bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 28
Acts 28
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
1
Bwe twamala okuwona, ne tutegeera ng'ekizinga ekyo kiyitibwa Malita.
2
Bannansi baakwo baatukwatirwa ekisa ekitali kya bulijjo, kubanga enkuba yali etandise okutonnya, nga n'obudde bwa butiti, ne batukumira omuliro, ne batwaniriza ffenna.
3
Pawulo bwe yakuŋŋaanya omuganda gw'obuku n'agussa mu muliro, omusota ogw'obusagwa ne guvaamu olw'ebbugumu, ne gumwerippa ku mukono.
4
Bannansi bwe baalaba ng'omusota guleebeetera ku mukono gwe, ne bagambagana nti: “Mazima omuntu ono mutemu. Newaakubadde awonye ennyanja, omuwoolezi w'eggwanga tamuganya kubeera mulamu.”
5
Kyokka Pawulo, omusota n'agukunkumulira mu muliro, n'atabaako kabi.
6
Bannansi ne balinda, nga balowooza nti anaazimba oba nti ajja kugwa awo afiirewo. Bwe baalwawo ennyo nga bamutunuulira, ne batalaba kabi kamubaddeko, ne beefukulula, ne bagamba nti: “Ono lubaale.”
7
Okumpi n'ekifo ekyo, waaliwo ebyalo by'omusajja omwami w'ekizinga ekyo, erinnya lye Pubuliyo, eyatwaniriza n'atukyaza ewuwe okumala ennaku ssatu.
8
Awo olwatuuka, kitaawe n'akwatibwa omusujja n'ekiddukano eky'omusaayi. Pawulo n'ayingira gy'ali n'amusabira. Bwe yamussaako emikono, n'amuwonya.
9
Ekyo bwe kyakolebwa, abantu abalala abaali ku kizinga ekyo nga balwadde, nabo ne bajja ne bawonyezebwa.
10
Ne batuwa ekitiibwa kinene. Bwe twatuusa okusaabala okuvaayo ne batuleetera byonna bye twali twetaaga mu lugendo.
11
Bwe waayitawo emyezi esatu, ne tusaabala mu lyato ery'e Alekisanderiya, eryali limaze ebiseera eby'obutiti ku kizinga ekyo. Eryato eryo lyaliko ekifaananyi ky'Abalongo.
12
Ne tugoba ku Sirakuusa, ne tumalayo ennaku ssatu.
13
Bwe twavaayo, ne tugenda nga tubalama, ne tutuuka e Reegiyo. Bwe twamalayo olunaku lumu, empewo ey'ebukiikakkono n'ejja. Ku lunaku olwokubiri ne tutuuka e Putewoli.
14
Eyo twasangayo abooluganda, ne batuyita ne tumala nabo ennaku musanvu. Oluvannyuma ne tugenda e Rooma.
15
Abooluganda ab'omu Rooma bwe baawulira, ne bajja ku katale ka Apiyo ne ku Bisulo Ebisatu okutusisinkana. Pawulo bwe yabalaba, ne yeebaza Katonda, era n'aguma omwoyo.
16
Bwe twatuuka mu Rooma, Pawulo n'akkirizibwa okubeera yekka, ng'alina omuserikale amukuuma.
17
Bwe waayitawo ennaku ssatu, Pawulo n'ayita abakulu b'Abayudaaya abaali mu Rooma bakuŋŋaane. Bwe baakuŋŋaana, n'abagamba nti. “Abooluganda, newaakubadde nga sirina kibi kye nakola ggwanga lyaffe, wadde okusobya empisa ze twafuna okuva ku bajjajjaffe, nasibibwa ne mpeebwayo mu mikono gy'Abarooma mu Yerusaalemu.
18
Bwe bampozesa, ne baagala okunta, kubanga baazuula nga sikolanga kintu na kimu ekinsaanyiza okuttibwa.
19
Kyokka Abayudaaya bwe baakiwakanya, ne mpalirizibwa okujulira eri Kayisaari, newaakubadde nga saalina kye nvunaana ggwanga lyange.
20
Kale olw'ensonga eyo, mbayise mbalabe era njogereko nammwe, kubanga nsibiddwa mu njegere zino, olw'oyo abantu ba Yisirayeli gwe basuubira.”
21
Bo ne bamugamba nti: “Tetufunanga bbaluwa n'emu kuva Buyudaaya ekwogerako, wadde omu ku booluganda okujja okutubuulira, oba okwogera ekibi ku ggwe.
22
Naye twandyagadde okumanya ggwe by'olowooza, kubanga tumanyi nti buli wantu ekibiina ekyo bakiwakanya.”
23
Ne bamulagaanya olunaku olulala, era ku olwo ne bajja bangi mu nnyumba mwe yasulanga. N'abannyonnyola ng'abategeeza eby'Obwakabaka bwa Katonda, era n'anyiikira okubakkirizisa Yesu ng'ajuliza eby'omu Mateeka agaaweebwa Musa, n'ebyawandiikibwa abalanzi. Ekyo yakikola okuva enkya okutuusa akawungeezi.
24
Abamu ne bakkiriza olw'ebyo bye yayogera, kyokka abalala ne batakkiriza.
25
Ne balemwa okukkiriziganya, ne baabuka nga Pawulo amaze okubagamba kino nti: “Mwoyo Mutuukirivu yali mutuufu bwe yagamba bajjajjammwe ng'ayita mu mulanzi Yisaaya eyagamba nti:
26
‘Genda eri abantu abo obagambe nti: Weewaawo muliwulira, naye temulitegeera. Weewaawo mulitunula, naye temulyetegereza.
27
Omutima gw'abantu bano gugubye, n'amatu gaabwe gazibikidde, n'amaaso gaabwe bagazibirizza, sikulwa nga balaba n'amaaso, nga bawulira n'amatu, nga bategeera n'omutima, ne bakyuka, ne mbawonya.’
28
“Kale mutegeere nti obulokozi bwa Katonda buno buweerezeddwa eri ab'amawanga amalala. Bo baliwuliriza.” [
29
Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka.]
30
Pawulo n'amala emyaka ebiri miramba ng'ali mu nnyumba gye yapangisa, n'ayanirizanga bonna abajjanga gy'ali.
31
N'abategeezanga eby'Obwakabaka bwa Katonda, era n'abayigirizanga ebifa ku Mukama waffe Yesu Kristo, ng'ayogera n'obuvumu era nga tewali amuziyiza.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28