bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 13
Acts 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 14 →
1
Mu kibiina ky'abakkiriza Kristo ekyali mu Antiyookiya, mwalimu abalanzi n'abayigiriza: Barunaba ne Simyoni eyayitibwanga Omuddugavu, ne Lukiyo ow'e Kireene, ne Manayeni eyakulira awamu n'omufuzi Herode, ne Sawulo.
2
Bwe baali nga baweereza Mukama era nga basiiba, Mwoyo Mutuukirivu n'abagamba nti: “Munjawulire Barunaba ne Sawulo, bakole omulimu gwe mbayitidde.”
3
Awo bwe baamala okusiiba n'okwegayirira Katonda, ne babassaako emikono, ne babatuma.
4
Awo Barunaba ne Sawulo bwe baamala okutumibwa Mwoyo Mutuukirivu, ne baserengeta e Selewukiya, ne basaabala, ne bagenda e Kipuro.
5
Bwe baatuuka e Salamisi, ne bayigiriza ekigambo kya Katonda mu makuŋŋaaniro g'Abayudaaya. Baali ne Yowanne Mariko ng'abaweereza.
6
Bwe baayitaayita mu kizinga kyonna okutuuka e Paafo, ne basanga Omuyudaaya omulaguzi, omulanzi ow'obulimba, erinnya lye Bari-Yesu.
7
Yali wamu n'omufuzi ow'ekizinga ekyo, omusajja omugezi, erinnya lye Serugiyo Pawulo. Omufuzi oyo n'ayita Barunaba ne Sawulo, ng'ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda.
8
Kyokka Eluma, amakulu nti omulaguzi, n'abawakanya ng'ayagala omufuzi aleme kukkiriza.
9
Awo Sawulo, era amanyiddwa nga Pawulo, n'ajjula Mwoyo Mutuukirivu, n'asimba Eluma amaaso,
10
n'agamba nti: “Ggwe omwana wa Sitaani! Ggwe omulabe w'obutuukirivu bwonna, ojjudde obukuusa bwonna. Tolirekayo kuggya bantu mu makubo ga Mukama amagolokofu?
11
Kaakano Mukama ajja kukubonereza: ojja kuba muzibe, nga tolaba njuba okumala akaseera.” Amangwago ekifu n'ekizikiza ne bibikka amaaso ge, ne gaziba. N'awammanta ng'anoonya ow'okumukwata ku mukono.
12
Awo omufuzi bwe yalaba ebibaddewo, n'akkiriza, nga yeewuunya nnyo okuyigiriza okufa ku Mukama.
13
Awo Pawulo ne banne ne basaabala okuva e Paafo, ne batuuka e Peruga eky'omu Panfiliya. Yowanne ye n'abaawukanako, n'addayo e Yerusaalemu.
14
Kyokka bo ne bava e Peruga, ne batuuka mu Antiyookiya eky'omu Pisidiya. Ku lunaku olwa Sabbaato ne bayingira mu kkuŋŋaaniro, ne batuula.
15
Ebitundu ebiggyibwa mu mateeka ga Musa ne mu byawandiikibwa abalanzi bwe byaggwa okusoma, abakulu b'ekkuŋŋaaniro, ne batumira ba Pawulo nga bagamba nti: “Abooluganda, oba nga mulina ekigambo eky'okubuulira abantu, mukibabuulire.”
16
Pawulo bwe yasituka n'abawenya n'omukono, n'agamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, nammwe abalala abassaamu Katonda ekitiibwa, muwulire.
17
Katonda w'Abayisirayeli yalonda bajjajjaffe, n'abafuula eggwanga eddene bwe baali mu nsi y'e Misiri. Oluvannyuma n'abaggyayo n'obuyinza bwe obungi.
18
N'abeera nabo mu ddungu, okumala emyaka ng'amakumi ana, ng'abagumiikiriza.
19
Bwe yamala okuzikiriza amawanga omusanvu agaali mu nsi y'e Kanaani, n'abawa ensi eyo okuba obutaka bwabwe.
20
Emyaka ng'ebikumi bina mu ataano bwe gyayitawo, n'abawa abalamuzi, okutuusa mu biseera bya Samweli omulanzi.
21
Awo bwe baasaba okuweebwa kabaka, Katonda n'abawa Sawulo, omwana wa Kiisi, ow'omu Kika kya Benyamiini, n'abafugira emyaka amakumi ana.
22
“Bwe yamuggyaawo, n'abateerawo Dawudi okuba kabaka waabwe, Katonda gwe yayogerako nti: ‘Nzudde Dawudi omwana wa Yesse, ye musajja gwe nsiima, anaakolanga byonna bye njagala.’
23
“Katonda ng'atuukiriza ekyo kye yasuubiza, aleetedde Yisirayeli Omulokozi Yesu, ng'amuggya mu zzadde lya Dawudi.
24
Yesu bwe yali nga tannatandika mulimu gwe, Yowanne yategeeza abantu ba Yisirayeli bonna beenenye babatizibwe.
25
Era Yowanne bwe yali ng'amaliriza omulimu gwe, n'agamba abantu nti: ‘Mundowooza kuba ani? Nze siri oyo gwe mulindirira, wabula ye anvaako mabega, era sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.’
26
“Mmwe abooluganda, bazzukulu ba Aburahamu, nammwe abalala abassaamu Katonda ekitiibwa, ebigambo bino eby'obulokozi byaweerezebwa ffe.
27
Abantu b'omu Yerusaalemu, awamu n'abakulu baabwe, Yesu tebaamumanya nti ye mulokozi, wadde okutegeera ebigambo by'abalanzi ebisomebwa buli Sabbaato. Kyokka baabituukiriza, bwe baasalira Yesu omusango attibwe.
28
Newaakubadde tebaazuula nsonga emussa, baasaba Pilaato, Yesu attibwe.
29
“Bwe baamala okutuukiriza ebyawandiikibwa byonna ebimwogerako, ne bamuwanula ku musaalaba, ne bamuteeka mu ntaana.
30
Kyokka Katonda n'amuzuukiza.
31
N'amala ennaku nnyingi ng'alabikira abo abaayambuka naye e Yerusaalemu nga bava e Galilaaya. Abo kaakano be bamumanyisa mu bantu.
32
“Kale Amawulire Amalungi ge tubaleetera gaagano nti: Katonda bwe yazuukiza Yesu, yatuukiriza ekyo kye yasuubiza bajjajjaffe, ku lwaffe bazzukulu baabwe,
33
nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti: ‘Oli Mwana wange, olwa leero nkuzadde.’
34
Okukakasa nti Katonda yamuzuukiza, takyaddamu kufa, Katonda kyava agamba nti: ‘Ndibawa emikisa emitukuvu era egy'enkalakkalira, gye nawa Dawudi.’
35
Ne mu Zabbuli endala agamba nti: ‘Tolireka mutukuvu wo kuvunda.’
36
Dawudi bwe yamala okukola emirimu Katonda gye yamuteekerateekera mu bulamu bwe, n'afa, n'aziikibwa awali bajjajjaabe, n'avunda.
37
Kyokka oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda.
38
N'olwekyo mmwe mwenna abooluganda, mutegeere nti ku bw'oyo, tubategeeza nga bwe muyinza okusonyiyibwa ebibi byammwe.
39
Era byonna bye mutaayinza kuggyibwako mu mateeka ga Musa, buli akkiriza Yesu bimuggyibwako.
40
“Kale mwekuume, ekyo kireme kubabaako, ekyayogerwa abalanzi nti:
41
‘Kale mmwe abanyooma, mwewuunye, muzikirire, kubanga nkola omulimu mu biseera byammwe, omulimu gwe mutalikkiriza, newaakubadde nga waliwo agubannyonnyola.’ ”
42
Pawulo ne Barunaba bwe baali bafuluma mu kkuŋŋaaniro, abantu ne babasaba beeyongere okubategeeza ebigambo ebyo ku Sabbaato eddirira.
43
Bonna bwe baava mu kkuŋŋaaniro, bangi ku Bayudaaya ne ku b'amawanga amalala abasoma Ekiyudaaya ne bagoberera Pawulo ne Barunaba. Mu kunyumya nabo, Pawulo ne Barunaba ne babakuutira banywerere mu kwesiga ekisa kya Katonda.
44
Ku Sabbaato eyaddirira, kumpi buli muntu eyali mu kibuga n'ajja okuwulira ekigambo kya Katonda.
45
Abayudaaya bwe baalaba abantu abangi bwe batyo, ne bajjula obuggya, ne bawakanya ebyayogerwa Pawulo, era ne bamuvuma.
46
Awo Pawulo ne Barunaba ne boogera n'obuvumu, ne bagamba nti: “Mmwe mubadde muteekwa okusooka okubuulirwa ekigambo kya Katonda. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mulaga mmwe mwennyini nga temusaanira kufuna bulamu obutaggwaawo, kale ka tubaleke, tugende eri ab'amawanga amalala,
47
kubanga ekyo Mukama kye yatulagira okukola bwe yagamba nti: ‘Nkutaddewo obe ekitangaala mu b'amawanga amalala, obe omulokozi w'ensi zonna.’ ”
48
Ab'amawanga amalala bwe baawulira ebyo, ne basanyuka, ekigambo kya Katonda ne bakissaamu ekitiibwa. Abo Katonda be yateekerateekera obulamu obutaggwaawo, ne bakkiriza.
49
Ekigambo kya Katonda ne kibuna mu kitundu ekyo kyonna.
50
Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakulu b'ekibuga n'abakazi abeekitiibwa era abajjumbizi b'eddiini, ne bayigganya Pawulo ne Barunaba, ne babagoba mu kitundu ekyo.
51
Kyokka Pawulo ne Barunaba ne bakunkumulira abantu abo enfuufu ey'oku bigere byabwe, ne balaga mu Yikoniyo.
52
Abayigirizwa ne bajjula essanyu ne Mwoyo Mutuukirivu.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28