bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 25
Acts 25
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 26 →
1
Festo bwe yatuuka mu kitundu kye, n'amala ennaku ssatu, n'ava e Kayisaariya n'ayambuka e Yerusaalemu.
2
Bakabona abakulu n'abakungu b'Abayudaaya ne bamutegeeza bye bavunaana Pawulo. Ne basaba Festo ono
3
abakwatirwe ekisa, Pawulo aleetebwe e Yerusaalemu. Baali bategese olukwe okuttira Pawulo mu kkubo.
4
Festo n'addamu nti: “Pawulo akuumirwa mu Kayisaariya, era nze njija kuddayo mangu.
5
Kale abakulembeze mu mmwe bagende nange, oba ng'omusajja oyo yakola ekintu ekitasaana, bamulumirize.”
6
Festo bwe yamala nabo ennaku nga munaana oba kkumi, n'aserengeta e Kayisaariya. Olunaku olwaddirira, n'atuula ku ntebe ey'obulamuzi, n'alagira baleete Pawulo.
7
Bwe yaleetebwa, Abayudaaya abaava e Yerusaalemu ne bayimirira nga bamwetoolodde, ne bamulumiriza emisango mingi era eminene, gye bataasobola kukakasa.
8
Pawulo ne yeerwanako n'agamba nti: “Sikolanga kintu na kimu ekimenya amateeka g'Abayudaaya, oba ekyonoona Essinzizo, wadde okujeemera Kayisaari.”
9
Festo olw'okwagala okusiimibwa Abayudaaya, n'agamba Pawulo nti: “Oyagala okugenda e Yerusaalemu owozesebwe eyo emisango gino mu maaso gange?”
10
Pawulo n'agamba nti: “Nnyimiridde mu maaso g'entebe ya Kayisaari ey'obulamuzi, era we nteekwa okuwozesebwa. Sirina kintu na kimu kye nasobya ku Bayudaaya, nga naawe bw'omanyidde ddala obulungi.
11
Oba nga namenya etteeka, ne nkola ekintu ekinsaanyiza okuweebwa ekibonerezo eky'okuttibwa, sigaana kufa. Naye oba nga bye bannumiriza si bya mazima, tewali ayinza kumpaayo gye bali. Njulidde Kayisaari.”
12
Awo Festo bwe yamala okuteesaamu n'ab'olukiiko n'addamu nti: “Ojulidde Kayisaari, kale eri Kayisaari gy'oligenda.”
13
Bwe waayitawo ennaku ntonotono, Kabaka Agripa ne mukazi we Berunike ne bajja e Kayisaariya okwaniriza Festo.
14
Bwe baamalayo ennaku eziwera, Festo n'ayogera ku Pawulo, n'agamba nti: “Wano waliwo omusajja, Felikisi gwe yaleka nga musibe.
15
Bwe nagenda e Yerusaalemu, bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga ly'Abayudaaya ne bamulumiriza, ne basaba mmusalire omusango okumusinga.
16
Nze ne mbaddamu nti: ‘Si mpisa y'Abarooma okusalira omuntu omusango okumusinga, nga tannasisinkana na bamuwawaabira, n'asobola okwerwanako mu musango gwe bamuvunaana.’
17
“N'olwekyo bwe bajja wano, ssaalwa. Ku lunaku olwaddirira, ne ntuula mu ntebe ey'obulamuzi, ne ndagira baleete omusajja oyo.
18
Abamuvunaana bwe baayimirira ne batamuvunaana musango na gumu omubi, nga nze bwe nali ndowooza.
19
Wabula baawakana naye ku bintu ebimu ebifa ku ddiini yaabwe, ne ku muntu Yesu eyafa, Pawulo ye gw'ategeeza abantu mulamu.
20
“Bwe nasoberwa ku bigambo ebyo, ne mmubuuza oba ng'ayagala okugenda e Yerusaalemu awoleze eyo emisango egyo.
21
Kyokka Pawulo n'ajulira, n'asaba akuumibwe okutuusa Kayisaari lw'alimusalira omusango. Nze kwe kulagira akuumibwe okutuusa lwe ndimuweereza ewa Kayisaari.”
22
Agripa n'agamba Festo nti: “Nange nandyagadde okuwulira omuntu oyo.” Festo n'addamu nti: “Onoomuwulira enkya.”
23
Enkeera Agripa ne Berunike ne bajjira mu kitiibwa kinene, ne bayingira mu kifo awasalirwa emisango, nga bali wamu n'abakulu b'abaserikale n'abantu abeekitiibwa mu kibuga ekyo. Festo n'alagira, Pawulo n'aleetebwa.
24
Awo Festo n'agamba nti: “Kabaka Agripa, era nammwe mwenna abali naffe wano, mulaba omusajja ono, Abayudaaya bonna gwe bansaba mu Yerusaalemu ne wano, nga baleekaana nti: ‘Tasaana kuba mulamu!’
25
Naye nze nalaba nti talina kye yakola kimusaanyiza kuttibwa. Kyokka bwe yajulira Kayisaari, ne nsalawo okumuweerezaayo.
26
Wabula sirina kikakafu kye nnaawandiikira mukama wange. Kyenvudde mmuleeta mu maaso gammwe, naddala mu maaso go Kabaka Agripa. Bw'anaamala okubuuzibwa, ndyoke nfune kye mpandiika,
27
kubanga ndaba nga si kituufu okuweereza omusibe n'otolaga bimuvunaanibwa.”
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28