bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 14
Acts 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 15 →
1
Awo Pawulo ne Barunaba bwe baatuuka mu Yikoniyo, era ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya, ne bayigiriza. Abantu bangi nnyo, Abayudaaya n'Abayonaani, ne bakkiriza.
2
Naye Abayudaaya abamu abaagaana okukkiriza, ne bassa omutima omubi mu b'amawanga amalala okukyawa abakkiriza.
3
Pawulo ne Barunaba ne bamalayo ebbanga ddene nga bayigiriza n'obuvumu ebya Mukama. Era Mukama n'akakasanga bye bayigiriza ku kisa kye, ng'abakozesa ebyewuunyo n'ebyamagero.
4
Abantu b'omu kibuga ne beesalamu, abamu ne babeera ku ludda lw'Abayudaaya, abalala ne babeera ku ludda lw'abatume.
5
Awo ab'amawanga amalala n'Abayudaaya awamu n'abakulu baabwe, ne beekoba okulumba abatume, n'okubakuba amayinja.
6
Bo bwe baakitegeera, ne baddukira mu Lisitura ne Derube, ebibuga by'e Likawooniya, ne mu bitundu ebibiriraanye.
7
Ne babeera eyo nga bategeeza abantu Amawulire Amalungi.
8
Mu Lisitura mwalimu omusajja omugongobavu w'ebigere, nga mulema okuva lwe yazaalibwa, era nga tatambulangako. Yali atudde awo,
9
n'awulira Pawulo by'ayogera. Pawulo bwe yamutunuulira n'alaba ng'akkiriza ng'ayinza okuwonyezebwa.
10
Pawulo n'akangula ku ddoboozi n'agamba nti: “Situka oyimirire.” N'asituka mangu, n'atambula.
11
Awo ekibiina ky'abantu bwe kyalaba Pawulo ky'akoze, ne kireekaana n'eddoboozi ery'omwanguka mu lulimi Olulikoniyo nga kigamba nti: “Balubaale basse gye tuli nga bafaanana ng'abantu!”
12
Barunaba ne bamuyita Zeewo, Pawulo ne bamuyita Erume, kubanga ye yayogera.
13
Awo kabona wa Zeewo, eyalina essabo mu maaso g'ekibuga, n'aleeta ku nzigi z'ekibuga ente n'ebimuli eby'okubambika, ng'ayagala abantu bonna bamwegatteko okutambira.
14
Kyokka abatume Barunaba ne Pawulo bwe baawulira ekyo, ne bayuza ebyambalo byabwe olw'okukiwakanya, ne bafubutuka nga balaga mu bantu, nga bwe baleekaana nti:
15
“Bannaffe, lwaki mukola ebyo? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe, ababaleetedde Amawulire Amalungi, mulyoke muleke ebyo ebitagasa, mudde eri Katonda Nnannyinibulamu, eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja, ne byonna ebibirimu.
16
“Mu mirembe egyayita, Katonda yaleka abantu bonna ne bayisa nga bwe baayagalanga.
17
Kyokka teyeekweka. Bulijjo yeeyolekeranga mu birungi by'akola, gamba abatonnyeseza enkuba, abaza ebibala byammwe mu biseera byabyo, abawa emmere, era ajjuza emitima gyammwe essanyu.”
18
Newaakubadde baayogera ebyo, era kata balemwe okuziyiza abantu okubatambirira.
19
Awo Abayudaaya abamu ne bava e Lisitura ne Yikoniyo, ne bafukuutirira abantu, ne bakuba Pawulo amayinja. Ne bamuwalula, ne bamufulumya ebweru w'ekibuga, nga balowooza nti afudde.
20
Kyokka abayigirizwa bwe baamwetooloola, n'asituka, n'ayingira mu kibuga. Olunaku olwaddirira, Pawulo ne Barunaba ne balaga e Derube.
21
Pawulo ne Barunaba ne bategeeza abantu mu Derube Amawulire Amalungi, ne bafuna abayigirizwa bangi. Olwo ne baddayo mu Lisitura ne mu Yikoniyo, ne mu Antiyookiya eky'e Pisidiya,
22
nga banyweza emyoyo gy'abayigirizwa, era nga babakuutira banyweze okukkiriza kwabwe. Ne babagamba nti: “Tuteekwa okuyita mu bizibu bingi okuyingira Obwakabaka bwa Katonda.”
23
Bwe baamala okuteeka abakulembeze mu buli kibiina ky'abakkiriza Kristo, n'okusinza Katonda era nga bwe basiiba, ne babakwasa Mukama gwe bakkiriza.
24
Ne bayita mu Pisidiya, ne batuuka mu Panfiliya.
25
Ne bategeeza abantu ekigambo kya Katonda mu Peruga, ne baserengeta mu Ataliya.
26
Bwe baavaayo, ne basaabala ne baddayo mu Antiyookiya, mu kusooka bannaabwe gye baabakwasiza Katonda abayambe, bwe baali nga bagenda okutandika omulimu guno, gwe baali baakamaliriza.
27
Bwe baatuukayo, ne bakuŋŋaanya ekibiina ky'abakkiriza Kristo, ne babategeeza byonna Katonda bye yabakozesa, era nga bw'asobozesezza ab'amawanga amalala okukkiriza.
28
Ne bamalayo ebbanga ddene nga bali n'abayigirizwa.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28