bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 4
Acts 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 5 →
1
Peetero ne Yowanne bwe baali bakyayogera n'ekibiina ky'abantu, bakabona n'omukulu w'abakuumi b'Essinzizo, wamu n'Abasaddukaayo, ne bajja gye bali.
2
Baali banyiivu, kubanga abo bombi baali bayigiriza abantu nti Yesu yazuukira, kino nga kikakasa nti abafu bagenda kuzuukira.
3
Ne bakwata Peetero ne Yowanne ne babateeka mu kkomera okutuusa ku lunaku olwaddirira, kubanga obudde bwali buwungedde.
4
Kyokka bangi ku abo abaawulira ebigambo Peetero bye yababuulira, ne bakkiriza. Omuwendo gwabwe gwali abasajja ng'enkumi ttaano.
5
Ku lunaku olwaddirira, abakulembeze b'Abayudaaya n'abantu abakulu mu ggwanga, awamu n'abannyonnyozi b'amateeka, ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemu.
6
Baali ne Anna ne Kayaafa Ssaabakabona, ne Yowanne ne Alekizanda, wamu n'abalala ab'olulyo lwa Ssaabakabona.
7
Ne balagira abatume okuyimirira mu maaso g'olukiiko, ne bababuuza nti: “Mwakozesa buyinza bw'ani, oba ani eyabasobozesa okuwonya omuntu ono?”
8
Awo Peetero ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, n'abagamba nti: “Mmwe abafuzi, era nammwe abantu abakulu mu ggwanga,
9
oba nga tubuuzibwa olw'ekikolwa ekirungi ekikoleddwa ku muntu abadde omulema, era ne ku ngeri gy'awonyezeddwamu,
10
kale abantu ba Yisirayeli bonna, era nammwe mwenna musaana mumanye nti obuyinza bwa Yesu Kristo Omunazaareeti, mmwe gwe mwakomerera ku musaalaba, ate Katonda n'amuzuukiza, bwe buyimirizza omuntu ono wakati mu mmwe nga mulamu.
11
Yesu ye oyo ebyawandiikibwa gwe byogerako nti: ‘Ejjinja mmwe abazimbi lye mwagaana, lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro.’
12
Ye yekka ye ayinza okulokola abantu, kubanga mu nsi yonna tewali mulala Katonda gwe yawa linnya liyinza kutulokola.”
13
Bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yowanne, era bwe baategeera nti be bantu abaabulijjo era abatali bayigirize, ne beewuunya. Era ne bakizuula nga baali wamu ne Yesu.
14
Ate bwe baalaba omuntu awonyezeddwa ng'ayimiridde wamu ne Peetero ne Yowanne, ne babulwa kye bagamba.
15
Bwe baamala okubafulumya mu lukiiko, ne bateesa nga bagamba nti:
16
“Tunaakola tutya abantu bano? Ekyewuunyo kye bakoze kimaze okumanyibwa abantu bonna ababeera mu Yerusaalemu, era tetuyinza kukigaana!
17
Naye okukiziyiza okubuna, ka tuyite abasajja bano, tubakangise, baleme kweyongera kwogera na muntu n'omu mu linnya eryo.”
18
Awo ne babayita ne babalagira obutaddayo kwogera, wadde okuyigiriza omuntu n'omu mu linnya lya Yesu.
19
Peetero ne Yowanne ne babaddamu nti: “Mmwe muba musalawo ekisinga obulungi mu maaso ga Katonda, kuwulira Ye oba mmwe?
20
Ffe tetuyinza butayogera ekyo kye twalaba era kye twawulira.”
21
Awo ne beeyongera okubatiisatiisa ne babata, nga tebalaba bwe banaababonereza olw'okutya abantu, kubanga bonna baali nga batendereza Katonda olw'ekyo ekyakolebwa.
22
Omusajja eyakolerwa ekyewuunyo ekyo eky'okuwonyezebwa, yali asussizza mu myaka amakumi ana.
23
Peetero ne Yowanne bwe baateebwa, ne baddayo eri bannaabwe, ne bababuulira byonna bakabona abakulu, awamu n'abantu abakulu mu ggwanga bye babagambye.
24
Bwe baabiwulira, ne beegatta wamu bonna, ne beegayirira Katonda nga bagamba nti: “Mukama, ggwe eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja, ne byonna ebibirimu,
25
ku bwa Mwoyo Mutuukirivu wayogerera mu jjajjaffe Dawudi omuddu wo, n'ogamba nti: ‘Lwaki ab'amawanga amalala banyiize? Era lwaki abantu balowooza ebitaliimu?
26
Bakabaka b'ensi beeteekateeka, n'abafuzi baakuŋŋaana wamu, okulwanyisa Mukama Katonda ne Kristo we.’
27
“Ddala Herode ne Pontiyo Pilaato awamu n'abantu ba Yisirayeli n'ab'amawanga amalala baakuŋŋaanira mu kibuga muno, okulwanyisa Yesu Omuweereza wo omutuukirivu, gwe wafuula Kristo.
28
Ne batuukiriza ekyo, ggwe kye wateekateeka mu buyinza bwo, nga bwe wayagala.
29
“Kale kaakano Mukama, laba okutiisatiisa kwabwe. Wa abaweereza bo, boogere ekigambo kyo n'obuvumu.
30
Golola omukono gwo owonye, era n'ebyamagero bikolebwe mu linnya ly'Omuweereza wo omutuukirivu Yesu.”
31
Bwe baamala okwegayirira Katonda, ekifo kyonna mwe baali bakuŋŋaanidde, ne kikankana. Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, era ne batandika okwogera ekigambo kya Katonda n'obuvumu.
32
Ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo, kyalina omutima gumu n'emmeeme emu. Tewaali n'omu yagambanga nti ekintu ky'alina kikye yekka, wabula byonna bye baalina byabanga byabwe wamu.
33
Abatume ne bakakasa n'amaanyi mangi okuzuukira kwa Mukama waffe Yesu, era bonna Katonda n'abayambanga nnyo.
34
Bonna baafunanga bye beetaaganga, kubanga abaabanga n'ennimiro oba ennyumba baazitundanga, ensimbi ezaavangamu
35
ne bazireetera abatume, ne bagabira buli muntu nga bwe yeetaaganga.
36
Ne Yosefu Omuleevi eyazaalibwa e Kipuro, abatume gwe baakazaako erya Barunaba (amakulu gaalyo nti “Azzaamu abantu amaanyi”),
37
n'atunda ennimiro ye, ensimbi ezaavaamu n'azitwala n'azikwasa abatume.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28