bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 18
2 Kings 18
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 19 →
1
Awo olwatuuka mu mwaka ogwokusatu ogwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isiraeri, Keezeekiya mutabani wa Akazi kabaka wa Yuda n'atandika okufuga.
2
Yali awezzeza emyaka abiri mu etaano (25) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka abiri mu mwenda (29) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Abi muwala wa Zekkaliya.
3
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga Dawudi jjajjaawe bwe yakolanga.
4
Yaggyawo ebifo ebigulumivu n'amenya empagi n'atemera ddala Baasera: n'amenyamenya omusota ogw'ekikomo Musa gwe yakola; kubanga okutuusa mu kiseera ekyo abaana ba Isiraeri bali bakyagwoterereza obubaane; naye Keezeekiya n'aguyita Kikomo bukomo.
5
Ne yeesiga Mukama Katonda wa Isiraeri; ne watabaawo n'omu mu bakabaka bonna aba Yuda amufaanana mu abo abaamusooka wadde abaamuddirira.
6
Kubanga yeegatta ne Mukama, teyaleka kumugoberera naye n'akwata ebiragiro bye Mukama bye yalagira Musa.
7
Awo Mukama n'abanga naye; buli gye yagendanga yonna n'afunanga omukisa: n'ajeemera kabaka w'e Bwasuli n'atamuweereza.
8
N'akuba Abafirisuuti okubatuusa e Gaza n'ebitundu ebikyetoolodde; n'awamba ekigo eky'omukuumi n'ebibuga ebiriko bbugwe.
9
Awo olwatuuka mu mwaka ogwokuna ogwa kabaka Keezeekiya, gwe mwaka ogw'omusanvu ogwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isiraeri Salumaneseri kabaka w'e Bwasuli n'alumba Samaliya n'akizingiza.
10
Emyaka esatu bwe gyayitawo Samaliya nga kizingiziddwa, ne bakimenya ne bakiwangula: gwe mwaka ogw'omukaaga ogwa kabaka Keezeekiya kabaka wa Yuda ate nga gwe mwaka ogw'omwenda ogwa Koseya kabaka wa Isiraeri.
11
Awo kabaka w'e Bwasuli n'atwala aba Isiraeri nga basibe e Bwasuli abamu n'abateeka e Kala, abalala e Kaboli ku mugga ogw'e Gozani, n'abalala mu bibuga eby'Abameedi:
12
kubanga tebaagondera ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, naye ne basobya endagaano ye, byonna Musa omuddu wa Mukama bye yalagira, ne batakkiriza kubiwulira newakubadde okubikola.
13
Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'ena (14) ogwa kabaka Keezeekiya Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'atabaala ebibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda, n'abimenya n'abiwangula.
14
Awo Keezeekiya kabaka wa Yuda n'atumira kabaka w'e Bwasuli e Lakisi ng'ayogera nti Nnyonoonye; ndeka oddeyo: by'ononsalira nja kubikuwa. Awo kabaka w'e Bwasuli n'asalira Keezeekiya kabaka wa Yuda effeeza talanta bisatu (300) n'ezaabu talanta asatu (30).
15
Era Keezeekiya n'abambula effeeza yonna eyali mu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka.
16
Mu biro ebyo Keezeekiya n'abambula ezaabu eyali ku nzigi za Yeekaalu ya Mukama ne ku mpagi Keezeekiya kabaka wa Yuda gye yali abisseeko, n'agiwa kabaka w'e Bwasuli.
17
Awo kabaka w'e Bwasuli ng'ali e Lakisi n'atuma Talutani ne Labusalisi ne Labusake ng'ayima e Lakisi eri kabaka Keezeekiya, nga balina eggye eddene okulumba Keezeekiya kabaka wa Yuda eyali e Yerusaalemi. Awo bwe batuuka e Yerusaalemi ne bayimirira ku lusalosalo olukulukutiramu amazzi agava mu kidiba ekiri ku luguudo olw'ennimiro ey'omwozi w'engoye.
18
Awo bwe batumya kabaka, abakungu ba kabaka bano: Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali omukulu w'olubiri, ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omukuumi w'ebiwandiiko, ne bagenda okumusisinkana.
19
Awo Labusake n'abagamba nti Mugambe nno Keezeekiya nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka omukulu ow'e Bwasuli nti Weesiga ki?
20
Oyogera bigambo bugambo bya kamwa. Olina amagezi n'amaanyi ag'okulwana. Ani nno gwe weesiga n'okujeema n'onjeemera?
21
Laba Misiri gwe weesiga, lwe lumuli olw'atifu olufumita ekibatu ky'oyo alwesigamyeko ng'omuggo. Bw'atyo kabaka w'e Misiri bwali eri bonna abamwesiga.
22
Naye bwe munaŋŋamba nti Twesiga Mukama Katonda waffe: si ye wuuyo Keezeekiya gw'aggidewo ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'agamba Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto kino mu Yerusaalemi?
23
Kale kaakano ka mbasoomoze kulwa mukama wange kabaka w'e Bwasuli, nja kukuwa embalaasi enkumi bbiri (2,000) bw'onooba oyinza okuzifunirako abazeebagala.
24
Oyinza ggwe okwaŋŋanga omu kuffe asembayo obuto mu ggye lya mukama wange nga weesiga Misiri olw'amagaali n'abeebagala embalaasi.
25
Olowooza nga n'alumba ekifo kino okukizikiriza nga Mukama si ye annyamba? Mukama yennyini ye yaŋŋamba nti Lumba ensi eyo ogizikirize.
26
Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya ne Sebuna ne Yowa, ne bagamba omukungu Omwasuuli nti Tukwegayiridde, yogera naffe mu lulimi olusuuli kubanga tulutegeera, naye toyogera naffe mu Lwebbulaniya ng'abantu abali ku kisenge bawulira.
27
Omukungu Omwasuli n'addamu nti Mulowooza nga mukama wange yantuma kubuulira mukama wammwe nammwe mwekka ebigambo bino? Yantuma kubuulira n'abasajja abatuula ku ntikko y'ekigo, abanaatuuka n'okulya empitambi yaabwe n'okunywa omusulo gwabwe nga mmwe.
28
Awo omukungu oyo n'ayimirira, n'alangirira mu lulimu olw'Ebbulaniya n'eddoboozi ery'omwanguka nti Muwulire kabaka omukulu owa Bwasuli ky'abagamba.
29
Abalabula nti Keezeekiya aleme kubalimbalimba, kubanga tayinza kubawonya mmwe kubaggya mu mikono gyange:
30
so Keezeekiya tabeesizanga Mukama ng'ayogera nti Mukama talirema kutulokola, n'ekibuga kino tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli.
31
Temuwuliriza Keezeekiya, kubanga kabaka wa Bwasuli agamba nti Mutabagane nange, mufulume mweweeyo gye ndi. Olwo buli omu anaalya ku bibala by'emizabbibu gye, n'eby'emitiini gye, era munnanywa amazzi ag'omu nzizi zammwe;
32
okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey'eŋŋaano n'omwenge, ensi ey'emigaati n'ensuku ez'emizabbibu, ensi ey'amafuta aga Zeyituuni n'omubisi gw'enjuki, mube balamu muleme okufa: so temuwuliriza Keezeekiya bw'abasendasenda ng'abagamba nti Mukama alitulokola.
33
Waliwo katonda yenna ku bakatonda b'amawanga eyali alokodde ensi ye mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli?
34
Bali ludda wa bakatonda b'e Kamasi n'ab'e Alupadi? bali ludda wa bakatonda b'e Sefavayimu, ab'e Keena, n'ab'e Yiva? Baalokola Samaliya mu mukono gwange?
35
Baani ku bakatonda bonna ab'ensi abaalokola ensi yaabwe mu mukono gwange, olwo Mukama alyoke alokole Yerusaalemi mu mukono gwange?
36
Naye abantu ne basirika ne batamuddamu kigambo: kubanga ekiragiro kya kabaka kyali bwe kityo nti Temumuddamu.
37
Awo Eriyakimu eyali omukulu w'olubiri ne Sebuna omuwandiisi, ne Yowa mutabani wa Asafu eyakuumanga ebiwandiiko, ne baddayo eri Keezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe, ne bamubuulira ebigambo byonna Labusake bye yayogera.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25