bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 1
Acts 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 2 →
1
Munnange Tewofilo, mu kitabo kyange ekisooka nawandiika ku ebyo Yesu bye yakola ne bye yayigiriza, okuva lwe yatandika okukola omulimu gwe,
2
okutuusiza ddala ku lunaku lwe yatwalirwako mu ggulu. Bwe yali nga tannatwalibwa mu ggulu, yamala kukuutira ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, abatume be, be yalondamu.
3
Mu nnaku amakumi ana ng'amaze okubonyaabonyezebwa era n'okuttibwa, yabalabikira emirundi mingi, mu ngeri ezaabakakasiza ddala nti mulamu. Baamulaba, era n'ayogera nabo ku Bwakabaka bwa Katonda.
4
Era bwe baakuŋŋaana awamu, n'abalagira nti: “Temuva mu Yerusaalemu, wabula mulinde ekirabo Kitange kye yasuubiza, era kye nabagambako.”
5
Yowanne yabatiza na mazzi, kyokka mmwe mu nnaku ntono, mulibatizibwa na Mwoyo Mutuukirivu.
6
Abatume bwe baakuŋŋaana, ne babuuza Yesu nti: “Mukama waffe, mu kiseera kino mw'onoddizaawo obwakabaka bwa Yisirayeli?”
7
Yesu n'abagamba nti: “Okumanya ebbanga n'ekiseera si kwammwe. Kitange yakuleka mu buyinza bwe.
8
Kyokka Mwoyo Mutuukirivu bw'alijja ku mmwe, muliweebwa amaanyi. Era mulimmanyisa mu Yerusaalemu, ne mu Buyudaaya bwonna, ne mu Samariya, n'okutuusiza ddala ensi yonna gy'ekoma.”
9
Bwe yamala okwogera ebyo, n'atwalibwa mu ggulu nga balaba, ekire ne kimubikka, ne bataddayo kumulaba.
10
Awo bwe baali nga batunuulira waggulu balabe bw'agenda, abasajja babiri abambadde engoye enjeru, ne bajja ne bayimirira kumpi nabo.
11
Abasajja abo ne babuuza abatume nti: “Abasajja ab'e Galilaaya, lwaki muyimiridde nga mutunuulira waggulu? Oyo Yesu abaggyiddwako n'atwalibwa mu ggulu, alikomawo bw'atyo nga bwe mumulabye ng'agenda mu ggulu.”
12
Awo abatume ne baddayo e Yerusaalemu nga bava ku Lusozi olw'Emiti Emizayiti, oluli okumpi ne Yerusaalemu, ebbanga nga lya kilomita emu.
13
Bwe baayingira mu kibuga, ne bambuka mu kisenge ekya waggulu kye baabeerangamu. Baali: Peetero ne Yowanne, ne Yakobo ne Andereya, Filipo ne Tomasi, Barutolomaayo ne Matayo, Yakobo omwana wa Alufaayo, Simooni Omulwanirizi w'eddembe ly'eggwanga lye, ne Yuda muganda wa Yakobo.
14
Abo bonna, era n'abakazi omwali Mariya nnyina Yesu ne baganda ba Yesu, ne beemaliranga ku kusinza Katonda.
15
Mu nnaku ezo abooluganda ne bakuŋŋaana, nga bawera nga kikumi mu abiri. Peetero n'ayimirira wakati mu bo n'agamba nti:
16
“Abooluganda, ekyawandiikibwa, Mwoyo Mutuukirivu kye yayogeza Dawudi ku Yuda eyakulembera abo abaakwata Yesu, kyali kiteekwa okutuukirizibwa.
17
Yuda oyo yali omu ku ffe, kubanga yalondebwa okukola omulimu awamu naffe.”
18
(Omusajja oyo Yuda, ensimbi ze yaweebwa olw'ekikolwa kye ekibi, yazigulamu ennimiro mwe yagwa n'afa. Yayabikamu wabiri, ebyenda bye ne biyiika.
19
Abantu bonna ab'e Yerusaalemu kino bakimanyi, era mu lulimi lwabwe, kyebava bagiyita Akeludama, ekitegeeza nti: “Ennimiro y'Omusaayi”).
20
“Mu kitabo kya Zabbuli kyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba ye ebeere kifulukwa, ekibanja kye kibeere matongo.’ Era nti: ‘Obukulu bwe buweebwe omulala.’
21
“Kale twetaaga omuntu omu okuba awamu naffe mu kukakasa okuzuukira kwa Mukama waffe Yesu. Omuntu oyo ateekwa okuba omu ku basajja abaayitanga naffe, mu kiseera kyonna Mukama waffe kye yatambulanga naffe, okuva ku lunaku lwe yabatizibwa Yowanne, okutuusiza ddala lwe yatuggyibwako n'atwalibwa mu ggulu.”
23
Ne bassaawo abantu babiri: Yosefu ayitibwa Barusabba, era eyatuumibwa erya Yusto, n'omulala Matiya.
24
Ne basaba Katonda nga bagamba nti: “Ggwe Mukama omanyi ebiri mu mitima gy'abantu bonna. Tulage gw'olonze ku bano ababiri,
25
aweebwe ekifo mu mulimu gw'obutume, Yuda kye yaleka.”
26
Ne bakuba akalulu, ne kalonda Matiya, n'abalirwa ku batume ekkumi n'omu.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28