bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 24
Acts 24
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 25 →
1
Bwe waayitawo ennaku ttaano, Ssaabakabona Ananiya n'agenda n'abamu ku bantu abakulu mu ggwanga, ne munnamateeka omu ayitibwa Terutuulo, ne bawawaabira Pawulo eri omufuzi.
2
Bwe yayitibwa, Terutuulo n'atandika okumulumiriza bw'ati: “Oweekitiibwa ennyo Felikisi, obukulembeze bwo obw'amagezi butuleetedde obutebenkevu, era buluŋŋamizza ebintu bingi.
3
Ekyo tukisiima bulijjo era mu buli kifo, nga tukwebaliza ddala nnyo.
4
Naye obutakulwisa nnyo, nkusaba otuwulirize katono olw'ekisa kyo.
5
“Omusajja ono twamuzuula nga muntu wa mutawaana. Ajeemesa Abayudaaya abali mu buli kifo, era ye mukulembeze w'ekibiina kya Banazaareeti.
6
Yagezaako n'okwonoona Essinzizo ne tumukwata, [tumusalire omusango ng'amateeka gaffe bwe gali.
7
Kyokka omukulu w'abaserikale Lusiya n'ajja n'amutuggyako lwa maanyi, n'alagira abamuvunaana okujja gy'oli.]
8
Naawe wennyini bw'onoomubuuza ojja kumanya ebifa ku ebyo byonna bye tumuvunaana.”
9
Abayudaaya nabo ne bamuwagira nti bwe bityo bwe biri.
10
Pawulo, omufuzi bwe yamuwenya okwogera, n'agamba nti: “Ssebo mmanyi ng'omaze emyaka mingi ng'olamula abantu b'eggwanga lino. Njija kuwoza n'obuvumu.
11
“Ggwe wennyini bw'onoobuuza, ojja kuzuula nti ennaku tezinnayita kkumi na bbiri kasookedde nnyambuka e Yerusaalemu okusinza.
12
Tebansanga nga mpakana na muntu n'omu mu Ssinzizo, oba mu kkuŋŋaaniro oba mu kifo ekirala kyonna mu kibuga, nga nsasamaza abantu.
13
Era tebayinza kukuwa bukakafu bw'ebyo bye bannumiriza kaakano.
14
Wabula njatula kino mu maaso go nti nsinza Katonda wa bajjajjaffe, nga ngoberera Ekkubo bo lye bayita ekkyamu. Era nzikiriza ebyo byonna ebiri mu Mateeka ga Musa, n'ebyawandiikibwa abalanzi.
15
Nnina essuubi mu Katonda nabo bennyini lye balina nti abalungi n'ababi balizuukira,
16
kyenva nnyiikira bulijjo okuba n'omwoyo ogutalina musango eri Katonda n'eri abantu.
17
“Bwe waayitawo emyaka mingi, ne ŋŋenda mu Yerusaalemu okutwalira abaavu ab'omu ggwanga lyange eby'okubayamba, n'okuwaayo ebirabo.
18
Bwe nali nga nkola ebyo ne bansanga mu Ssinzizo, nga mmaze okukola omukolo ogw'okutukuzibwa. Saalina kibiina kya bantu, era tewaaliwo luyoogaano. Kyokka waaliwo Abayudaaya abamu abaava mu Asiya,
19
be bandisaanye okuba wano mu maaso go, bannumirize oba nga balina kye banvunaana.
20
Oba bano bennyini abali wano boogere oba nga balina omusango gwe baazuula ku nze bwe nawozesebwa mu lukiiko lwabwe,
21
okuggyako kino ekimu kyokka kye nayogera nga nnyimiridde mu bo nti: ‘Mumpozesa olwaleero, olw'okwogera ku kuzuukira kw'abafu.’ ”
22
Naye kubanga Felikisi yali amanyi eby'Ekkubo eryo, n'ayimiriza omusango ng'agamba nti: “Lukiya omukulu w'abaserikale bw'alijja, ne ndyoka nsala omusango gwammwe.”
23
N'alagira omukulu w'ekibinja ky'abaserikale okukuuma Pawulo nga musibe, wabula ng'alekerwa eddembe era nga tewali mukwano gwe n'omu aziyizibwa kumuweereza.
24
Bwe waayitawo ennaku, Felikisi n'ajja ne Durusila mukazi we Omuyudaaya. N'atumya Pawulo n'amuwuliriza ng'ayogera ku bigambo by'okukkiriza Kristo Yesu.
25
Kyokka Pawulo bwe yali ng'annyonnyola ku butuukirivu ne ku muntu okwefuga, ne ku lunaku Katonda lw'agenda okusalirako omusango, Felikisi n'atya, n'agamba nti: “Kaakano genda, bwe ndifuna ebbanga ndikuyita.”
26
Era muli yali asuubira nti Pawulo anaabaako ky'amuwa. Kyeyavanga amuyita emirundi emingi anyumye naye.
27
Bwe waayitawo emyaka ebiri, Porukiyo Festo n'atwala obukulu bwa Felikisi. Felikisi oyo olw'okwagala asiimibwe Abayudaaya, n'aleka Pawulo nga musibe.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28