bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 15
Acts 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 16 →
1
Awo abantu abamu ne bava e Buyudaaya, ne bajja mu Antiyookiya, ne bayigiriza abooluganda nti: “Bwe mutakomolebwa ng'etteeka lya Musa bwe liragira, temuyinza kulokolebwa.”
2
Pawulo ne Barunaba bwe baawakana ennyo nabo, ne kisalibwawo nti Pawulo ne Barunaba n'abamu ku bakkiriza ab'omu Antiyookiya, bagende e Yerusaalemu eri abatume n'abakulembeze b'abakkiriza, babalabe ku nsonga eyo.
3
Awo bwe baamala okusibirirwa ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, ne bagenda. Ne bayita mu Foyinikiya ne mu Samariya, nga bagenda bannyonnyola ng'ab'amawanga amalala bwe bakyuse ne bakkiriza Katonda. Abooluganda bwe baawulira ebyo, ne basanyuka nnyo.
4
Bwe baatuuka e Yerusaalemu, ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, awamu n'abatume n'abakulembeze b'abakkiriza, ne babaaniriza. Pawulo ne Barunaba ne babategeeza Katonda bye yabakozesa.
5
Naye abamu ku bakkiriza ab'omu kibiina ky'Abafarisaayo, ne basituka ne bagamba nti: “Ab'amawanga amalala bateekwa okukomolebwa n'okulagirwa okukwata Amateeka ga Musa.”
6
Awo abatume n'abakulu b'abakkiriza ne bakuŋŋaana okwekkaanya ensonga eyo.
7
Empaka bwe zaakalambira ennyo, Peetero n'asituka n'agamba nti: “Abooluganda, mumanyi nti mu nnaku ezaayita, Katonda yannonda mu mmwe, ntegeeze ab'amawanga amalala Amawulire Amalungi, balyoke bakkirize.
8
Katonda amanyi ebiri mu mitima gy'abantu, yakakasa nga bw'abasiima, bwe yabawa Mwoyo Mutuukirivu nga bwe yamutuwa ffe.
9
Yalaga nti ffe nabo, tewali njawulo, kubanga yabasonyiwa ebibi byabwe olw'okukkiriza.
10
Kale kaakano lwaki mukema Katonda ng'abakkiriza mubatikka emigugu, bajjajjaffe wadde ffe gye tutaasobola kwetikka?
11
Wabula tukkiriza nti tulokolebwa lwa kisa kya Mukama Yesu, era nabo bwe batyo.”
12
Awo bonna abaali bakuŋŋaanye, ne basirika, ne bawuliriza Pawulo ne Barunaba nga babategeeza ebyewuunyo n'ebyamagero Katonda bye yabakozesa mu b'amawanga amalala.
13
Bwe baamala okwogera, Yakobo n'agamba nti: “Abooluganda, mumpulirize.
14
Simooni annyonnyodde nga Katonda bwe yasooka okulaga nti alumirwa ab'amawanga amalala ng'abalondamu okuba ababe ddala.
15
Ekyo kitabagana bulungi n'eby'abalanzi, nga bwe kyawandiikibwa nti:
16
‘Ebyo bwe biriggwa, ndidda, ne nzimba ennyumba ya Dawudi eyagwa. Ndigizimba mu kifo we yali, ngizzeewo.
17
Abantu abalala n'ab'amawanga amalala bonna, be nayita okuba abantu bange balyoke banoonye Mukama.
18
Mukama eyamanyisa ekyo okuva edda n'edda, bw'atyo bw'agamba.’
19
“Kyenva ŋŋamba nti tuleme kuteganya ba mawanga malala abakyuka ne badda eri Katonda.
20
Wabula tubawandiikire, tubategeeze baleme kulya kintu na kimu ekiweereddwayo eri balubaale, beewale obwenzi, era baleme kulya nsolo zitugiddwa, wadde okulya omusaayi.
21
Okuva edda ebyo ebyawandiikibwa Musa birina ababiyigiriza mu buli kibuga, era bisomebwa mu makuŋŋaaniro buli Sabbaato.”
22
Awo abatume n'abantu abakulu, awamu n'ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo, ne basalawo okwerondamu ababaka babatume mu Antiyookiya, bagende wamu ne Pawulo ne Barunaba. Ne balonda Yuda ayitibwa Barusabba, ne Siila, abasajja abakulu mu booluganda.
23
Ne babakwasa ebbaluwa egamba nti: “Ffe baganda bammwe abatume n'abantu abakulu, tubalamusizza mmwe abooluganda abatali Bayudaaya, ab'omu Antiyookiya ne Siriya ne Kilikiya.
24
Tuwulidde nti waliwo abamu mu ffe abajja ne babateganya olw'ebigambo bye baabagamba, sso nga ffe tetubatumanga.
25
Kyetuvudde tukuŋŋaana, ne tusalawo okulonda n'okubatumira ababaka, bajje gye muli, nga bali n'abaagalwa baffe Barunaba ne Pawulo,
26
abantu abaawaayo obulamu bwabwe olw'okuweereza Mukama waffe Yesu Kristo.
27
Kale tutumye Yuda ne Siila, bo bennyini bababuulire n'akamwa.
28
“Mwoyo Mutuukirivu naffe, tusazeewo obutabatikka mugugu mulala, wabula bino ebitalekeka:
29
mwewale okulya bye batambiridde balubaale, era mwewale okulya omusaayi wadde ensolo etugiddwa, era mwewale obwenzi. Bwe muneewala ebintu ebyo, munaaba mukoze bulungi. Mweraba.”
30
Awo abaatumibwa ne bagenda mu Antiyookiya, ne bakuŋŋaanya ekibiina ky'abakkiriza Kristo, ne babakwasa ebbaluwa.
31
Bwe baagisoma, ne basanyuka olw'ebyagirimu ebyabagumya.
32
Yuda ne Siila nga nabo bwe baali abalanzi, ne boogera n'abooluganda ebigambo bingi nga babagumya.
33
Bwe baamalayo ebbanga, abooluganda ne babasiibula mirembe, ne baddayo eri abaabatuma. [
34
Kyokka Siila ye n'asalawo okusigalayo.]
35
Pawulo ne Barunaba ne bamala ekiseera mu Antiyookiya ne bannaabwe abalala, nga bategeeza era nga bayigiriza abantu ekigambo kya Mukama.
36
Ennaku bwe zaayitawo, Pawulo n'agamba Barunaba nti: “Tuddeyo tulambule abooluganda abali mu buli bibuga gye twategeeza abantu ekigambo kya Mukama, tulabe nga bwe bali.”
37
Barunaba n'ayagala batwale ne Yowanne Mariko.
38
Kyokka Pawulo n'atasiima kugenda na muntu eyabaleka mu Panfiliya, n'atagenda nabo ku mulimu.
39
Ne bawakana nnyo. Bwe baalemwa okukkiriziganya, kwe kwawukana, Barunaba n'agenda ne Mariko, ne basaabala ne balaga e Kipuro.
40
Pawulo ye n'alonda Siila, ne bagenda, ng'abooluganda bamaze okubasabira Katonda abayambe.
41
N'ayita mu Siriya ne mu Kilikiya, ng'agumya ebibiina by'abakkiriza Kristo.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28