bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 20
Acts 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 21 →
1
Akeegugungo bwe kakkakkana, Pawulo n'atumya abakkiriza n'abagumya, n'abasiibula, n'avaayo n'agenda e Makedooniya.
2
Bwe yamala okuyita mu bitundu ebyo, ng'agenda ababuulira ebigambo eby'okubagumya, n'atuuka e Buyonaani,
3
n'amalayo emyezi esatu. Bwe yali ng'anaatera okusaabala okugenda e Siriya, Abayudaaya ne bamusalira olukwe, kyeyava asalawo okuyita e Makedooniya.
4
N'awerekerwako Sopateri mutabani wa Puuro ow'e Beroya, ne Arisitaruuko ne Sekundo ab'e Tessalonika, ne Gaayo ow'e Derube, ne Timoteewo, ne Tukiko ne Turofimo ab'omu Asiya.
5
Abo ne batukulembera ne batulinda mu Turoowa.
6
Ennaku ez'emigaati egitazimbulukusiddwa bwe zaggwa, ne tusaabala okuva e Filippi. Bwe waayitawo ennaku ttaano, ne tubasisinkana mu Turoowa, gye twamala ennaku omusanvu.
7
Awo ku lunaku olwaddirira Sabbaato, bwe twakuŋŋaana okuliira awamu ng'abooluganda Pawulo nga bwe yali ow'okusitula enkeera, n'alwawo ng'ayogera nabo okutuusa ettumbi.
8
Mu kisenge mwe twakuŋŋaanira mwalimu ettaala nnyingi.
9
Pawulo bwe yalwawo ng'ayogera, omulenzi erinnya lye Ewutuuko, eyali atudde mu ddirisa, n'akwatibwa otulo tungi, n'awanuka mu kalina eyookusatu n'agwa wansi, ne bamuggyawo ng'afudde.
10
Pawulo n'akka, n'akutama w'ali n'amuwambaatira, n'agamba nti: “Temweraliikirira, akyalimu obulamu.”
11
Awo n'addayo waggulu, n'amenyaamenyamu omugaati n'alyako, n'ayogera nabo okutuusiza ddala obudde okukya, n'alyoka avaayo.
12
Omulenzi ne bamuggyawo nga mulamu, ne basanyuka nnyo.
13
Ffe ne tusaabala mu lyato, ne tulaga mu Asso gye twali ab'okuggya Pawulo nga bwe yatulagira, kubanga ye yali wa kutuukayo ng'ayita ku lukalu.
14
Bwe yatusisinkana mu Asso, n'asaabala mu lyato ne tugenda e Mituleene.
15
Ne tusaabala ne tuvaayo. Ku lunaku olwaddirira ne tutuuka mu maaso ga Kiyo. Ate olwaddako ne tutuuka e Samo, enkeera ne tutuuka e Mileeto.
16
Pawulo yali ateesezza okuyita mu Efeso, aleme kulwa mu Asiya. Yayagala ayanguwe, Pentekoote bwe kiba kisobose, emusange mu Yerusaalemu.
17
Awo Pawulo bwe yali mu Mileeto, n'atumya mu Efeso, n'ayita abakulu b'ekibiina ky'abakkiriza Kristo bamusisinkane.
18
Bwe bajja, n'abagamba nti: “Mumanyi bulungi nga bwe nabeera nammwe okuviira ddala ku lunaku lwe natuukirako mu Asiya.
19
Naweereza Mukama n'obwetoowaze bwonna, era mumanyi nga bwe nabonaabona ennyo olw'enkwe Abayudaaya ze bansaliranga.
20
Mumanyi nga tewali kya mugaso na kimu kye saababuulira, era kye saabayigiriza mu maaso g'abantu bonna ne mu maka gammwe.
21
Nalabulanga Abayudaaya n'Abayonaani bakyuke okuva mu bibi byabwe, badde eri Katonda, era bakkirize Mukama waffe Yesu.
22
Kaakano ŋŋenda e Yerusaalemu, nga mpalirizibwa mu mwoyo, nga simanyi birimbaako.
23
Wabula Mwoyo Mutuukirivu antegeeza mu buli kibuga nti okusibibwa n'okubonyaabonyezebwa binnindiridde.
24
Naye sifaayo oba mba mulamu oba nfa, ekikulu kwe kutuukiriza omulimu Mukama Yesu gwe yankwasa, ogw'okutegeeza abantu Amawulire Amalungi ag'ekisa kya Katonda.
25
“Kaakano nze mmanyi nga mmwe mwenna, be nayitaayitangamu nga mbategeeza Obwakabaka bwa Katonda, temukyaddayo kundaba.
26
Kyenva mbalumiriza, olwaleero nti bwe walibaawo azikirira, teguliba musango gwange,
27
kubanga saagayaala. Nabategeeza byonna Katonda by'abaagaza.
28
Mwekuume mmwe mwennyini, mukuume n'abantu bonna Mwoyo Mutuukirivu be yabakwasa. Mulabirirenga ekibiina ky'abakkiriza Kristo, Katonda kye yeefunira n'omusaayi ogugwe yennyini.
29
“Mmanyi nti bwe ndivaawo, abantu abali ng'emisege emikambwe baliyingira mu mmwe, ne batasaasira kibiina ky'abakkiriza.
30
Ne mu mmwe mulivaamu abantu abaliyigiriza eby'obulimba, basikirize abayigirizwa okubagoberera.
31
Kale mwekuume, era mujjukire nga bwe namala emyaka esatu, nga siyosa ekiro n'emisana okubuulirira buli omu mu mmwe, nga bwe nkaaba n'amaziga.
32
“Kaakano mbakwasa Katonda abakuume, n'ekigambo ekifa ku kisa kye kibayambenga kibazimbe, era kibafunyise omugabo awamu n'abo bonna abatukuzibwa.
33
Seegombanga ffeeza oba zaabu, wadde kyambalo kya muntu n'omu.
34
Mmwe mumanyi ng'emikono gyange gino, gye gyakolanga ebyo nze n'abo abaabanga nange bye twetaaganga.
35
Ebyo byonna nabikola okubalaga nti bwe tutyo bwe tusaana okukolanga emirimu, tulyoke tuyambenga abateeyinza, nga tujjukira ebigambo bya Mukama Yesu, eyagamba nti: ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ ”
36
Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n'afukamira nabo bonna, ne beegayirira Katonda.
37
Bonna ne bakaaba nnyo amaziga, ne bawambaatira Pawulo, ne bamunywegera.
38
Ekyasinga okubanakuwaza kwe kubagamba nti tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako okumutuusa ku lyato.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28