bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 18
Acts 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 19 →
1
Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n'ava mu Ateene, n'agenda e Korinto.
2
N'asangayo Omuyudaaya erinnya lye Akwila, enzaalwa y'omu Ponto, ne mukazi we Prisikila. Baali kye bajje bave mu Yitaliya, kubanga Kulawudiyo yali alagidde Abayudaaya bonna bave mu Rooma. Pawulo n'agenda gye bali,
3
n'abeera nabo, era n'akola nabo, kubanga bonna baalina omulimu gwe gumu, ogw'okukola eweema.
4
Buli Sabbaato Pawulo n'awaanyisaganyizanga ebirowoozo mu kkuŋŋaaniro, ng'agezaako okukkirizisa Abayudaaya n'Abayonaani.
5
Siila ne Timoteewo bwe baatuuka nga bava mu Makedooniya, Pawulo ne yeemalira ku kutegeeza abantu ekigambo kya Katonda, ng'ategeeza Abayudaaya nti Yesu ye Kristo.
6
Bwe baamukaayanya era ne bamuvuma, n'akunkumula engoye ze n'abagamba nti: “Bwe mulizikirira, musango gwammwe. Nze siriiko musango. Okuva kati nja kugenda eri ab'amawanga amalala.”
7
N'avaayo, n'alaga mu nnyumba y'omuntu erinnya lye Tito Yusto, assaamu Katonda ekitiibwa. Ennyumba ye yali eriraanye ekkuŋŋaaniro.
8
Krispo omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bakkiriza Mukama. Era ab'e Korinto bangi abaawulira, ne bakkiriza ne babatizibwa.
9
Awo Mukama n'alabikira Pawulo ekiro, n'amugamba nti: “Totya, weeyongere okwogera, tosirika.
10
Nze ndi wamu naawe. Tewali ajja kukukola kabi, kubanga nnina abantu bangi mu kibuga muno.”
11
Awo Pawulo n'amalayo omwaka mulamba n'ekitundu ng'ayigiriza abantu ekigambo kya Katonda.
12
Galiyo bwe yali nga ye afuga Akaya, Abayudaaya ne beekoba, ne bakwata Pawulo ne bamutwala mu mbuga,
13
ne bagamba nti: “Omusajja ono asendasenda abantu okusinza Katonda mu ngeri emenya amateeka.”
14
Kyokka Pawulo yali agenda okwogera, Galiyo n'agamba Abayudaaya nti: “Singa wabaddewo ekisobyo oba omusango omunene, nandisobodde okubawuliriza mmwe Abayudaaya,
15
naye oba ng'ebyebuuzibwa bifa ku bigambo, ne ku mannya, ne ku mateeka gammwe, mmwe mubikoleko, nze sijja kubiyingiramu.”
16
N'abagoba awasalirwa emisango.
17
Awo bonna ne bakwata Sositene, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, ne bamukubira awasalirwa emisango. Era Galiyo n'atafaayo.
18
Pawulo n'amala ennaku nnyingi mu Korinto. Oluvannyuma n'asiibula abooluganda, n'asaabala ne Prisikila ne Akwila, ne bagenda e Siriya. Bwe yali mu Kenkereya, n'amwako enviiri ze, nga bwe yali yeeyamye.
19
Bwe baatuuka mu Efeso, bo n'abalekayo, ye n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, n'akubaganya ebirowoozo n'Abayudaaya.
20
Bwe baamusaba ayongere okubeera nabo, n'atakkiriza.
21
N'abasiibula, n'abagamba nti: “Katonda bw'alyagala, ndikomawo gye muli.” N'asaabala, n'ava mu Efeso.
22
Bwe yatuuka e Kayisaariya, n'ayambuka n'alamusa ekibiina ky'abakkiriza Kristo, n'alyoka aserengeta mu Antiyookiya.
23
Bwe yamalayo akabanga, n'avaayo n'agenda ng'ayitaayita mu Galatiya ne mu Furigiya, ng'anyweza abakkiriza bonna.
24
Awo Omuyudaaya, erinnya lye Apollo, enzaalwa y'omu Alekisanderiya, n'ajja mu Efeso. Yali mwogezi mulungi, era ng'amanyi nnyo ebyawandiikibwa.
25
Yali ayigiriziddwa Ekkubo lya Mukama, era yeewangayo nnyo okwogera n'okuyigiriza obulungi ebifa ku Yesu, wabula ng'amanyi kubatiza kwa Yowanne kwokka.
26
Awo Prisikila ne Akwila bwe baamuwulira ng'ayogera n'obuvumu mu kkuŋŋaaniro, ne bamutwala ne bongera okumunnyonnyola obulungi Ekkubo lya Katonda.
27
Apollo bwe yayagala okugenda mu Akaya, Abooluganda ne bamugumya, ne bawandiikira abayigirizwa baayo bamwanirize. Bwe yatuukayo, n'ayamba nnyo abo Katonda be yakwatirwa ekisa ne bafuna okukkiriza,
28
kubanga yawakanyanga nnyo Abayudaaya, n'abasingira mu maaso g'abantu, ng'ajuliza mu byawandiikibwa, okukakasa nti Yesu ye Kristo.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28