bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 11
Acts 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 12 →
1
Awo abatume n'abooluganda abaali mu Buyudaaya, ne bawulira nga n'ab'amawanga amalala bakkirizza ekigambo kya Katonda.
2
Peetero bwe yayambuka e Yerusaalemu, abo abaali baagala ab'amawanga amalala bakomolebwe, ne bamunenya nga bagamba nti:
3
“Wakyalira ab'amawanga amalala abatali bakomole, n'okulya n'olya nabo!”
4
Awo Peetero n'abannyonnyola byonna ebyabaawo nga bwe byaddiriŋŋana, n'agamba nti:
5
“Nali mu kibuga Yoppa nga nsinza Katonda, ne mba ng'avudde ku nsi, ne ndabikirwa ekintu ekiri ng'essuuka ennene, ng'ekwatiddwa ku nsonda zaayo ennya, nga kikka okuva mu ggulu, ne kijja gye ndi.
6
Bwe nakyetegereza, ne ndabamu ensolo enfuge n'ez'omu nsiko, n'ebyewalula, n'ebinyonyi.
7
Ne mpulira eddoboozi eriŋŋamba nti: ‘Peetero, situka otte, olye.’
8
Ne nziramu nti: ‘Nedda, Mukama wange! Siryanga kintu kitali kirongoofu, wadde eky'omuzizo.’
9
“Eddoboozi ne liddamu nate nga liva mu ggulu nti: ‘Katonda kye yalongoosa, tokiyitanga kya muzizo.’
10
Ekyo kyabaawo emirundi esatu, oluvannyuma ne kizzibwayo kyonna mu ggulu.
11
Mu kiseera ekyo kyennyini, abasajja basatu abaava e Kayisaariya, abaatumibwa gye ndi, ne batuuka mu nnyumba mwe twali.
12
Mwoyo Mutuukirivu n'aŋŋamba nti: ‘Genda nabo nga tobuusabuusa.’ Abooluganda bano omukaaga, nabo baagenda nange e Kayisaariya, era twayingira ffenna mu nnyumba ya Koruneeliyo.
13
Koruneeliyo oyo n'atubuulira nga bwe yalaba malayika ng'ayimiridde mu nnyumba ye, era ng'amugamba nti: ‘Tuma e Yoppa, oyite Simooni Peetero,
14
akutegeeze ebigambo ebinaakulokola ggwe, n'ab'ennyumba yo bonna.’
15
“Awo bwe natandika okwogera, Mwoyo Mutuukirivu n'abakkako nga bwe yakka ku ffe ku ntandikwa.
16
Awo ne njijukira Mukama kye yagamba nti: ‘Yowanne yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutuukirivu.’
17
Kale oba nga Katonda yawa ab'amawanga amalala abo ekirabo ekyo, nga bwe yakiwa ffe bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nze ani eyandisobodde okuziyiza Katonda?”
18
Bwe baawulira ebyo, ne bakkakkana, ne batendereza Katonda nga bagamba nti: “Ddala n'ab'amawanga amalala Katonda abawadde okwenenya bafune obulamu.”
19
Abakkiriza bwe baasaasaana mu kuyigganyizibwa okwaliwo Siteefano mwe yattirwa, ne batambula, ne batuuka mu Foyinikiya, ne mu Kipuro ne mu Antiyookiya, nga tebayigiriza muntu mulala, wabula Abayudaaya bokka.
20
Kyokka waaliwo abamu ku bo, ab'e Kipuro ne Kireene, bwe baali nga bagenda mu Antiyookiya, ne bayigiriza n'abatali Bayudaaya, ne babategeeza Amawulire Amalungi aga Mukama Yesu.
21
Amaanyi ga Mukama gaali nabo, era abantu bangi ne bakkiriza, ne badda eri Mukama.
22
Ebyo bwe byawulirwa abakkiriza Kristo ab'omu Yerusaalemu, bo ne batuma Barunaba mu Antiyookiya.
23
Bwe yatuukayo, n'alaba nga Katonda bw'akwatiddwa abantu abo ekisa, n'asanyuka. N'abakubiriza bonna bamalirire mu mitima gyabwe okunywerera ku Mukama.
24
Barunaba oyo, yali muntu mulungi, ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu n'okukkiriza. Abantu bangi ne bakkiriza, ne basenga Mukama.
25
Oluvannyuma Barunaba n'agenda e Taruso okunoonya Sawulo.
26
Bwe yamulaba, n'amuleeta mu Antiyookiya. Ne bamala omwaka mulamba nga bali n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo. Ne bayigiriza abantu bangi nnyo. Mu Antiyookiya abayigirizwa mwe baasookera okuyitibwa Abakristo.
27
Mu kiseera ekyo, abalanzi abamu ne bava e Yerusaalemu, ne baserengeta mu Antiyookiya.
28
Omu ku bo, erinnya lye Agabo, Mwoyo Mutuukirivu n'amwogeza, n'alanga nti: “Wajja kubaawo enjala mu nsi yonna.” Enjala eyo yabaawo mu bufuzi bwa Kulawudiyo.
29
Abayigirizwa ne basalawo, buli omu aweeyo nga bw'asobola, baweereze obuyambi eri abooluganda abali mu Buyudaaya.
30
Ekyo ne bakikola, ne batuma Barunaba ne Sawulo batwale obuyambi obwo, babukwase abakulembeze b'ekibiina ky'abakkiriza Kristo.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28