bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 19
Acts 19
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 20 →
1
Awo Apollo bwe yali mu Korinto, Pawulo n'ayita mu bitundu eby'engulu, n'atuuka mu Efeso, n'asangayo abamu ku bakkiriza.
2
N'ababuuza nti: “Bwe mwakkiriza mwafuna Mwoyo Mutuukirivu?” Ne bamuddamu nti: “Tetuwuliranganako nti waliwo ne Mwoyo Mutuukirivu.”
3
Ye n'ababuuza nti: “Kale okubatizibwa kwammwe kwali kwa ngeri ki?” Ne bamuddamu nti: “Okwo Yowanne kwe yaleeta.”
4
Pawulo n'abagamba nti: “Yowanne yabatiza abantu nga ke kabonero akalaga nti beenenyezza, ng'abagamba bakkirize oyo amuvaako emabega, ye Yesu.”
5
Bwe baawulira ebyo, ne babatizibwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu.
6
Pawulo bwe yabassaako emikono gye, Mwoyo Mutuukirivu n'abakkako, ne boogera ennimi, ne balanga.
7
Bonna awamu baali abasajja nga kkumi na babiri.
8
Awo Pawulo n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, n'ayogera n'obuvumu, ng'awaanyisaganya nabo ebirowoozo, ng'agezaako okubakkirizisa ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda. N'amala emyezi esatu ng'akola bw'atyo.
9
Naye abamu bwe bafuuka abakakanyavu ne bagaana okukkiriza, era ne bavumanga Ekkubo lya Mukama mu maaso g'abantu, n'abavaako, n'agenda n'abayigirizwa, n'ayogereranga mu ssomero lya Turaano buli lunaku.
10
N'akolanga bw'atyo okumala emyaka ebiri. Abantu bonna ab'omu Asiya, Abayudaaya n'Abayonaani, ne bawulira ekigambo kya Mukama.
11
Katonda n'akozesanga Pawulo ebyamagero bingi.
12
Ebitambaala n'engoye ebyavanga ku mubiri gwe byatwalirwanga abalwadde ne bawonyezebwa, n'emyoyo emibi ne gibavaako.
13
Awo Abayudaaya abamu abaatambulatambulanga nga bagoba emyoyo emibi ku bantu, ne beetulinkiriza okukozesa erinnya lya Mukama Yesu okugigoba, nga bagigamba nti: “Nkulagira mu linnya lya Yesu, Pawulo gw'ategeeza abantu.”
14
Waaliwo abaana musanvu aba kabona omukulu Omuyudaaya, erinnya lye Sukeva, abaakola ekyo.
15
Naye omwoyo omubi ne gubaddamu nti: “Yesu mmumanyi, ne Pawulo mmumanyi, naye mmwe be ani?”
16
Awo omuntu eyaliko omwoyo omubi n'ababuukira, n'abasinza amaanyi n'abawangula, ne badduka nga bali bwereere, nga baliko ebiwundu.
17
Ekyo ne kimanyibwa abantu bonna, Abayudaaya n'Abayonaani ab'omu Efeso. Bonna ne bajjula entiisa, erinnya lya Mukama Yesu ne liweebwa ekitiibwa.
18
Bangi ku bakkiriza ne bajja, ne beenenya ebibi byabwe mu lwatu.
19
Era bangi ku abo abaakolanga eby'obulogo ne bakuŋŋaanya wamu ebitabo byabwe, ne babyokya ng'abantu bonna balaba. Omuwendo gw'ensimbi ezibigula bwe gwabalirirwa, ne guweza ebitundu bya ffeeza emitwalo etaano.
20
Bwe kityo ekigambo kya Mukama ne kigenda nga kyeyongera okubuna n'okunywera.
21
Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n'ateesa okuyita mu Makedooniya ne mu Akaya, alyoke agende e Yerusaalemu. N'agamba nti: “Bwe ndimala okutuukayo, nteekwa okugenda n'e Rooma.”
22
N'atuma e Makedooniya babiri ku abo abaamuyambanga, Timoteewo ne Erasto, kyokka ye n'agira ng'akyasigadde mu Asiya.
23
Mu kiseera ekyo ne wabaawo akeegugungo ak'amaanyi mu Efeso, olw'Ekkubo lya Mukama.
24
Omusajja ayitibwa Demetiriyo omuweesi, eyakolanga obusabo obwa ffeeza obwa lubaale omukazi Arutemi, omulimu gwe gwaleeteranga abaweesi obugagga bungi.
25
Oyo n'akuŋŋaanya abaweesi bonna abaakolanga omulimu ogwo, n'agamba nti: “Bannange, mumanyi ng'obugagga bwaffe buva mu mulimu guno.
26
Naye mulaba era muwulira nga Pawulo asenzesenze, era akyusizza abantu bangi, si mu Efeso mwokka naye ne mu Asiya yonna, ng'agamba nti: ‘Abakolebwa abantu si Katonda.’
27
Tuli mu kabi, si lwa mulimu gwaffe kunyoomebwa kyokka, naye abantu bajja kunyoomoola essabo lya lubaale omukazi Arutemi oweekitiibwa, asinzibwa Asiya yonna n'ensi endala zonna, era ekitiibwa kye kijja kuggwaawo.”
28
Bwe baawulira ebyo ne bajjula obusungu, ne baleekaana nti: “Arutemi w'Abeefeso mukulu!”
29
Awo ekibuga kyonna ne kibuna akatabanguko. Abantu ne bakwata Gaayo ne Arisitaruuko ab'e Makedooniya abaatambulanga ne Pawulo. Abantu bonna ne bafubutuka, ne beeyiwa mu kifo ky'emizannyo.
30
Pawulo n'ayagala okugenda eri ekibiina ky'abantu, kyokka abayigirizwa ne bamugaana.
31
N'abamu ku bakungu ab'omu Asiya, abaali mikwano gye, ne bamutumira nga bamusaba aleme kugezaako kugenda mu kifo ky'emizannyo,
32
kubanga abantu baali mu kajagalalo, nga baleekaana, abamu nga boogera kino, abalala nga boogera kiri, era bangi baali tebamanyi na nsonga ebakuŋŋaanyizza.
33
Ne baggya Alekizanda mu kibiina ky'abantu, Abayudaaya nga bamusindiikiriza. Awo Alekizanda n'abawenya n'omukono, yennyonnyoleko eri abantu.
34
Naye bwe baamanya nga Muyudaaya ne baleekaanira wamu okumala essaawa nga bbiri, nga bagamba nti: “Arutemi w'Abeefeso mukulu!”
35
Omuwandiisi w'ekibuga bwe yasirisa abantu, n'agamba nti: “Abasajja Abeefeso, ani atamanyi ng'ekibuga ky'Abeefeso kye kikuuma essabo lya Arutemi Oweekitiibwa, awamu n'ekifaananyi kye ekyava mu ggulu?
36
Kale ekyo nga bwe watali ayinza kukiwakanya, musaanidde okukkakkana, muleme kukola kintu kyonna mu kwanguyiriza,
37
kubanga muleese abantu bano abatanyaze bya mu ssabo, era abatavumye lubaale waffe omukazi.
38
Kale oba nga Demetiriyo ne baweesi banne balina gwe bavunaana, enkiiko weeziri n'abalamuzi weebali, eyo gye baba bawoleza.
39
Naye oba nga mulina ekirala kye muvunaana, kinaatereezebwa mu lukuŋŋaana olubaawo bulijjo,
40
kubanga tuyinza okuvunaanibwa olw'akeegugungo kano aka leero. Tetulina nsonga gye tuyinza kuwa olw'olukuŋŋaana luno.”
41
Bwe yamala okwogera ebyo, n'agumbulula abantu.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28