bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 24
2 Kings 24
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 25 →
1
Mu mirembe gye Yekoyakimu, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'agenda n'alumba Yuda, n'afuula Yekoyakimu omuddu we okumala emyaka esatu, oluvannyuma n'akyuka n'amujeemera.
2
Awo Mukama n'asindika ebibinja bya b'Abakaludaaya, neby'Abasuuli, n'eby'Abamowaabu, n'eby'Abamoni, okulumba Yekoyakimu, bizikizirize Yuda, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu baddu be bannabbi.
3
Mazima ekyo kyajjira Yuda lwa kiragiro kya Mukama, okubaggya mu maaso ge olw'okwonoona kwa kabaka Manase;
4
era n'olw'omusaayi ogutaliiko musango gwe yayiwa; kubanga yajjuza Yerusaalemi omusaayi ogutaliiko musango: Mukama n'atamusonyiwa.
5
Ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakimu ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda
6
Awo Yekoyakimu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: Yekoyakini mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
7
Kabaka wa Misiri teyaddamu kuva mu nsi ye kujja kulumba, kubanga kabaka w'e Babbulooni yali yeefuze ekitundu kyonna ekyabanga ekya kabaka w'e Misiri, okuva ku kagga k'e Misiri, okutuuka ku mugga Fulaati.
8
Yekoyakini yali awezzeza emyaka kkumi na munaana (18) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Nekusita muwala wa Erunasani ow'e Yerusaalemi.
9
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali bajjajjaabe bye baakolanga.
10
Mu biro ebyo eggye lya Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni ne ligenda ne lizingiza ekibuga Yerusaalemi.
11
Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, n'agenda ne Yerusaleemi, eggye nga likyakizingiza.
12
Yekoyakini kabaka wa Yuda, yali awezezza emyaka munaana kasookedde alya obwakabaka: n'afuluma n'agenda ne yeewaayo eri kabaka w'e Babbulooni, ye ne nnyina, n'abaddu be n'abakungu be n'abaami be, n'amukwata n'amusiba.
13
Kabaka Nebukadduneeza n'aggyamu eby'obugagga byonna eby'omu nnyumba ya Mukama, ne byali mu nnyumba ya kabaka, n'abitwala, era n'atematema ebintu byonna ebya zaabu Sulemaani kabaka wa Isiraeri bye yakola mu Yeekaalu ya Mukama nga Mukama bwe yayogera.
14
N'atwala abantu b'omu Yerusaalemi nga basibe: abakungu bonna, n'abasajja bonna ab'amaanyi abazira, abasibe omutwalo gumu (10,000) bonna awamu, omwali abaweesi, n'abakugu bonna mu mirimu egitali gimu. Tewali baasigalayo mu Yuda, okuggyako abo abaali abaavu ennyo.
15
N'atwala Yekoyakini e Babbulooni; ne nnyina kabaka ne baka kabaka n'abaami be n'abakulu ab'ensi n'abatwala e Babbulooni nga basibe ng'abaggya e Yerusaalemi.
16
Abasajja bonna ab'amaanyi abazira baali kasanvu (7,000). Abakugu mu kukola emirimu, omwali n'abaweesi, baali lukumi (1,000). Bonna abo baali bazira abasobola okulwana mu lutalo, n'abatwala e Babbulooni nga basibe.
17
Awo kabaka w'e Babbulooni n'afuula Mataniya, kitaawe omuto owa Yekoyakini, n'amufuula kabaka mu kifo kya Yekoyakini, n'akyusa erinnya lye, n'amutuuma Zeddekiya.
18
Zeddekiya yali awezezza emyaka abiri mu gumu (21) bwe yatandika okufuga, n'afugira emyaka kkumi na gumu (11) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
19
Kabaka Zeddekiya n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali Yekoyakimu bye yakola.
20
Olw'okubanga Mukama yasunguwalira nnyo ab'omu Yerusaalemi, n'ab'omu Yuda, kyeyava abagoba mu maaso ge: Zeddekiya n'ajeemera kabaka w'e Babbulooni.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25