asaliya yattibwa n'ekitala okumpi n'olubiri lwa kabaka.
21
Yowaasi yali aweza emyaka musanvu bwe yatandika okufuga.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25