bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 23
Acts 23
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 24 →
1
Pawulo ne yeekaliriza amaaso ab'Olukiiko, n'agamba nti: “Abasajja abooluganda, neegendereza okutuusa ku lunaku lwa leero nga sirina kinnumya mutima mu maaso ga Katonda.”
2
Awo Ssaabakabona Ananiya n'alagira abo abaali okumpi ne Pawulo bamukube emimwa.
3
Pawulo n'agamba nti: “Ggwe ekisenge ekyasiigibwa erangi enjeru, Katonda alikukuba. Otudde okunnamula ng'osinziira mu mateeka, ate n'olagira okunkuba sso ng'amateeka gakigaana.”
4
Abo abaali bayimiridde okumpi ne bagamba nti: “Ovuma Ssaabakabona wa Katonda!”
5
Pawulo n'agamba nti: “Abooluganda, mbadde simanyi nga ye Ssaabakabona, kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti: ‘Toyogeranga bubi ku mukulu wa ggwanga lyo.’ ”
6
Pawulo bwe yamanya ng'abali mu lukiiko, abamu Basaddukaayo, abalala nga Bafarisaayo, n'akangula ku ddoboozi, n'agamba nti: “Abooluganda, nze ndi Mufarisaayo, mwana w'Abafarisaayo. Mpozesebwa lwa kubanga nnina essuubi ery'okuzuukira kw'abafu.”
7
Bwe yayogera ekyo, ne wasitukawo empaka wakati w'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo. Olukiiko ne lwesalamu,
8
kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira, tewali bamalayika, wadde emyoyo. Naye Abafarisaayo byonna ebyo babikkiriza.
9
Ne wabaawo okuyoogaana kungi, era abamu ku bannyonnyozi b'amateeka ab'omu kibiina ky'Abafarisaayo ne bayimirira, ne bawakana n'amaanyi nga bagamba nti: “Tetulaba kibi ku muntu ono. Kyandiba nga malayika oba omwoyo, gwe gwogedde naye.”
10
Empaka bwe zaakalambira, omukulu w'abaserikale n'atya nti sikulwa nga Pawulo bamukutulamu. N'alagira abaserikale baserengete mu kibiina ky'abantu, bamubaggyeko lwa maanyi, bamutwale mu kigo.
11
Mu kiro ekyaddirira, Mukama n'ayimirira awali Pawulo n'amugamba nti: “Guma omwoyo, kubanga nga bwe wammanyisa mu Yerusaalemu, era bw'otyo bw'oteekwa okummanyisa ne mu Rooma.”
12
Bwe bwakya enkya, Abayudaaya ne bakuŋŋaana ne bateesa ne beerayirira nga bwe bagamba nti tebajja kulya kantu konna wadde okunywa, nga tebanatta Pawulo.
13
Abaakola olukwe olwo bwe batyo, baali basukka mu makumi ana.
14
Awo ne bagenda eri bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bagamba nti: “Twerayiridde obutakomba ku kantu nga tetunnaba kutta Pawulo.
15
Kale nno kaakano mmwe n'olukiiko, mutume eri omukulu w'abaserikale aserengese Pawulo gye muli, nga muli ng'abaagala okwongera okwetegereza ebimufaako. Ffe twetegese okumutta nga tannatuuka gye muli.”
16
Kyokka mutabani wa mwannyina Pawulo n'ategeera olukwe lwabwe. N'agenda n'ayingira mu kigo, n'alabula Pawulo.
17
Pawulo n'ayita omu ku bakulu b'ebibinja by'abaserikale, n'amugamba nti: “Twala omuvubuka ono eri omukulu w'abaserikale, alina ky'ayagala okumubuulira.”
18
N'amutwala, n'amutuusa eri omukulu w'abaserikale, n'agamba nti: “Omusibe Pawulo ampise, n'ansaba ndeete omuvubuka ono gy'oli, mbu alina ky'ayagala okukugamba.”
19
Omukulu w'abaserikale n'akwata omuvubuka ku mukono, n'amuzza ku bbali, n'amubuuza nti: “Kiki ky'oyagala okuŋŋamba?”
20
Ye n'agamba nti: “Abakulu b'Abayudaaya bateesezza okukusaba oserengese Pawulo mu lukiiko enkya, nga bali ng'abaagala okwongera okwetegereza ebimufaako.
21
Kyokka ggwe tobakkiriza, kubanga waliwo abasajja abasoba mu makumi ana, abajja okumuteega. Beerayiridde obutalya kantu konna wadde okunywa, nga tebannamutta. Era kaakano beeteeseteese, balindirira ky'onoogamba.”
22
Omukulu w'abaserikale n'amusiibula, nga bw'amukuutira nti: “Tobaako omuntu n'omu gw'otegeeza nti ombuulidde ebigambo bino.”
23
Awo omukulu w'abaserikale n'ayita babiri ku bakulu b'ebibinja n'agamba nti: “Mutegeke abaserikale ebikumi bibiri wamu n'ab'embalaasi nsanvu, n'ab'amafumu ebikumi bibiri, bagende e Kayisaariya ku ssaawa ssatu ez'ekiro.
24
Era mutegeke embalaasi ze banaatwalirako Pawulo, bamutuuse eri omufuzi Felikisi.”
25
Olwo n'awandiika ebbaluwa egamba nti:
26
“Kulawudiyo Lusiya alamusa omufuzi oweekitiibwa ennyo Felikisi.
27
Abayudaaya baakwata omusajja oyo, era baali bagenda kumutta. Bwe nategeera nga Murooma, ne ŋŋenda n'abaserikale, ne mmubaggyako.
28
Olw'okwagala okumanya kye bamuvunaana ne mmutwala mu lukiiko lwabwe.
29
Ne nzuula nti talina kye yakola kimusaanyiza kufa, wadde okusibibwa mu kkomera.
30
Bwe nategeezebwa nti Abayudaaya baali bategese olukwe okumutta, ne nsalawo okumuweereza gy'oli. Ne ndagira abamuvunaana bajje bamuvunaanire mu maaso go.”
31
Abaserikale ne bakola nga bwe baalagirwa. Ne batwala Pawulo ekiro ekyo, ne bamutuusa mu Antipatiri.
32
Ku lunaku olwaddirira, ne baleka ab'oku mbalaasi okugenda naye, bo ne baddayo mu kigo.
33
Bwe baamutuusa e Kayisaariya, ne bawa omufuzi ebbaluwa, ne bamukwasa ne Pawulo.
34
Bwe yagisoma, n'abuuza ekitundu Pawulo gy'asibuka. Bwe yamanya nga w'e Kilikiya,
35
n'amugamba nti: “Omusango gwo ndiguwulira abakuvunaana nga bazze.” N'alagira, Pawulo akuumirwe mu lubiri lwa Herode.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28