bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 17
Acts 17
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 18 →
1
Ne batambula, ne bayita mu Anfipoli ne mu Apolooniya, ne batuuka e Tessalonika, eyali ekkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya.
2
Pawulo n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, nga bwe yakolanga bulijjo. Ku Sabbaato essatu ezaddiriŋŋana n'awaanyisaganyanga ebirowoozo n'abantu, nga bw'ajuliza mu byawandiikibwa.
3
N'annyonnyola era n'alaga nti: “Kristo yali ateekwa okubonaabona n'okuzuukira.” Era nti: “Yesu oyo gwe mbategeeza, ye Kristo.”
4
Abamu ku bo ne bakkiriza, ne beegatta ku Pawulo ne Siila. N'Abayonaani bangi abassaamu Katonda ekitiibwa, n'abakazi abeekitiibwa bangi, nabo ne babeegattako.
5
Kyokka Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne bafuna abantu ababi abaali mu katale, ne beekuŋŋaanya, ne basasamaza ekibuga. Ne balumba ennyumba ya Yasoni nga banoonya Pawulo ne Siila, babaleete mu lukiiko lw'ekibuga.
6
Bwe bataabasangamu, kwe kuwalaawala Yasoni n'abamu ku booluganda, ne babatwala eri abalamuzi, nga bwe baleekaana nti: “Abantu bano abaleeta emitawaana buli wantu, bazze ne wano,
7
era Yasoni ye abasuza. Bonna bajeemera amateeka ga Kayisaari nga bagamba nti: ‘Waliwo kabaka omulala ayitibwa Yesu.’ ”
8
Ekibiina ky'abantu kyonna awamu n'abakulu b'ekibuga bwe baawulira ebyo, ne basasamala.
9
Yasoni ne banne bwe baamala okweyimirirwa, ne bateebwa.
10
Obudde bwe bwaziba, abooluganda ne basindika Pawulo ne Siila e Beroya. Bwe baatuuka eyo, ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya.
11
Abantu baayo baali balungi okusinga ab'e Tessalonika, kubanga baayanguwa okukkiriza ekigambo kya Katonda, nga buli lunaku beekenneenya ebyawandiikibwa, okulaba oba nga Pawulo ne Siila bye boogera bituufu.
12
N'olwekyo bangi ku bo ne bakkiriza, n'Abayonaani bangi abakazi abeekitiibwa n'abasajja, nabo ne bakkiriza.
13
Awo Abayudaaya ab'e Tessalonika bwe baawulira nga Pawulo ategeezezza abantu ekigambo kya Katonda ne mu Beroya, ne bajjayo, ne bajagalaza era ne basasamaza abantu baayo.
14
Amangwago abooluganda kwe kuweereza Pawulo ku lubalama, kyokka Siila ne Timoteewo bo ne basigala mu Beroya.
15
Abo abaawerekera Pawulo ne bamutuusa mu Ateene. Pawulo bwe yamala okubalagira nga Siila ne Timoteewo bwe basaana okujja gy'ali amangu, ne baddayo.
16
Awo Pawulo bwe yali mu Ateene ng'alindirira Siila ne Timoteewo, n'alaba ng'ekibuga kijjudde ebifaananyi bya balubaale, n'alumwa mu myoyo.
17
N'awaanyisaganyanga ebirowoozo mu kkuŋŋaaniro n'Abayudaaya n'ab'amawanga amalala abassaamu Katonda ekitiibwa. Era buli lunaku n'akolanga bw'atyo n'abantu abaabanga mu katale.
18
Awo bakalimagezi abamu, abayitibwa Abeepikuro n'Abasitoyiki ne bawakananga naye. Abamu ne bagamba nti: “Ayagala kwogera ki ono ataliiko ky'amanyi?” Abalala ne bagamba nti: “Afaanana ng'ayigiriza ku balubaale abaggya.” Kyebaava boogera batyo, kubanga yali ayigiriza ku Yesu ne ku kuzuukira.
19
Awo ne bamuyita n'ajja mu Arewopaago olukiiko olukulu, ne bagamba nti: “Oyinza okutubuulira ku kuyigiriza kuno okuggya kw'oyogerako?
20
Ebimu ku ebyo by'oyogera, tetubiwulirangako. Twagala tubitegeere.”
21
(Ab'e Ateene n'abagenyi abaabangamu, tebaakolanga kintu kirala, wabula okwogera oba okuwuliriza ebirowoozo ebiggya.)
22
Awo Pawulo n'ayimirira mu Arewopaago, n'agamba nti: “Mmwe abasajja ab'e Ateene, ndaba nti mujjumbira nnyo eddiini,
23
kubanga bwe mbadde mpitaayita mu kibuga kyammwe, ne ndaba bye musinza era ne nsanga ekifo ky'ebitambiro awawandiikiddwako nti: ‘KYA LUBAALE ATAMANYIDDWA.’ Oyo gwe musinza nga temumumanyi, ye wuuyo nze gwe mbabuulira.
24
“Ye Katonda eyakola ensi ne byonna ebigirimu, ye Mukama w'eggulu n'ensi, era tabeera mu masabo gazimbiddwa bantu.
25
Era taliiko kye yeetaaga bantu kumuweereza, kubanga ye, ye abawa obulamu, n'okussa omukka, era ye abawa buli kintu.
26
Yasooka kutonda muntu omu, mu oyo ne muvaamu abantu bonna ababunye ensi. Yamala kubateerawo biseera na nsalo ez'ebifo mwe banaabeeranga,
27
balyoke bamunoonyenga, bawammante, nga basuubira okumulaba. Sso nno tali wala wa buli omu ku ffe,
28
kubanga ‘Ku bubwe tuba balamu, tutambula, tubeerawo.’ Era ng'abamu ku bayiiya bammwe bwe bagamba: ‘Tuli zzadde lye.’
29
Kale nga bwe tuli ezzadde lya Katonda, tetusaanye kulowooza nti Katonda afaanana ebintu ebikolebwa mu zaabu oba ffeeza oba mu mayinja, abantu bye bakola mu magezi gaabwe.
30
“Kyokka Katonda teyafa ku ebyo abantu bye baakolanga olw'obutamanya bwabwe. Naye kaakano alagira abantu bonna wonna we bali, beenenye,
31
kubanga yateekawo olunaku, omuntu gwe yalonda, lw'agenda okusalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya. Yakakasa abantu bonna, bwe yazuukiza omuntu oyo.”
32
Bwe baawulira Pawulo ng'ayogera ku kuzuukira, abamu ne baŋŋoola, abalala ne bagamba nti: “Ekyo alikitubuulira olulala.”
33
Awo Pawulo n'ava we bali n'agenda.
34
Naye abasajja abamu ne bamwegattako, ne bakkiriza Yesu. Mu abo mwalimu Diyoniziyo ow'omu lukiiko olukulu Arewopaago, n'omukazi erinnya lye Damari, awamu n'abalala.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28