bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 10
Acts 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 11 →
1
Mu Kayisaariya mwalimu omusajja erinnya lye Koruneeliyo, eyali omuduumizi w'ekibinja ky'eggye ly'Abarooma, ekyali kiyitibwa eky'Abayitale,
2
Yali mujjumbizi wa ddiini, ye n'abantu be bonna, nga bassaamu Katonda ekitiibwa. Abayudaaya yabagabiranga ku bintu bye, era yasinzanga Katonda bulijjo.
3
Lumu ku ssaawa nga mwenda ez'emisana n'alabikirwa, n'alabira ddala bulungi malayika wa Mukama ng'ajja gy'ali, era ng'amuyita nti: “Koruneeliyo!”
4
Koruneeliyo n'amusimba amaaso ng'atya, n'amugamba nti: “Kiki Mukama wange?” Malayika n'amuddamu nti: “Katonda asanyukidde okwegayirira kwo n'okugaba kwo, era akusiimye ggwe.
5
Kale kaakano tuma abasajja e Yoppa, baleete omuntu ayitibwa Simooni Peetero,
6
asula ewa Simooni omuwazi w'amaliba, nnannyini nnyumba eri okumpi n'ennyanja.”
7
Malayika wa Mukama eyamugamba ebyo bwe yagenda, Koruneeliyo n'ayita babiri ku baweereza be, n'omuserikale omu assaamu Katonda ekitiibwa, era nga ye omu ku abo abaamukuumanga.
8
Bwe yamala okubategeeza byonna ebibaddewo, n'abatuma e Yoppa.
9
Ku lunaku olwaddirira, bwe baali nga bakyali mu kkubo, nga banaatera okutuuka e Yoppa, Peetero n'alinnya waggulu ku nnyumba, ku ssaawa nga mukaaga ez'omu ttuntu, okusinza Katonda.
10
Enjala n'emuluma n'ayagala okubaako ky'alya. Baali bakyakitegeka, n'aba ng'avudde ku nsi, n'alabikirwa.
11
N'alaba eggulu nga libikkuse, era ekintu ne kissibwa wansi nga kifaanana ng'essuuka ennene, ng'ekwatiddwa ku nsonda zaayo ennya.
12
Mu yo nga mulimu buli ngeri yonna ey'ensolo, n'ey'ebyewalula, n'ey'ebinyonyi.
13
Ne wabaawo eddoboozi erimugamba nti: “Peetero, golokoka otte, olye.”
14
Peetero n'addamu nti: “Nedda, Mukama wange, sisobola, kubanga siryanga kintu kya muzizo, wadde ekitali kirongoofu.”
15
Eddoboozi ne limugamba nate nti: “Katonda kye yalongoosa, tokiyitanga kya muzizo.”
16
Ekyo kyaddibwamu emirundi esatu, amangwago ekintu ekyo ne kizzibwayo mu ggulu.
17
Awo mu kiseera ekyo, Peetero bwe yali ng'akyasobeddwa, nga yeewuunya ky'alabye, abasajja abaatumibwa Koruneeliyo, bwe baamala okubuuza ennyumba ya Simooni gy'eri, ne batuuka, ne bayimirira ku mulyango.
18
Ne babuuza nti: “Wano we wali omugenyi ayitibwa Simooni Peetero?”
19
Awo Peetero bwe yali ng'akyalowooza ku ekyo ky'alabye, Mwoyo Mutuukirivu n'amugamba nti: “Laba abasajja basatu bakunoonya.
20
Situka okke, ogende nabo nga tobuusabuusa, kubanga nze mbatumye.”
21
Awo Peetero n'agenda eri abasajja, n'abagamba nti: “Nze nzuuno gwe munoonya. Nsonga ki ebaleese?”
22
Ne bamuddamu nti: “Koruneeliyo, omukulu w'ekibinja ky'abaserikale, omusajja omwegendereza assaamu Katonda ekitiibwa, era asiimibwa eggwanga lyonna ery'Abayudaaya, malayika omutuukirivu yamugamba akuyite, ogende ewuwe, awulire by'ogamba.”
23
Awo n'abayingiza n'abasuza. Bwe bwakya enkya, Peetero n'asitula n'agenda nabo. N'abamu ku booluganda abaali e Yoppa ne bamuwerekerako.
24
Olunaku olwaddirira ne batuuka e Kayisaariya. Koruneeliyo yali abalindiridde, era ng'akuŋŋaanyizza baganda be ne mikwano gye ennyo.
25
Awo Peetero bwe yali anaatera okuyingira, Koruneeliyo n'amusisinkana, n'afukamira kumpi n'ebigere bye, n'amusinza.
26
Kyokka Peetero n'amuyimusa nga bw'agamba nti: “Situka, nange ndi muntu buntu.”
27
Peetero n'ayingira ng'agenda anyumya naye. N'asanga abantu bangi nga bakuŋŋaanye.
28
N'abagamba nti: “Mmwe mwennyini mumanyi bulungi nga bwe kiri eky'omuzizo, Omuyudaaya okutabagana n'ow'eggwanga eddala, wadde okumukyalira. Kyokka Katonda andaze nga sisaana kuyita muntu n'omu nti si mulongoofu, oba nti mubi.
29
Kale bwe nayitibwa, kyennava nzikiriza okujja. Kati mbabuuza, nsonga ki gye mumpitidde?”
30
Koruneeliyo n'addamu nti: “Ennaku bbiri eziyise, mu kiseera nga kino, ku ssaawa mwenda ez'olweggulo, nali mu nnyumba yange nga nsinza Katonda. Mu kiseera ekyo ne ndaba omuntu ayambadde engoye ezimasamasa, ng'ayimiridde mu maaso gange.
31
N'aŋŋamba nti: ‘Koruneeliyo, Katonda awulidde okwegayirira kwo, era asiimye okugaba kwo.
32
Kale tuma e Yoppa, oyite omuntu ayitibwa Simooni Peetero, asula mu nnyumba ya Simooni omuwazi w'amaliba aliraanye ku nnyanja.’
33
Amangwago nze kwe kukutumira, era okoze bulungi okujja. Kale kaakano tukuŋŋaanye wano mu maaso ga Katonda, okuwulira byonna Mukama by'akulagidde.”
34
Awo Peetero n'atandika okwogera, n'agamba nti: “Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda tasosola mu bantu,
35
era nga mu buli ggwanga ayaniriza buli muntu amussaamu ekitiibwa, n'akola eby'obutuukirivu.
36
“Katonda yawa Abayisirayeli ekigambo kye, ng'abategeeza Amawulire Amalungi agaleeta emirembe, ng'ayita mu Yesu Kristo, Mukama wa byonna.
37
Mumanyi ebyabaawo mu Buyudaaya bwonna, ebyatandikira e Galilaaya, nga Yowanne amaze okutegeeza abantu babatizibwe.
38
Katonda yajjuza Yesu Omunazaareeti Mwoyo Mutuukirivu era n'amaanyi. Yesu oyo, olw'okuba nga Katonda yali naye, yatambulanga wonna, ng'agenda akola ebirungi, era ng'awonya bonna abaajoogebwanga Sitaani.
39
Era ffe tukakasa ebyo byonna bye yakola mu nsi y'Abayudaaya ne mu Yerusaalemu. Baamukomerera ku musaalaba, ne bamutta.
40
Kyokka Katonda n'amuzuukiza ku lunaku olwokusatu, era n'amusobozesa okulabibwa,
41
si mu bantu bonna, wabula mu ffe, Katonda be yali amaze okulonda okukikakasa. Ye ffe abaalya naye era ne tunywa naye ng'amaze okuzuukira.
42
“Yatulagira okutegeeza abantu be, era n'okubakakasa nti ye wuuyo, Katonda gwe yateekawo, okuba omulamuzi w'abalamu n'abafu.
43
Abalanzi bonna gwe boogerako, nga bagamba nti: ‘Buli amukkiriza, asonyiyibwa ebibi bye olw'obuyinza bw'erinnya lye.’ ”
44
Awo Peetero yali akyayogera ebyo, Mwoyo Mutuukirivu n'akka ku bonna abaali bamuwuliriza.
45
Abayudaaya abakkiriza, abajja ne Peetero okuva e Yoppa, ne basamaalirira, bwe baalaba nga n'ab'amawanga amalala Katonda abawadde ekirabo ekya Mwoyo Mutuukirivu,
46
kubanga baabawulira nga boogera ennimi, era nga batendereza Katonda. Peetero n'agamba nti:
47
“Abantu bano bafunye Mwoyo Mutuukirivu nga ffe bwe twamufuna. Kale waliwo ayinza okubagaana okubatizibwa n'amazzi?”
48
Awo n'alagira babatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo. Oluvannyuma ne bamusaba agira abeera nabo ennaku ntonotono.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28