bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 9
Acts 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 10 →
1
Sawulo bwe yali ng'akyewerera okutta abayigirizwa ba Mukama, n'agenda eri Ssaabakabona,
2
n'amusaba ebbaluwa emuwa obuyinza okugenda mu makuŋŋaaniro ag'e Damasiko, akwate abasajja n'abakazi abatambulira mu Kkubo lya Mukama, abaleete e Yerusaalemu basibibwe.
3
Awo bwe yali ng'anaatera okutuuka e Damasiko, amangwago okwakaayakana okwava mu ggulu ne kumwetooloola.
4
N'agwa wansi, n'awulira eddoboozi nga limugamba nti: “Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki?”
5
N'agamba nti: “Ggwe ani Mukama wange?” N'addamu nti: “Nze Yesu gw'oyigganya.
6
Naye golokoka, oyingire mu kibuga. Eyo gy'onootegeerezebwa ky'onookola.”
7
Abasajja abaali batambula ne Sawulo ne bayimirira nga basamaaliridde, kubanga baawulira eddoboozi, naye nga tebalaba muntu.
8
Sawulo n'agolokoka. Bwe yazibula amaaso ge, n'atasobola kulaba. Ne bamukwata ku mukono, ne bamuyingiza mu Damasiko.
9
N'amalira ddala ennaku ssatu nga talaba, era nga talya wadde okunywa.
10
Waaliwo omuyigirizwa mu Damasiko, erinnya lye Ananiya. Mukama n'amulabikira n'amugamba nti. “Ananiya!” N'addamu nti: “Nzuuno Mukama wange.”
11
Mukama n'amugamba nti: “Golokoka okwate ekkubo eriyitibwa Eggolokofu, obuuze mu nnyumba ya Yuda, omuntu ow'e Taruso, erinnya lye Sawulo. Mu kiseera kino asinza Katonda,
12
era alabikiddwa omuntu, erinnya lye Ananiya, ng'ayingira era ng'amussaako emikono addemu okulaba.”
13
Ananiya n'amuddamu nti: “Mukama wange, mpulidde bangi nga boogera ku musajja oyo, nga bw'abonyaabonyezza abantu bo abali mu Yerusaalemu.
14
Era ne wano alina obuyinza obumuweereddwa bakabona abakulu, asibe abo bonna abakoowoola erinnya lyo.”
15
Mukama n'amugamba nti: “Genda, kubanga oyo nze mwerondedde ammanyise mu b'amawanga amalala, ne mu bakabaka, ne mu bantu ba Yisirayeli.
16
Era ndimulaga nga bw'ateekwa okubonaabona ennyo ku lwange.”
17
Awo Ananiya n'agenda, n'ayingira mu nnyumba, n'amussaako emikono, n'amugamba nti: “Owooluganda Sawulo, Mukama Yesu yennyini eyakulabikira bwe wali mu kkubo ng'ojja, antumye oddemu okulaba, era ojjuzibwe Mwoyo Mutuukirivu.”
18
Amangwago, ku maaso ge ne kuvaako ebintu ebiri ng'amagamba g'ebyennyanja, n'asobola okuddamu okulaba. N'agolokoka n'abatizibwa.
19
Bwe yamala okulya emmere, n'addamu amaanyi. Awo Sawulo n'amala ennaku ntonotono ng'ali n'abayigirizwa mu Damasiko.
20
Teyalwa, n'ayingira mu makuŋŋaaniro, ng'agenda ategeeza abantu nti Yesu ye Mwana wa Katonda.
21
Bonna abaamuwulira ne bawuniikirira, ne bagamba nti: “Ono si ye wuuyo eyayigganyanga ab'omu Yerusaalemu abakowoola erinnya eryo? Era si kye kyamuleeta ne wano abasibe, abatwale eri bakabona abakulu?”
22
Kyokka Sawulo ne yeeyongera okuba n'amaanyi mu kuyigiriza kwe, n'asirisa Abayudaaya abaali mu Damasiko, ng'akakasa nti Yesu ye Kristo.
23
Ennaku nnyingi bwe zaayitawo, Abayudaaya ne bateesa okutta Sawulo.
24
Kyokka Sawulo n'ategeera olukwe lwabwe. Baamukuumanga ku nzigi emisana n'ekiro bamutte.
25
Naye ekiro abayigirizwa be ne bamutwala ne bamussiza ku kisenge nga bamutadde mu kisero.
26
Sawulo bwe yatuuka mu Yerusaalemu, n'agezaako okwetaba n'abayigirizwa, kyokka bo ne bamutya, kubanga tebakkiriza nti naye muyigirizwa.
27
Kyokka Barunaba n'amutwala n'amwanjula eri abatume, n'abategeeza nga Sawulo bwe yali mu kkubo n'alaba Mukama, era nga Mukama bwe yayogera naye. Era n'abategeeza nga Sawulo bwe yali mu Damasiko n'ayogera n'obuvumu mu linnya lya Yesu.
28
Sawulo n'abeera nabo mu Yerusaalemu nga yeetaaya, ng'agenda ayogera n'obuvumu mu linnya lya Mukama.
29
N'ayogera era n'awaanyisaganyanga ebirowoozo n'Abayudaaya aboogera Oluyonaani, naye bo ne bagezaako okumutta.
30
Abooluganda bwe baakimanya, ne bamutwala e Kayisaariya, ne bamuweereza e Taruso.
31
Awo ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Buyudaaya bwonna ne Galilaaya ne Samariya ne kiba mirembe, era ne kinywezebwa, ne kyeyongera obunene, nga kissaamu Katonda ekitiibwa, nga ne Mwoyo Mutuukirivu akijjuza essanyu.
32
Awo Peetero n'atambula wonna wonna, n'atuuka eri abakkiriza ab'e Lida.
33
N'asangayo omuntu erinnya lye Ayineeya, eyali akoozimbye, nga tava ku kitanda okumala emyaka munaana.
34
Peetero n'amugamba nti: “Ayineeya, Yesu Kristo akuwonya. Situka weeyalire.” Awo Ayineeya n'asituka.
35
Abantu bonna abaali mu Lida ne mu Saroni ne bamulaba, ne bakkiriza Mukama.
36
Mu Yoppa mwalimu omukazi erinnya lye Tabbiita, mu Luyonaani Doruka, ekitegeeza engabi. Tabbiita oyo yakolanga ebikolwa ebirungi bulijjo, era ng'agabira abaavu.
37
Mu nnaku ezo n'alwala n'afa. Omulambo gwe ne bagunaaza ne baguteeka mu kisenge ekya waggulu.
38
Yoppa kyali kumpi ne Lida. Awo abayigirizwa abaali e Yoppa bwe baawulira nti Peetero ali mu Lida, ne bamutumira abasajja babiri, ne bamugamba nti: “Tukwegayiridde, jjangu mangu gye tuli.”
39
Awo Peetero n'asitula, n'agenda nabo. Bwe yatuukayo n'atwalibwa mu kisenge ekya waggulu. Bannamwandu bonna ne bamwetooloola nga bakaaba era nga bamulaga amakooti n'engoye endala Doruka bye yakola ng'akyali mulamu.
40
Peetero n'abafulumya ebweru bonna, n'afukamira ne yeegayirira Katonda. N'akyukira omulambo, n'agamba nti: “Tabbiita, golokoka.” Awo Tabbiita n'azibula amaaso ge. Bwe yalaba Peetero, n'atuula.
41
Peetero n'amukwata ku mukono, n'amuyimusa. Awo n'ayita bannamwandu n'abakkiriza abalala, n'amubalaga nga mulamu.
42
Ne kimanyibwa mu Yoppa yenna. Bangi ne bakkiriza Mukama.
43
Peetero n'amala ennaku nnyingi mu Yoppa ewa Simooni, omuwazi w'amaliba.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28