bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 16
Acts 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 17 →
1
Awo Pawulo n'atuuka e Derube n'e Lisitura. Eyo waaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoteewo, nga nnyina Muyudaaya omukkiriza mu Kristo, kyokka kitaawe nga Muyonaani.
2
Abooluganda bonna, ab'omu Derube ne Yikoniyo, nga basiima nnyo Timoteewo oyo.
3
Pawulo n'ayagala okugenda naye. Kyeyava amukomola, kubanga Abayudaaya abaali mu kitundu ekyo bonna, baali bamanyi nga kitaawe yali Muyonaani.
4
Awo ne bayita mu bibuga, nga bakuutira abakkiriza, okukwata ebyasalibwawo abatume n'abantu abakulu abaali mu Yerusaalemu.
5
Olwo ebibiina by'abakkiriza Kristo ne binywezebwa mu kukkiriza, era abantu ne babyegattangako buli lunaku.
6
Ne bayita mu kitundu ky'e Furigiya n'e Galatiya, nga Mwoyo Mutuukirivu abagaanyi okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda mu Asiya.
7
Bwe baatuuka okumpi ne Musiya, ne bagezaako okugenda mu kitundu eky'e Bitiniya, kyokka Mwoyo wa Yesu n'atabakkiriza.
8
Bwe baayita ku Musiya, ne baserengeta e Turoowa.
9
Ekiro Pawulo n'alabikirwa, n'alaba omuntu ow'omu Makedooniya ng'ayimiridde amwegayirira nti: “Jjangu e Makedooniya otuyambe.”
10
Bwe yamala okulabikirwa, amangwago ne tusala amagezi tugende e Makedooniya, nga tutegedde nti Katonda atuyise okutegeeza abaayo Amawulire Amalungi.
11
Ne tusaabala okuva e Turoowa, ne tugoba e Samoturakiya. Olunaku olwaddirira ne tutuuka e Neyapoli.
12
Bwe twavaayo, ne tutuuka e Filippi, ekibuga ekikulu eky'e Makedooniya; ettwale ly'Abarooma. Ne tumalayo ennaku ntonotono.
13
Ku lunaku lwa Sabbaato ne tufuluma mu kibuga, ne tugenda ku mabbali g'omugga, gye twalowooza nti eriyo ekifo gye basinziza Katonda. Ne tutuula ne twogera n'abakazi abaali bakuŋŋaanye.
14
Omu ku bo, erinnya lye Lidiya, eyava mu kibuga Tiyatira, n'atuwuliriza. Yali mutunzi wa ngoye eza kakobe, era ng'assaamu Katonda ekitiibwa. Mukama n'aggula omutima gwe, n'akkiriza ebyo Pawulo bye yayogera.
15
Ye n'ab'omu nnyumba ye bwe baamala okubatizibwa, n'atwegayirira ng'agamba nti: “Oba nga mulabye nti nzikiriza Mukama mu mazima, mujje mubeere ewange.” N'atukkirizisa.
16
Awo olwatuuka, bwe twali tugenda mu kifo eky'okusinzizaamu Katonda, omuwala omuzaana eyalagulanga, era eyafuniranga bakama be ebintu ebingi olw'okulagula kwe, n'atusisinkana.
17
Omuwala oyo n'atugoberera nga bw'awowoggana nti: “Abantu bano baweereza ba Katonda Atenkanika, ababategeeza nga bwe muyinza okulokolebwa.”
18
Ekyo n'akiddiŋŋananga okumala ennaku nnyingi. Naye Pawulo bwe yanakuwala, n'akyuka n'agamba lubaale nti: “Mu linnya lya Yesu nkulagira, muveeko.” Amangwago lubaale n'amuvaako.
19
Bakama b'omuwala bwe baalaba ng'essuubi ery'okufuna ebintu liweddewo, ne bakwata Pawulo ne Siila, ne babawalaawala ne babatwala mu mbuga eri ab'obuyinza.
20
Bwe baabatuusa eri abalamuzi, ne bagamba nti: “Abantu bano Bayudaaya era basasamaza ekibuga kyaffe.
21
Bayigiriza empisa ffe Abarooma ze tutayinza kukkiriza wadde okugoberera.”
22
Ekibiina ky'abantu nakyo ne kyegatta mu kubakuba. Abalamuzi ne bayuza engoye za Pawulo ne Siila, era ne balagira bakubwe emiggo.
23
Bwe baamala okubakuba ennyo, ne babateeka mu kkomera, ne balagira omukuumi okubakuuma ennyo.
24
Omukuumi w'ekkomera bwe yamala okulagirwa, n'abateeka mu kkomera eryomunda, amagulu gaabwe n'agassa mu nvuba.
25
Ekiro nga mu ttumbi, Pawulo ne Siila ne beegayirira Katonda era ne bamutendereza mu nnyimba, n'abasibe abalala ne bawulira.
26
Amangwago ne wabaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, ne kuyuuguumya ekkomera n'emisingi gyalyo. Awo enzigi z'ekkomera zonna ne zeggula, n'enjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka.
27
Omukuumi w'ekkomera bwe yazuukuka, n'alaba ng'enzigi z'ekkomera nzigule, n'asowola ekitala kye yette, ng'alowooza nti abasibe babombye.
28
Kyokka Pawulo n'aleekaana nnyo nti: “Teweekolako kabi! Ffenna weetuli wano.”
29
Awo omukuumi w'ekkomera n'atumya ettaala, n'ayingira mangu, n'agwa kumpi n'ebigere bya Pawulo ne Siila nga bw'akankana.
30
N'abafulumya ebweru n'ababuuza nti: “Bassebo, kiki kye ŋŋwanira okukola ndyoke ndokolebwe?”
31
Ne bamugamba nti: “Kkiriza Mukama Yesu, onoolokolebwa ggwe, n'ab'omu nnyumba yo bonna.”
32
Awo ne bamutegeeza awamu n'ab'omu nnyumba ye bonna ekigambo kya Mukama.
33
Mu kiro ekyo kyennyini, omukuumi w'ekkomera n'abatwala, n'abanaaza ebiwundu. Amangwago n'abatizibwa awamu n'ab'omu nnyumba ye bonna.
34
Olwo n'atwala Pawulo ne Siila mu nnyumba ye, n'abawa ebyokulya. N'asanyuka nnyo awamu n'ab'omu nnyumba ye bonna, olw'okukkiriza Katonda.
35
Obudde bwe bwakya, abalamuzi ne batuma abaserikale baabwe mu kkomera, nga bagamba nti: “Abantu abo mubate.”
36
Awo omukuumi w'ekkomera n'agamba Pawulo nti: “Abalamuzi balagidde muteebwe. Kale kaakano mufulume, mugende mirembe.”
37
Kyokka Pawulo n'abagamba nti: “Baatukubidde mu lujjudde nga tetuwozezza na kuwoza, sso nga tuli Barooma. Ate kaakano batuta batya mu kyama? Nedda. Bo bennyini be baba bajja batute.”
38
Abaserikale ebigambo ebyo ne babibuulira abalamuzi. Abalamuzi bwe baawulira nga Pawulo ne Siila Barooma, ne batya.
39
Ne bajja ne babeetondera, ne babafulumya ebweru w'ekkomera ne babeegayirira bave mu kibuga.
40
Awo Pawulo ne Siila ne bava mu kkomera, ne bagenda ewa Lidiya. Bwe baamala okulaba abooluganda n'okubagumya, ne bavaayo.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28