bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 2
2 Kings 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 3 →
1
Awo ekiseera bwe kyatuuka Mukama okutwala Eriya mu ggulu, ng'agendera mu mbuyaga ey'akazimu, Eriya ne Erisa ne bava e Girugaali.
2
Awo Eriya n'agamba Erisa nti Beera wano, nkwegayiridde; kubanga Mukama antumye e Beseri. Erisa n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, naawe nga bwoli omulamu, sijja kukuleka. Awo ne bagenda bombi e Beseri.
3
Awo abaana ba bannabbi abaali e Beseri ne bajja eri Erisa, ne bamubuuza nti Omanyi nga olwaleero Mukama ajja kukujjako mukama wo amutwale? N'addamu nti Weewaawo, mmanyi; mmwe musirike.
4
Awo Eriya n'amugamba nti Erisa, beera wano, nkwegayiridde; kubanga Mukama antumye e Yeriko. N'addamu nti Nga Mukama bw'ali omulamu, naawe nga bwoli omulamu, sijja kukuleka. Awo ne bagenda bombi e Yeriko.
5
Awo abaana ba bannabbi abaali e Yeriko ne bajja eri Erisa ne bamubuuza nti Omanyi nga olwaleero Mukama ajja kukujjako mukama wo amutwale? N'addamu nti Weewaawo, mmanyi; mmwe musirike.
6
Awo Eriya n'amugamba nti Nkwegayiridde, beera wano; kubanga Mukama antumye e Yoludaani. N'amuddamu nti Nga Mukama bw'ali omulamu, naawe nga bwoli omulamu, sijja kukuleka. Awo bombi ne bagenda.
7
Awo abasajja ataano (50) ab'oku baana ba bannabbi ne bagenda nabo; naye ne basigala walako nga babatunuulidde: Erisa ne Eriya bo ne bayimirira ku mugga Yoludaani.
8
Awo Eriya n'addira omunagiro gwe n'aguzinga wamu n'akuba ku mazzi g'omugga Yoludaani ne geeyawulamu wabiri; bombi ne bayita wakati awakalu ne batuuka emitala w'omugga.
9
Awo olwatuuka bwe baamala okusomoka Eriya n'agamba Erisa nti Saba kyemba nkukolera nga sinnakuggibwako. Erisa n'ayogera nti Nkwegayiridde emigabo ebiri egy'omwoyo gwo gibeere ku nze.
10
Eriya n'agamba nti Ky'osabye kizibu. Naye bw'onondaba nga nkuggibwako, ng'okifunye. Naye bw'otondabe, olwo nga tokifunye.
11
Awo olwatuuka nga bakyatambula nga balojja, laba ne walabika eggaali ery'omuliro n'embalaasi ez'omuliro ne zibaawula bombi; Eriya n'atwalibwa mu ggulu embuyaga ezakazimu.
12
Erisa n'akiraba, n'agamba nti Kitange, kitange, gwe ow'amaanyi ng'amagaali n'embalaasi ebitaasa Isiraeri, ogenze! N'ataddamu kumulaba. N'atambula nate: n'akwata ebyambalo bye n'abiyuzaamu ebitundu bibiri.
13
Era n'alonda n'ekyambalo kya Eriya ky'asudde, n'addayo n'ayimirira ku lubalama lwa Yoludaani.
14
N'addira ekyambalo kya Eriya ky'asudde, n'akuba amazzi n'ayogera nti Ali luuyi wa Mukama Katonda wa Eriya? Awo ng'amaze okukuba amazzi, ne geyawulaamu wabiri: Erisa n'asomoka.
15
Awo abaana ba bannabbi abaali e Yeriko okumwolekera bwe baamulaba, ne boogera nti Omwoyo gwa Eriya guzze ku Erisa. Ne bajja okumusisinkana, ne bavuunama mu maaso ge.
16
Awo ne bamugamba nti Laba nno waliwo abasajja ataano (50) ab'amaanyi wamu n'abaddu bo; tukwegayiridde bagende banoonye mukama wo: mpozzi omwoyo gwa Mukama gumusitudde ne gumusuula ku lusozi oba mu kiwonvu. N'abaddamu nti Temugenda.
17
Awo bwe baamwetayirira, ensonyi ne zimukwata, n'agamba nti Kale mugende. Awo ne batuma abasajja ataano (50); ne banoonyeza ennaku ssatu naye ne batamulaba.
18
Awo ne bakomawo e Yeriko eri Erisa ng'akyabalinze; n'abagamba nti Saabagamba nti Temugenda.
19
Awo abasajja ab'omu kibuga ne bagamba Erisa nti Laba, tukwegayiridde, awali ekibuga kino walungi nga mukama wange bw'alaba: naye amazzi gaawo mabi, n'ettaka terikuza mmere.
20
Erisa n'abagamba nti Muteeke omunnyo mu akasumbi akaggya mukandetere. Ne bakola bwe batyo ne bakaleeta gy'ali.
21
N'afuluma n'ajja awali ensulo y'amazzi, n'asuula omwo omunnyo n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mponyezza amazzi gano; temukyavaamu nate lumbe newakubadde obutakuza mmere.
22
Awo amazzi ne gawona ne leero ng'ekigambo bwe kyali ekya Erisa kye yayogera.
23
Awo n'avaayo n'ayambuka n'agenda e Beseri: awo ng'ali mu kkubo ng'ayambuka abaana abato ne bava mu kibuga ne bamuduulira ne bamugamba nti Yambuka, ggwe ow'ekiwalaata; yambuka, ggwe ow'ekiwalaata.
24
N'akyuka n'abalaba n'abakolimira mu linnya lya Mukama. Eddubu bbiri enkazi ne ziva mu kibira ne zitaagula abaana ana mu babiri (42) ku bo.
25
Awo n'avaayo n'agenda eri olusozi Kalumeeri, n'avaayo n'akomawo e Samaliya.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25