bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 27
Acts 27
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 28 →
1
Awo bwe kyamala okusalibwawo tuyite ku nnyanja okugenda mu Yitaliya, Pawulo n'abasibe abalala ne baweebwayo eri Yuliyo omukulu w'ekibinja ky'abaserikale, ekiyitibwa ekya Agusto.
2
Ne tusaabala mu lyato ery'e Aduramitiyo eryali ligenda okuyita ku lubalama lw'Asiya. Ne tuseeyeeya nga tuli ne Arisitaruuko Omumakedooniya ow'e Tessalonika.
3
Olunaku olwaddirira ne tugoba e Sidoni. Yuliyo n'ayisa bulungi Pawulo, n'amukkiriza okugenda eri mikwano gye okumulabirira.
4
Bwe twavaayo ne tuyita ku mabbali ga Kipuro olw'okwebalama omuyaga ogwali gutuva mu maaso.
5
Ne tusala ennyanja ey'e Kilikiya ne Panfiliya, ne tugoba e Miira eky'omu Lukiya.
6
Eyo omukulu w'ekibinja ky'abaserikale gye yasanga eryato ery'e Alekisanderiya nga liraga mu Yitaliya, n'atusaabaza omwo.
7
Ne tumala ennaku nnyingi nga tugenda tuseeyeeya mpola, okutuusa lwe twatuuka okumpi ne Kuniido nga tuyise mu buzibu. Omuyaga bwe gwatuziyiza okutuukayo, ne tuyita ku mabbali ga Kureete, mu maaso ga Salumooni.
8
Ne tuyitira ddala kumpi nakyo nga tutegana, okutuusa lwe twatuuka mu kifo ekiyitibwa Emyalo Emirungi, ekiri okumpi n'ekibuga Lasaya.
9
Ennaku nnyingi bwe zaayitawo nga n'olugendo lw'ennyanja lufuuse lwa kabi, kubanga n'ennaku ez'okusiiba zaali ziyise, Pawulo n'abalabula
10
ng'agamba nti: “Bassebo, ndaba nti olugendo luno lujja kuba lwa kabi era lujja kuba lwa kufiirwa, si bintu byokka na lyato, wabula n'obulamu bw'abantu.”
11
Kyokka omukulu w'abaserikale n'akkiriza omugoba ne nnannyini lyato bye baateesa, okusinga ebyo Pawulo bye yayogera.
12
Ate omwalo nga bwe gutaali mulungi kwewogomamu obudde obw'obutiti, ne basiima beeyongereyo, oba kisoboka batuuke e Foyiniiki, omwalo gw'e Kureete ogutunuulira wakati w'ebukiikakkono n'ebuvanjuba, ne wakati w'ebukiikaddyo n'ebuvanjuba.
13
Empewo eziva mu bukiikaddyo bwe zaatandika okukunta, ne balowooza nti bafunye kye babadde beetaaga, ne basimbula eryato, ne baseeyeeya nga bagenda bayita kumpi ddala n'olubalama lwa Kureete.
14
Kyokka waayitawo ebbanga ttono, omuyaga ogw'amaanyi oguva mu bukiikakkono ne gukunta nga guva ku kizinga.
15
Eryato ne liremwa okugenda mu maaso gye guva. Bwe lyalemwa, ne tulireka ne litwalibwa omuyaga.
16
Ne tutwalibwa ku mabbali g'ekizinga ekiyitibwa Kawuda, ne tuwonya akaato akaali kasibiddwa ku lyato, naye nga tumaze kutegana nnyo.
17
Bwe baamala okukalinnyisa, ne bakwata emiguwa ne bagyetoolooza eryato, ne balisiba. Bwe baatya okulemera mu musenyu ogw'e Suriti ne bassa amatanga, ne baleka eryato litwalibwe omuyaga.
18
Bwe twategana ennyo n'omuyaga, ku lunaku olwaddirira ne batandika okusuula ebintu ebimu mu nnyanja.
19
Ate ku lwaddako ne basuula n'emikono gyabwe ebimu ku bye bavugisa eryato.
20
Bwe waayitawo ennaku nnyingi ng'enjuba wadde emmunyeenye tebirabikako era nga n'omuyaga gwe tulimu muyitirivu, essuubi lyonna ery'okuwona ne lituggwaamu.
21
Bwe baamala ebbanga eddene nga tebalya, Pawulo n'ayimirira wakati mu bo n'agamba nti: “Bassebo, singa mwampuliriza ne mutava Kureete, okwonoonekerwa kuno n'okufiirwa tekwandibaddewo.
22
Kaakano mbasaba mugume omwoyo, kubanga tewali n'omu mu mmwe anaafa, wabula eryato lye lijja okuzikirira,
23
kubanga ekiro ekyayise malayika wa Katonda wange gwe mpeereza
24
yayimiridde we ndi n'aŋŋamba nti: ‘Pawulo, totya, oteekwa okuyimirira mu maaso ga Kayisaari. Era ku lulwo Katonda ajja kukuuma n'abo bonna abali naawe mu lyato.’
25
Kale bannange mugume emyoyo kubanga neesiga Katonda nga kinaaba bwe kityo nga bw'akiŋŋambye.
26
Wabula tujja kusuulibwa ku kizinga.”
27
Nga mu ttumbi mu kiro eky'ekkumi n'ebina bwe twali nga tusuukundibwa omuyaga mu nnyanja Adiriya, abavuga eryato ne bateebereza nti tunaatera okusemberera olukalu.
28
Bwe baasuula ekipima, ne balaba ng'obuwanvu bw'amazzi buli mita amakumi ana. Ate bwe tweyongerayo mu maaso, ne bapima, ne balaba nga ziri mita amakumi asatu.
29
Bwe baatya okutomera olwazi, ne bassa ennanga nnya ku luuyi olw'ekitundu eky'emabega, ne balindirira obudde bukye.
30
Abavuga eryato bwe baali bagezaako okudduka bave mu lyato, nga bamaze okussa akaato mu nnyanja nga beefuula ng'abagenda okusuula ennanga ku luuyi olw'ekitundu eky'omu maaso,
31
Pawulo n'agamba abaserikale n'omukulu waabwe nti: “Abantu abo bwe bataasigale mu lyato, mmwe temuli ba kuwona.”
32
Awo abaserikale ne basala emiguwa gy'akaato, ne bakaleka ne kagenda.
33
Bwe bwali bunaatera okukya, Pawulo n'abeegayirira bonna balye ku mmere, ng'agamba nti: “Luno olunaku lwa kkumi na nnya nga mweraliikirira ne mutalya kantu.
34
Mbeegayirira mulye, muleme okufa enjala. Era tewali kabi kanaabatuukako.”
35
Bwe yamala okwogera ebyo, n'atoola omugaati ne yeebaza Katonda nga bonna balaba, n'agumenyaamenyamu, n'atandika okulya.
36
Olwo bonna ne baguma omwoyo, nabo ne balya emmere.
37
Ffenna abaali mu lyato, twali abantu ebikumi bibiri mu nsanvu mu mukaaga.
38
Bwe baamala okukkuta emmere, ne bateewuluza ku lyato nga basuula eŋŋaano mu nnyanja.
39
Obudde bwe bwakya enkya, ne batamanya nsi gye batuuseeko, naye ne balaba ekikono ky'ennyanja awali omwalo oguliko omusenyu, ne bateesa bagobye okwo eryato singa kisoboka.
40
Ne bakutula ennanga, ne bazireka mu nnyanja, era mu kiseera ekyo, ne basumulula emiguwa gy'enkasi. Era ne bawanika ettanga ery'omu maaso, empewo eryoke eseeyeeyese eryato, ne boolekera olukalu.
41
Kyokka bwe baatuuka mu kifo engezi we zisisinkanira, eryato ne litubira mu musenyu. Ekitundu eky'omu maaso ne kiyingira muli ne kinywera, ne kitasobola kunyeenya. Ekitundu eky'emabega ne kitandika okwabika olw'amaanyi g'amayengo.
42
Abaserikale ne bateesa okutta abasibe, sikulwa ng'abamu bawuga ne babomba.
43
Kyokka omukulu w'abaserikale n'abaziyiza olw'okwagala okuwonya Pawulo. Awo n'alagira abasobola okuwuga be baba basooka okwesuula mu mazzi bawuge batuuke ku lukalu,
44
abalala bagoberere nga batwalirwa ku mbaawo ne ku bitundutundu by'eryato. Bwe batyo bonna ne batuuka ku lukalu nga balamu.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28