bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 3
Acts 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 4 →
1
Awo Peetero ne Yowanne ne bambuka mu Ssinzizo ku ssaawa ey'omwenda ey'olweggulo, mu ssaawa ey'okusinzizaamu Katonda.
2
Ku luggi olw'Essinzizo oluyitibwa Olulungi, waaliwo omusajja eyali omulema okuviira ddala lwe yazaalibwa. Buli lunaku baamuteekanga awo ku luggi asabirize ensimbi ku bantu abaayingiranga mu Ssinzizo.
3
Bwe yalaba Peetero ne Yowanne nga bagenda okuyingira mu Ssinzizo, n'abasaba ensimbi.
4
Ne bamusimba amaaso. Peetero n'amugamba nti: “Tutunuulire.”
5
Awo n'abatunuulira, ng'asuubira nti banaabaako kye bamuwa.
6
Peetero n'amugamba nti: “Ensimbi sirina n'akatono, naye kye nnina kye nnaakuwa. Mu linnya lya Yesu Omunazaareeti nkulagira, tambula.”
7
Awo n'amukwata ku mukono gwe ogwa ddyo, n'amuyimusa. Amangwago ebigere bye n'obukongovvule ne bifuna amaanyi.
8
N'agolokoka mangu, n'ayimirira, n'atambula, n'ayingira nabo mu Ssinzizo, ng'atambula, ng'abuuka, era ng'atendereza Katonda.
9
Abantu bonna ne bamulaba ng'atambula era ng'atendereza Katonda.
10
Ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku Luggi Olulungi olw'Essinzizo ng'asabiriza. Bonna ne bawuniikirira nnyo, era ne beewuunya olw'ekyo ekikoleddwa.
11
Bwe yali akyekutte ku Peetero ne Yowanne, abantu bonna ne basamaalirira, ne badduka ne bagenda awali Peetero ne Yowanne ku kifugi ekiyitibwa ekya Solomooni.
12
Peetero bwe yabalaba, n'abagamba nti: “Abasajja Abayisirayeli, lwaki kino kibeewuunyisa? Lwaki mututunuulira bwe mutyo? Mulowooza nti buyinza bwaffe, oba bulungi bwaffe mu maaso ga Katonda bye bisobozesezza ono okutambula?
13
Katonda wa Aburahamu, era owa Yisaaka, era owa Yakobo, Katonda wa bajjajjaffe, ye agulumizizza omuweereza we Yesu, mmwe gwe mwawaayo era ne mumwegaanira mu maaso ga Pilaato, eyali asazeewo okumuta.
14
Naye mmwe mwegaana omutuukirivu era atuukiriza byonna Katonda by'alagira, ne musaba okubateera omutemu.
15
Mwatta oyo awa bonna obulamu, kyokka Katonda n'amuzuukiza. Era ffe kino tukikakasa.
16
Obuyinza bwa Yesu oyo bwe buwadde amaanyi omuntu ono gwe mulaba era gwe mumanyi, era okwesiga Yesu kwe kuleetedde omuntu ono okuwonera ddala nga mwenna bwe mulaba.
17
“Kale nno abooluganda, mmanyi nga mmwe, awamu n'abafuzi bammwe, bye mwakola Yesu, mwabikola mu butamanya.
18
Mu byo Katonda n'atuukiriza ebyo bye yayogeza abalanzi be bonna ab'edda, abaalanga ku Kristo we nti alibonyaabonyezebwa.
19
Kale nno mwenenye, mudde eri Katonda, ebibi byammwe bisonyiyibwe,
20
Katonda alyoke awenga emitima gyammwe okuwummula, era abatumire Kristo gwe yabategekera edda, ye Yesu.
21
Kristo oyo ateekwa okubeera mu ggulu okutuusa ebintu byonna lwe birizzibwa obuggya, nga Katonda bwe yayogerera mu balanzi be abatukuvu abaaliwo edda.
22
Musa yagamba nti: ‘Mukama Katonda alibatumira omulanzi aliva mu baganda bammwe, nga bwe yabatumira nze. Mumuwuliranga mu byonna by'alibagamba.
23
Kyokka buli muntu ataliwulira mulanzi oyo, aliggyibwa mu bantu ba Katonda, n'azikirizibwa.’
24
Era abalanzi bonna abaayogera, okuva ku Samweli n'abaamuddirira, ennaku zino baaziranga.
25
Ebyo Katonda bye yasuubiza ng'ayita mu balanzi, byammwe. Era n'endagaano gye yalagaana ne bajjajjammwe, yakolerwa mmwe. Yagamba Aburahamu nti: ‘Mu bazzukulu bo, amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.’
26
Kale Katonda bwe yalonda omuweereza we, yasooka kumutumira mmwe, abawe omukisa ng'abakyusa mwenna okuva mu bibi byammwe.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28