bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 26
Acts 26
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 27 →
1
Agripa n'agamba Pawulo nti: “Okkiriziddwa okuwoza.” Awo Pawulo n'agolola omukono, n'atandika okuwoza nti:
2
“Kabaka Agripa, neesiimye nnyo okuwoleza mu maaso go olwaleero ebyo byonna Abayudaaya bye banvunaana,
3
n'okusingira ddala kubanga omanyi bulungi empisa z'Abayudaaya, n'ebyo bye bawakanamu, n'enjawukana zaabwe. Kyenva nkwegayirira ompulirize n'obugumiikiriza.
4
“Abayudaaya bonna bamanyi obulamu bwange okuva mu buto. Bamanyi nga bwe nabeera okuva olubereberye nga ndi mu bantu bange, era ne bwe nali mu Yerusaalemu.
5
Okuva edda bamanyi, era singa baagala, bayinza okukakasa nga okuva olubereberye nali mu kibiina ekisingira ddala okukwata eddiini yaffe, nali Mufarisaayo.
6
Kaakano nnyimiridde wano okusalirwa omusango kubanga nsuubira ekyo Katonda kye yasuubiza bajjajjaffe,
7
era ebika byaffe ekkumi n'ebibiri kye birindirira nga bisinza Katonda emisana n'ekiro. Olw'okusuubira bwe ntyo, Abayudaaya kyebavudde bampawaabira, ayi kabaka.
8
Lwaki mugamba nti Katonda okuzuukiza abafu kye kintu kye mutayinza kukkiriza?
9
“Nze nzennyini nalowoozanga nti nteekwa okukola kyonna kye nsobola okuyigganya erinnya lya Yesu Omunazaareeti.
10
Era ekyo kye nakola mu Yerusaalemu. Nafuna obuyinza okuva eri bakabona abakulu, ne nteeka abakkiriza bangi mu kkomera, era bwe baasalirwanga emisango egy'okuttibwa, nange nasiimanga.
11
Emirundi mingi nababonerezanga mu makuŋŋaaniro gonna, nga mbawaliriza beegaane enzikiriza yaabwe. Ate bwe neeyongera okubasunguwalira, ne mbayigganyanga ne mu bibuga eby'ebweru.
12
“Bwe nali ku ekyo, nga ŋŋenda e Damasiko, nga mmaze okufuna obuyinza n'ebiragiro okuva eri bakabona abakulu, ayi kabaka, nga ndi mu kkubo
13
mu budde obw'ettuntu, ne ndaba okwakaayakana okwava mu ggulu nga kusinga okwaka kw'enjuba, ne kunneetooloola nze n'abaali nange mu lugendo.
14
Ffenna ne tugwa wansi. Ne mpulira eddoboozi eriŋŋamba mu lulimi Olwebureeyi nti: ‘Sawulo, Sawulo! Lwaki onjigganya? Kirumya ggwe okusamba ku miwunda.’
15
Ne ŋŋamba nti: ‘Ggwe ani Mukama wange?’ Mukama n'addamu nti: ‘Nze Yesu gw'oyigganya.
16
Kyokka golokoka oyimirire. Nkulabikidde ndyoke nkufuule omuweereza wange, akakasa ebyo mw'ondabidde, n'ebyo mwe nnaakulabikiranga.
17
Ndikuwonya abantu b'eggwanga lyo n'ab'amawanga amalala gye ndikutuma
18
okubazibula amaaso, balyoke bave mu kizikiza, badde mu kitangaala, era bave mu buyinza bwa Sitaani, badde eri Katonda, balyoke basonyiyibwe ebibi byabwe, era bafunire wamu omugabo n'abo abatukuzibwa olw'okukkiriza.’
19
“N'olwekyo, Kabaka Agripa, saawakanya kulabikirwa okwava mu ggulu.
20
Nasookera ku b'omu Damasiko, nzuuyo ku b'omu Yerusaalemu, ne ku b'omu Buyudaaya bwonna ne ku b'amawanga amalala, ne mbategeeza beenenye, badde eri Katonda, era bakole ebikolwa ebiraga nti beenenyezza.
21
Abayudaaya kyebaava bankwata nga ndi mu Ssinzizo, ne bagezaako okunzita.
22
Kyokka Katonda ankuumye okutuusa ku lunaku lwaleero, era nnyimiridde nga ntegeeza abakulu n'abato ebyo byennyini abalanzi ne Musa bye baayogera nti bigenda kubaawo.
23
Baagamba nti Kristo ateekwa okubonyaabonyezebwa abe omubereberye mu kuzuukira, atuuse ku Bayudaaya ne ku b'amawanga amalala ekitangaala eky'obulokozi.”
24
Pawulo bwe yawoza bw'atyo, Festo n'agamba n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Pawulo olaluse! Ebingi bye wayiga bikulalusizza.”
25
Pawulo n'agamba nti: “Oweekitiibwa Festo, siraluse. Ebigambo bye njogera bya mazima era bya magezi.
26
Kabaka bino abimanyi era mbimubuulira nga sitya, kubanga nkakasa nti tewali na kimu ku byo ky'atamanyi, kubanga tebyakolebwa mu nkiso.
27
Kabaka Agripa, okkiriza abalanzi? Mmanyi ng'obakkiriza.”
28
Agripa n'agamba Pawulo nti: “Mu kaseera akatono oyagala okunsendasenda onfuule omugoberezi wa Kristo!”
29
Pawulo n'agamba nti: “Akaseera ne bwe kaba katono oba kanene, nze kye nsaba Katonda, si ggwe wekka naye n'abo bonna abampuliriza olwaleero, bafuuke nga nze, okuggyako okusibibwa kuno.”
30
Awo kabaka, n'omufuzi, ne Berunike, n'abalala bonna, ne basituka.
31
Bwe baafuluma ne bagambagana nti: “Omuntu oyo takolanga kintu na kimu kimusaanyiza kufa oba kusibibwa.”
32
Agripa n'agamba nti: “Omuntu oyo yanditeereddwa singa teyajulira wa Kayisaari.”
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28