bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Kings 9
2 Kings 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 10 →
1
Awo Erisa nnabbi n'ayita omu ku baana ba bannabbi n'amugamba nti Weesibe ekimyu otwale eccupa eno ey'amafuta ogende e Lamosugireyaadi.
2
Kale bw'olituukayo onoonye Yeeku mutabani wa Yekosafaati mutabani wa Nimusi, oyingire mu nnyumba mwali, omuggye mu baganda be, omuyingize mu kisenge eky'omunda.
3
Olyoke oddire eccupa ey'amafuta ogafuke ku mutwe gwe oyogere nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkufuseeko amafuta okuba kabaka wa Isiraeri. Olyoke oggulewo oluggi odduke so tolwanga.
4
Awo Nnabbi oyo omulenzi, n'agenda e Lamosugireyaadi.
5
Awo bwe yatuuka n'asanga abaami ab'omu ggye nga batudde; n'ayogera nti Ndiko kye ntumiddwa gy'oli, ggwe omwami. Yeeku n'abuuza nti Eri ani ku ffe fenna? N'ayogera nti Eri ggwe, omwami.
6
Yeeku n'asituka bombi n'ebayingira mu kisenge; omulenzi Nnabbi n'afuka amafuta ku mutwe gwa Yeeku ng'agamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Nkufuseeko amafuta okuba kabaka w'abantu ba Mukama, owa Isiraeri.
7
Era olikuba ennyumba ya Akabu mukama wo mpalane eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bange bannabbi, n'omusaayi gw'abaddu bonna aba Mukama Yezeberi be yatta.
8
Kubanga ennyumba yonna eya Akabu erizikirira: era ndimalawo eri Akabu buli mwana wa bulenzi omuto n'omukulu.
9
Era ndifuula ennyumba ya Akabu okuba ng'ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati era ng'ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya.
10
N'embwa ziririira Yezeberi mu musiri ogw'e Yezuleeri, so tewaliba wa kumuziika. N'aggulawo oluggi n'adduka.
11
Awo Yeeku n'afuluma n'ajja eri abaddu ba mukama we: ne waba amugamba nti Mirembe? Kiki ekireese gy'oli olusajja luno olulalu? N'abagamba nti Omusajja mumumanyi n'ebigambo bye bwe bibadde.
12
Ne bamuddamu nti Olimba; tubuulire nno. N'abaddamu nti Bw'ati ne bw'ati bw'aŋŋambye nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkufuseeko amafuta okuba kabaka wa Isiraeri.
13
Amangwago buli omu n'ayambulamu ekyambalo kye ne bakyaliira ku madaala Yeeku alinnyeko. Ne bafuuwa ekkondeere, ne bagamba nti Yeeku ye kabaka.
14
Awo Yeeku mutabani wa Yekosafaati mutabani wa Nimusi nnakola olukwe okutta Yolaamu. Mu kiseera ekyo Yolaamu n'Abaisiraeri bonna baali bakuuma Lamosugireyaadi kireme kuwambibwa Kazayeeri, kabaka w'e Busuuli.
15
Kyokka kabaka Yolaamu yali azzeeyo e Yezuleeri amale okussuuka ebiwundu, Abasuuli bye baamufumita ng'alwanyisa Kazayeeri kabaka wa Busuuli. Awo Yeeku n'agamba bakungu banne nti Oba nga muli ku ludda lwange, temukkiriza muntu n'omu kuseguka n'abomba mu kibuga agende mu bubba okumanyisa ab'e Yezuleeri.
16
Awo Yeeku n'atambulira mu ggaali n'agenda e Yezuleeri; kubanga Yolaamu yali alwalidde eyo. Era Akaziya kabaka wa Yuda yali azze okulaba Yolaamu obulwadde.
17
Awo omukuumi yali ayimiridde ku kigo mu Yezuleeri, n'alengera Yeeku ng'ajja ne kibiina kye, n'agamba nti Ndaba ekibiina ky'abantu ekijja. Yolaamu n'amugamba nti Ttumayo omuntu eyeebagadde embalaasi abasisinkane, ababuuze nti Mujja lwa mirembe?
18
Awo omuntu eyeebagadde embalaasi n'agenda okumusisinkana n'amugamba nti Kabaka abuuza nti Ozze lwa Mirembe? Yeeku n'ayogera nti Emirembe ogifaako ki? Dda emabega wange ongoberere. Omukuumi n'abuulira kabaka nti Omubaka atuuse gyebali, naye tadda.
19
Awo n'atuma omubaka ow'okubiri nga yeebagadde embalaasi, n'atuuka gye baali n'amugamba nti Kabaka abuuza nti Ozze lwa mirembe. Yeeku n'addamu nti Emirembe ogifaako ki? Dda emabega wange ongoberere.
20
Omukuumi n'abuulira kabaka nti Omubaka atuuse gyebali, so tadda: era entambula eriŋŋaanga entambula ya Yeeku mutabani wa Nimusi; kubanga atambula ng'awulukuka.
21
Yolaamu n'ayogera nti Muteeketeeke eggaali lyange. Ne bateekateeka eggaali lye. Yolaamu kabaka wa Isiraeri ne Akaziya kabaka wa Yuda ne bafuluma, buli muntu mu ggaali lye, okusisinkana Yeeku, ne bamusanga mu nnimiro eyali eya Nabosi.
22
Awo olwatuuka Yolaamu bwe yalaba Yeeku n'amubuuza nti Ozze lwa mirembe Yeeku? Yeeku n'amuddamu nti Mirembe ki nga okusinza bakatonda abalala n'obulogo bwa nnyoko Yezeberi bikyali bingi obwenkanidde awo?
23
Yolaamu n'akyusa eggaali lye n'adduka nga bw'agamba Akaziya nti, Oo! Akaziya, waliwo olukwe!
24
Yeeku n'anaanuula omutego gwe n'amaanyi ge gonna, n'alasa Yolaamu akasaale mu mugongo wakati, ne kamuyita mu mutima, n'agwa mu ggaali lye.
25
Awo Yeeku n'agamba Bidukali omuddu we nti Musitule omusuule mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri: kubanga jjukira, nze naawe bwe twali twebagadde embalaasi nga ffembi tugoberera Akabu kitaawe, Mukama bwe yayogera ebigambo bino ebikolimira Akabu nti:
26
nti Mazima nnalabye jjo omusaayi gwa Nabosi n'omusaayi gw'abaana be, bw'ayogera Mukama; era ndikusasulira mu nnimiro eno, bw'ayogera Mukama. Kale nno musitule omusuule mu nnimiro ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama.
27
Akaziya kabaka wa Yuda bwe yalaba ebiguddewo, n'addukira mu ggaali lye, ng'akutte ekkubo erigenda e Besikagaani. Yeeku n'amuwondera, era n'agamba basajja be nti N'oyo mumuttire mu ggaali lye. N'addukira e Megiddo n'afiira eyo
28
Abaddu be ne bamusitulira gaali lye ne bamutwala e Yerusaalemi, ne bamuziikira mu ntaana ye wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi.
29
Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu (11) ogwa Yolaamu mutabani wa Akabu Akaziya n'atandika okufuga Yuda.
30
Awo Yeeku bwe yatuuka e Yezuleeri, Yezeberi n'akiwulira, n'aziga amaaso ge n'alongoosa enviiri ze n'atunulirira mu ddirisa.
31
Yeeku bwe yali ng'ayingira mu mulyango, Yezeberi n'amukoowoola nti Ggwe Zimuli, eyatta mukama wo, ozze lwa mirembe?
32
Yeeku n'ayimusa amaaso n'atunula waggulu awali eddirisa, n'agamba nti Ani ali ku ludda lwange, ani? Abalaawe basatu oba babiri ne balingiza gy'ali.
33
Yeeku n'abagamba nti Mumusuule wansi! Ne bamusuula wansi, omusaayi gwe ne gumansukira ku kisenge ne ku mbalaasi. Yeeku n'amulinnyirira n'eggaali lye.
34
Awo Yeeku bwe yayingira mu lubiri, n'alya n'anywa, n'agamba nti Mulabe nti muziika omukazi oyo eyakolimirwa, kubanga muwala wa kabaka.
35
Ne bagenda okumuziika: naye ne batasangawo ku ye wabula ekiwanga n'ebigere n'ebibatu by'emikono gye.
36
Kyebaava bakomawo ne bamubuulira. Naye n'ayogera nti Kino kye kigambo kya Mukama kye yayogerera mu muddu we Eriya Omutisubi ng'ayogera nti Embwa ziririira omubiri gwa Yezeberi mu musiri ogw'e Yezuleeri:
37
n'omulambo gwa Yezeberi guliba ng'obusa ku ttale mu nnimiro ye Yezuleeri, n'okwogera ne wabulawo ayogera nti Ono ye Yezeberi.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25