bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 6
Acts 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 7 →
1
Awo mu nnaku ezo, abayigirizwa bwe beeyongera obungi, Abayudaaya aboogera Oluyonaani ne beemulugunyiza bannaabwe aboogera Olwebureeyi, kubanga bannamwandu baabwe tebaaweebwanga bulungi bintu ebyagabibwanga buli lunaku.
2
Awo abatume ekkumi n'ababiri ne bayita abayigirizwa bonna, ne babagamba nti: “Tekisaana ffe okuleka okuyigiriza ekigambo kya Katonda, ne tudda mu kugabanya ebintu.
3
Kale abooluganda, mulonde mu mmwe abasajja musanvu be musiima, abajjudde Mwoyo Mutuukirivu n'amagezi, be tuba tukwasa omulimu ogwo.
4
Naye ffe tujja kwemalira ku kusinza Katonda na kuyigiriza kigambo kye.”
5
Kye baayogera ne kisanyusa ekibiina kyonna. Ne balonda Siteefano omusajja ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, ne Filipo, ne Purokoro, ne Nikanori, ne Timoone, ne Parumena, ne Nikolaawo ow'e Antiyookiya, eyali asomye Ekiyudaaya.
6
Ne babaleeta, ne babateeka mu maaso g'abatume, ne beegayirira Katonda, era ne babateekako emikono gyabwe.
7
Awo ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okubuna. Mu Yerusaalemu omuwendo gw'abayigirizwa ne gugenda nga gweyongera, ne bakabona bangi ne bafuuka abagoberezi ba Yesu.
8
Awo Siteefano ng'ajjudde amaanyi n'ekisa Katonda kye yamukwatirwa, n'akola ebyamagero n'ebyewuunyo bingi mu bantu.
9
Kyokka abantu abamu ab'ekkuŋŋaaniro eriyitibwa ery'Abanunule, abaava mu Kireene, ne mu Alekisanderiya, n'abalala abaava mu Kilikiya ne mu Asiya, ne bawakana naye.
10
Kyokka ne batamusobola, olw'amagezi ge yayogeza, nga gamuweebwa Mwoyo Mutuukirivu.
11
Awo ne bafukuutirira abantu bagambe nti: “Twamuwulira ng'ayogera ebigambo eby'okuvuma Musa ne Katonda.”
12
Mu ngeri eyo ne batabangula abantu abakulu mu ggwanga, n'abannyonnyozi b'amateeka era n'abantu abalala. Ne bajja eri Siteefano, ne bamukwata, ne bamuleeta mu lukiiko.
13
Ne baleeta abajulizi ab'obulimba abaagamba nti: “Omuntu ono bulijjo ayogera ebigambo ebivuma ekifo kino ekitukuvu era n'amateeka ga Musa,
14
kubanga twamuwulira ng'agamba nti Yesu Omunazaareeti ajja kuzikiriza ekifo kino, akyuse n'empisa Musa ze yatuwa.”
15
Bonna abaali mu lukiiko ne bamutunuulira, ne balaba amaaso ge nga gali ng'aga malayika.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28