bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 12
Acts 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 13 →
1
Mu kiseera ekyo, kabaka Herode n'atandika okuyigganya abamu ku b'ekibiina ky'abakkiriza Kristo.
2
N'atta n'ekitala Yakobo muganda wa Yowanne.
3
Bwe yalaba ng'Abayudaaya bakisiimye, ne yeeyongera n'akwata ne Peetero. Ekyo kyabaawo mu biseera by'Embaga Eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa.
4
Bwe yamala okumukwata n'amuteeka mu kkomera, n'amukwasa abaserikale kkumi na mukaaga, bamukuume bana bana, ng'ayagala okumuleeta mu maaso g'abantu, ng'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako ewedde.
5
Bw'atyo Peetero n'akuumirwa mu kkomera. Ekibiina ky'abakkiriza Kristo ne kinyiikira okumusabira eri Katonda.
6
Mu kiro ekyakeesa olunaku Herode lwe yali ateeseteese okutwalirako Peetero eri ekibiina ky'abantu, Peetero yali yeebase wakati w'abaserikale babiri, ng'asibiddwa n'enjegere bbiri, era nga n'abakuumi bali ku luggi bakuuma ekkomera,
7
malayika wa Mukama n'ayimirira w'ali, ekitangaala ne kibuna akasenge konna. Malayika n'akuba ku Peetero mu mbiriizi, n'amuzuukusa ng'agamba nti: “Golokoka mangu!” Awo enjegere ne ziva ku mikono gya Peetero ne zigwa.
8
Malayika n'amugamba nti: “Weesibe olukoba lwo era oyambale engatto zo.” N'akola bw'atyo. Era n'amugamba nti: “Suulira omunagiro gwo, ongoberere.”
9
Peetero n'afuluma, n'agoberera malayika. Kyokka n'atamanya nti malayika by'akola by'ebyo ddala. Yalowooza nti aloota buloosi.
10
Bwe baayita ku bakuumi abasooka, ne ku bookubiri, ne batuuka ku luggi olw'ekyuma, oluyingira mu kibuga. Ne lubeggulirawo lwokka, ne bafuluma, ne batuuka mu luguudo. Ne batambulako akabanga, malayika n'amulekawo.
11
Awo Peetero bwe yategeera ebibaddewo, n'agamba nti: “Kaakano ntegedde nga Mukama atumye malayika we, n'anzigya mu mikono gya Herode, era n'amponya ebyo byonna Abayudaaya bye babadde basuubira okunkolako.”
12
Peetero ng'akyalowooza ku ekyo, n'agenda ku nnyumba ya Mariya, nnyina wa Yowanne Mariko, abantu bangi gye baali bakuŋŋaanidde nga beegayirira Katonda.
13
Peetero bwe yakonkona ku luggi olw'emiryango, omuwala omuweereza erinnya lye Rooda, n'ajja alabe akonkona.
14
Olwategeera ng'eddoboozi lya Peetero, yenna n'ajjula essanyu, n'adduka n'addayo nga n'oluggi taluggudde, n'agamba nti: “Peetero ayimiridde wabweru ku luggi.”
15
Bo ne bamugamba nti: “Olaluse?” Ye n'akakasa nti ky'agamba kya mazima. Ne bagamba nti: “Oyo malayika we.”
16
Kyokka Peetero ne yeeyongera okukonkona. Bwe baggulawo ne bamulaba, ne basamaalirira.
17
Ye n'abawenya n'omukono basirike, n'ababuulira nga Mukama bw'amuggye mu kkomera. Era n'abagamba nti: “Bino mubibuulire Yakobo n'abooluganda abalala.” N'avaayo, n'agenda awantu awalala.
18
Awo bwe bwakya enkya, ne wabaawo akeetalo ka maanyi mu baserikale, nga beebuuzaganya Peetero gy'alaze.
19
Herode bwe yamunoonya n'atamulaba, n'awozesa abakuumi, n'alagira battibwe. Awo n'ava mu Buyudaaya, n'aserengeta e Kayisaariya n'abeera eyo.
20
Awo Herode n'asunguwalira abantu ab'e Tiiro ne Sidoni. Naye bo ne beetaba wamu ne bajja bamulabe. Ne bawooyawooya Bulasto eyakuumanga olubiri lwe, ne basaba Kabaka Herode emirembe, kubanga ensi ye, ye yaliisanga eyaabwe.
21
Awo ku lunaku olwali olulagaanye, Herode n'ayambala ebyambalo bye eby'obwakabaka, n'atuula ku ntebe ey'obwakabaka, n'ayogera gye bali.
22
Abantu ne bamuwaana nga bagamba nti: “Si muntu ye ayogera wabula Katonda ye ayogera!”
23
Amangwago malayika wa Mukama n'akuba Herode, kubanga tawadde Katonda kitiibwa. N'aliibwa envunyu, n'afa.
24
Naye ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okunywera n'okubuna mu bantu.
25
Awo Barunaba ne Sawulo bwe baamaliriza omulimu gwabwe, ne bava e Yerusaalemu, ne baddayo nga bali ne Yowanne Mariko.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28