bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 2
Acts 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 3 →
1
Awo olunaku olwa Pentekoote ne lutuuka. Ku olwo, abakkiriza bonna baali bakuŋŋaanidde mu kifo kimu.
2
Amangwago ne wabaawo okuwuuma okwava mu ggulu, nga kuli ng'okuwuuma kw'empewo ey'amaanyi ennyo, ne kujjula ennyumba yonna mwe baali batudde.
3
Awo ne balaba ennimi eziri ng'ez'omuliro, nga zeeyawuddemu, buli lulimi ne lubeera ku buli omu ku bo.
4
Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, era ne batandika okwogera mu nnimi eza buli ngeri, nga Mwoyo Mutuukirivu bwe yaziboogeza.
5
Mu Yerusaalemu mwalimu Abayudaaya, abasajja abajjumbira eddiini, abaali bavudde mu buli kitundu kya nsi.
6
Bwe baawulira okuwuuma okwo, ne bakuŋŋaana bangi, ne basamaalirira, kubanga buli omu yawulira abakkiriza Kristo nga boogera mu lulimi lwe.
7
Ne bawuniikirira, ne beewuunya nga bagamba nti: “Abantu bano bonna aboogera si Bayudaaya?
8
Kale lwaki ffe ffenna tubawulira nga boogera mu nnimi z'ewaffe gye twazaalirwa?
9
Tuva mu Paruti, Mediya ne Elamu; mu Mesopotaamiya, Buyudaaya, ne mu Kapadookiya; mu Ponto ne mu Asiya;
10
mu Furigiya ne mu Panfiliya; mu Misiri ne mu bitundu ebya Libiya okumpi ne Kireene. Abamu tuva Rooma,
11
nga tuli Bayudaaya, awamu n'ab'amawanga amalala abasoma Ekiyudaaya. Era abalala bava mu Kureete ne mu Buwarabu. Kyokka ffenna tubawulira nga boogera mu nnimi zaffe, eby'amaanyi Katonda by'akoze!”
12
Bonna nga basamaaliridde era nga basobeddwa, ne beebuuzaganya nga bagamba nti: “Kiki kino?”
13
Naye abamu ne beesekera, ne bagamba nti: “Batamidde mwenge musu!”
14
Awo Peetero ng'ali n'abatume abalala ekkumi n'omu, n'ayimirira, n'akangula ku ddoboozi, n'agamba nti: “Bayudaaya bannange, nammwe mwenna ababeera mu Yerusaalemu, muwulirize, mutegeere bye ŋŋenda okwogera.
15
Abantu bano tebatamidde, nga mmwe bwe mulowooza, kubanga kati essaawa zikyali ssatu ez'oku makya.
16
Wabula kino ky'ekyo omulanzi Yoweeli kye yayogera nti:
17
‘Katonda agamba nti: Mu nnaku ez'oluvannyuma, ndigabira abantu bonna Mwoyo wange. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliranga ebirijja. Abavubuka bammwe balirabikirwa, n'abakadde mu mmwe baliroota ebirooto.
18
Kya mazima, mu nnaku ezo, abaddu bange n'abazaana bange ndibagabira Mwoyo wange, ne balanga ebirijja.
19
Ndikola ebyamagero ku ggulu, n'ebyewuunyisa ku nsi. Walibaawo omusaayi n'omuliro, n'omukka ogukutte.
20
Enjuba eribikkibwa ekizikiza, n'omwezi gulimyuka ng'omusaayi. Ebyo bye birikulembera olunaku lwa Mukama olukulu era olwekitiibwa.
21
Era buli alikoowoola Mukama, alirokolebwa.’
22
“Abayisirayeli, muwulire ebigambo bino. Yesu Omunazaareeti ye musajja Katonda gwe yakakasa nti ye yamutuma. Kino kyalabikira mu by'amaanyi n'ebyamagero n'ebyewuunyo, Katonda bye yamukozesa mu mmwe, nga nammwe bwe mumanyi.
23
Yesu oyo yaweebwayo, nga Katonda bwe yali amaze okuteesa n'okumanya, ne mumukwasa abantu ababi okumukomerera ku musaalaba, ne mumutta.
24
Kyokka Katonda yamuzuukiza, n'amuggya mu bulumi bw'okufa, kubanga okufa kwali nga tekuyinza kumunywereza ddala.
25
Dawudi yamwogerako nti: ‘Nalaba Mukama ng'ali nange bulijjo; ng'ali kumpi nange nneme okusagaasagana.
26
Omutima gwange kyeguva gusanyuka, n'ebigambo byange ne bijjula essanyu. Era nze wadde ndi wa kufa, nja kusigala nga nnina essuubi:
27
kubanga tolireka mwoyo gwange magombe, era toliganya mutukuvu wo kuvunda.
28
Wandaga amakubo agatuuka mu bulamu. Olinzijuza essanyu kubanga oli nange.’
29
“Abooluganda, nnyinza okubategeeza ebifa ku jjajjaffe omukulu Dawudi nga sirina kutya. Dawudi oyo yafa n'aziikibwa, n'amasiro ge gali wano ewaffe n'okutuusa kati.
30
Dawudi yali mulanzi, era yamanya Katonda kye yamusuubiza ng'alayira n'okulayira nti omu ku bazzukulu be, alisikira entebe ey'obwakabaka bwe.
31
Era yamanya ebiribaawo, n'ayogera ku kuzuukira kwa Kristo, ng'agamba nti: ‘Teyalekebwa magombe, era n'omubiri gwe tegwavunda.’
32
“Yesu oyo, Katonda yamuzuukiza, era ffe tukakasa okuzuukira kwe.
33
Bwe yamala okulinnyisibwa n'aliraana Katonda ku ludda lwe olwa ddyo, era n'afuna Mwoyo Mutuukirivu eyamusuubizibwa Katonda Kitaawe, n'alyoka agaba ekirabo kye kino, kye mulabye era kye muwulira.
34
Dawudi teyalinnya mu ggulu, sso ye yennyini yagamba nti: ‘Katonda yagamba Mukama wange nti: Tuula ng'onninaanye ku ludda lwange olwa ddyo,
35
okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ekirinnyibwako ebigere byo.’
36
“Kale nno, abantu ba Yisirayeli bonna bamanye awatali kubuusabuusa, nti Yesu oyo gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo.”
37
Awo bwe baawulira ebyo, ne beeraliikirira nnyo, ne bagamba Peetero n'abatume abalala nti: “Abooluganda, tukole ki?”
38
Peetero n'abagamba nti: “Mwenenye, era buli omu mu mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo, mulyoke musonyiyibwe ebibi byammwe, era munaafuna ekirabo, ye Mwoyo Mutuukirivu,
39
kubanga kino Katonda yakibasuubiza mmwe, n'abaana bammwe, era n'abo bonna abali ewala, bonna Mukama Katonda waffe b'aliyita.”
40
Era Peetero n'ayongera okubategeeza mu bigambo ebirala bingi, n'abagamba nti: “Mulokolebwe, mwewonye ekibonerezo ekigenda okuweebwa ab'omulembe guno omubi.”
41
Awo abakkiriza ebigambo bye, ne babatizibwa. Ku lunaku olwo, omuwendo gw'abakkiriza ne gweyongerako abantu ng'enkumi ssatu.
42
Ne banyiikiriranga okuyigirizibwa abatume, n'okwetaba mu nkuŋŋaana ez'okutabagana, n'okuliira awamu ng'abooluganda, era n'okusinza Katonda.
43
Ebyamagero bingi n'ebyewuunyo ne bikolebwanga abatume, abantu bonna ne beewuunya.
44
Bonna abakkiriza baabanga wamu, era nga bassa kimu mu byonna.
45
Baatundanga ebyabwe, ensimbi ze baggyangamu ne bazigabiranga bonna, nga buli muntu bwe yeetaaganga.
46
Baanyiikiranga okukuŋŋaanira mu Ssinzizo buli lunaku. Era mu maka gaabwe baaliirangamu emmere yaabwe nga bajjudde essanyu n'okukkaanya,
47
nga batendereza Katonda, era nga basiimibwa abantu bonna. Buli lunaku Mukama yabongerangako abo abaalokolebwanga.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28